以斯帖记 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯帖记 1:1-22

亚哈随鲁王大宴群臣

1亚哈随鲁在位期间,统治从印度古实的一百二十七个省。 2亚哈随鲁王在书珊城登基, 3他在执政第三年大宴群臣,波斯玛代的将领、各省的贵族和大臣都在场。 4整整一百八十天,他展示自己帝国的财富和王权的威荣。 5之后,他又一连七天在御花园宴请书珊城里所有的居民,无论尊卑。 6御花园里有白色的棉帐和蓝色的彩帐,用细麻绳和紫色绳系在大理石柱的银环上。有金银制成的床榻摆在各色斑岩、大理石、珍珠贝壳及其他贵重石头铺成的地上。 7饮酒用的是各式各样的金器皿,御酒大量供应,足显王的慷慨。 8喝酒有个规矩,不许勉强人,因为王吩咐过宫里所有的侍从,招待各人要随其所愿。 9瓦实提王后也在亚哈随鲁王的宫里设宴招待女宾。

瓦实提王后被废

10第七天,亚哈随鲁王喝得心中畅快,就吩咐在王身边服侍的米户幔比斯他哈波拿比革他亚拔他西达甲迦七位太监, 11去请瓦实提王后戴着后冠到王面前,向百姓和官员展现她的美貌,因为她非常美丽。 12瓦实提王后违抗太监所传的谕旨,拒绝前来,王非常生气,怒火中烧。

13王有事习惯征求通晓律例和法则之人的意见,于是他去问精通时务的哲士。 14那时,靠近王的有甲示拿示达押玛他他施斯米力玛西拿米姆干七位波斯玛代的大臣,他们常见王的面,在国中身居高位。 15王问他们:“瓦实提王后违抗太监所传的谕旨,按律该如何处置她?”

16米姆干当着王和大臣们的面说:“瓦实提王后不但冒犯了王,而且有害于举国的臣民。 17因为王后的事必传到所有妇女的耳中,致使她们藐视自己的丈夫,因为她们会说,‘亚哈随鲁王请瓦实提王后到他面前,她却不去。’ 18今天,波斯玛代的贵妇听到王后这事,也会如此对待王的大臣,藐视和恼怒之事必层出不穷。 19王若愿意,就请降旨不准瓦实提再到王面前,把她王后的位分赐给比她更好的女子,并将此谕旨写入波斯玛代的律法,永不更改。 20王的谕旨传遍王辽阔的国境后,所有的妇女,无论丈夫贵贱,都必尊重他们。”

21王和大臣们都赞同米姆干的建议,王便依照他的建议, 22用各省的文字和各族的语言写谕旨,通告各省,丈夫要做一家之主,说话有权柄。

Luganda Contemporary Bible

Eseza 1:1-22

Nnabagereka Vasuti Aggyibwa ku Bukulu

11:1 a Ezr 4:6; Dan 9:1 b Es 9:30; Dan 3:2; 6:1 c Es 8:9Kino kye kyabaawo ku mirembe gya Akaswero, eyafuga amasaza kikumi mu abiri mu musanvu (127) okuva e Buyindi okutuuka e Buwesiyopya. 21:2 Ezr 4:9; Nek 1:1; Es 2:8Mu kiseera ekyo Kabaka Akaswero we yafugira mu lubiri e Susani,1:2 Susani kye kimu ku bibuga ebikulu ebina eby’Obwakabaka. Ebibuga ebirala byali Babulooni, Perusiyapoliisi ne Ekubatoni. Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi. 31:3 1Bk 3:15; Es 2:18mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwe, yagabula abakungu n’abaami be abakulu embaga. Abaduumizi ba magye aga Buperusi ne Bumeedi, n’abalangira n’abakungu b’amasaza bonna baagiriko.

4Yayolesa obugagga n’ekitiibwa n’ettendo eby’obwakabaka bwe okumala emyezi mukaaga. 51:5 a Bal 14:17 b 2Bk 21:18; Es 7:7-8Ennaku ezo bwe zaggwaako, Kabaka n’agabula abantu bonna okuva ku asemberayo ddala okutuuka ku asingirayo ddala ekitiibwa embaga endala eyali mu luggya, mu lubiri e Susani okumala ennaku musanvu. 61:6 Es 7:8; Ez 23:41; Am 3:12; 6:4Oluggya lwalimu entimbe ez’engoye enjeru n’eza bbululu, nga zisibiddwa n’emiguwa egya linena omulungi n’olugoye olwa kakobe nga lusibiddwa n’empeta eza ffeeza ku mpagi ez’amayinja aganyirira. Waaliwo n’ebitanda1:6 Abaperusi baalyanga bagalamidde ku bitanda ebya zaabu n’effeeza ku lubalaza olwaliire n’amayinja aganyirira, amamyufu, n’ameeru, n’aga kyenvu n’amaddugavu. 71:7 Es 2:18; Dan 5:2Mu kugabula kwa kabaka, wayini yaweerezebwa mu bikopo bya zaabu, nga buli kimu tekifanagana na kinnaakyo, ne wayini wa Kabaka yali mungi ddala. 8Buli mugenyi yanywanga nga bwe yayagala kubanga kabaka yalagira nti, “Buli mugenyi anywe nga bw’ayagala.”

91:9 1Bk 3:15Ne Nnabagereka Vasuti naye n’agabula abakyala embaga mu lubiri lwa Kabaka Akaswero.

101:10 a Bal 16:25; Lus 3:7 b Lub 14:18; Es 3:15; 5:6; 7:2; Nge 31:4-7; Dan 5:1-4 c Es 7:9Awo ku lunaku olwomusanvu, Kabaka Akaswero mu ssanyu lingi olwa wayini gwe yali anywedde, n’alagira abalaawe musanvu, abaamuweerezanga: Mekumani, ne Bizusa, ne Kalubona, ne Bigusa, ne Abagusa, ne Zesali ne Kalukasi, 111:11 a Lu 2:4 b Zab 45:11; Ez 16:14okugenda okuyita Nnabagereka Vasuti ajje mu maaso ge ng’atikkiddwa engule eya Nnabagereka, asobole okulaga obubalagavu bwe eri abantu n’abakungu, kubanga yali mulungi, mubalagavu okukamala. 121:12 Lub 39:19; Es 2:21; 7:7; Nge 19:12Naye abaweereza bwe baatuusa ekiragiro kya kabaka, Nnabagareka Vasuti n’agaana okugenda. Era ekyavaamu kabaka n’asunguwala, era obusungu bwe ne bubuubuuka. 131:13 1By 12:32; Yer 10:7; Dan 2:12Naye Kabaka yalina empisa ey’okwebuuzanga ku bakugu mu by’amateeka, era n’ateesa n’abasajja abagezigezi abategeera ebifa ku nsonga eyo. 141:14 2Bk 25:19; Ezr 7:14Amannya ga bakungu abo abakulu omusanvu mu bwakabaka bwe Buperusi ne Bumeedi ge gano: Kalusena, ne Sesali, ne Adumasa, ne Talusiisi, ne Meresi, ne Malusema ne Memukani. Bano be baamubeeranga ku lusegere.

15Awo Kabaka n’ababuuza nti, “Okusinziira ku mateeka, Nnabagereka Vasuti agwanidde kibonerezo ki olw’obutagondera kiragiro kya Kabaka Akaswero ekimutuusibbwako abalaawe?” 16Memukani n’addamu Kabaka n’abakungu nti, “Nnabagereka Vasuti asobezza nnyo, ate si eri Kabaka yekka, naye n’eri abakungu n’abantu bonna ab’omu bitundu byonna Kabaka Akaswero by’afuga. 17Era olw’enneeyisa Nnabagereka gye yeeyisizaamu, bwe kinaamanyibwa abakyala, nabo bajja kunyoomanga ba bbaabwe nga bagamba nti, ‘Nga Kabaka Akaswero yalagira Nnabagereka Vasuti okuleetebwa gy’ali, n’ajeema.’ 181:18 Nge 19:13; 27:15Era olunaku lwa leero abakyala bonna mu Buperusi ne Bumeedi aba bakungu abawulidde ku nneeyisa ya Nnabagereka bajjanga kweyisa mu ngeri y’emu eri abakungu ba Kabaka. Era obunyoomi wamu n’obutabanguko tebuggwengawo mu maka. 191:19 a Mub 8:4 b Es 8:8; Dan 6:8, 12Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga. 20Awo ekiragiro kya kabaka bwe kinaabuna mu bwakabaka bwonna, abakyala bonna banassangamu ba bbaabwe ekitiibwa okuva ku wawagulu okutuukira ddala ku wawansi asembayo.”

21Ekigambo ekyo kyasanyusa nnyo Kabaka n’abakungu be, era Kabaka n’akola ng’ekiteeso kya Memukani bwe kyali. 221:22 Nek 13:24; Es 8:9; Bef 5:22-24; 1Ti 2:12N’aweereza obubaka eri ebitundu byonna eby’obwakabaka buli ssaza ebbaluwa yaayo, era buli bantu mu lulimi lwabwe nga bugamba nti buli musajja afugenga mu nnyumba ye.