尼希米记 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

尼希米记 1:1-11

尼希米的祷告

1以下是哈迦利亚的儿子尼希米的记述。

波斯亚达薛西二十年基斯流月1:1 基斯流月”即希伯来历的九月,阳历是十一月中旬到十二月中旬。,我在书珊城里。 2犹大来了我的一个兄弟哈拿尼和一些人,我问他们有关从流亡之地归回的犹太余民和耶路撒冷的情况。 3他们回答说:“那些从流亡之地归回犹大省的人深陷苦难,饱受凌辱。耶路撒冷的城墙已经倒塌,城门也被烧毁。”

4我一听见这消息,就坐下痛哭,悲伤了好几天。我在天上的上帝面前禁食祷告,说:

5“天上的上帝耶和华啊,你是伟大而可畏的上帝,你向爱你、守你诫命的人守约,施慈爱。 6仆人在你面前昼夜为你的众仆人以色列民祈祷,求你睁眼察看,侧耳倾听。我承认以色列人向你所犯的罪,以及我和我的家族所犯的罪。 7我们行事败坏,没有遵守你赐给你仆人摩西的诫命、律例和典章。 8求你顾念你对你仆人摩西所说的话,‘如果你们不忠,我必把你们驱散到列邦中。 9但如果你们转向我,谨遵我的诫命,即使你们流落天涯,我也必从那里把你们召集到我选为我名所在之地。’ 10我们是你的仆人、你的子民,是你用大能大力救赎的。 11主啊,求你侧耳听你仆人的祷告,垂听那些喜爱敬畏你名的众仆人的祈求,使你仆人今天亨通,在王面前蒙恩。”

我是王的侍酒总管。

Luganda Contemporary Bible

Nekkemiya 1:1-11

Okusaba kwa Nekkemiya

11:1 Nek 10:1; Zek 7:1Ebigambo bya Nekkemiya mutabani wa Kakaliya:

Awo mu mwezi gwa Kisuleevu mu mwaka ogw’amakumi abiri1:1 Bino byabaawo oluvannyuma lw’emyaka kyenda mu gumu (91), ng’abaawaŋŋangusibwa bakomyewo; nga mu mwaka 446 bc. bwe nnali nga ndi mu lubiri mu kibuga ekikulu ekya Susani,1:1 Susani ky’ekibuga bakabaka b’e Buperusi abasatu gye baabeeranga mu biseera eby’obutiti. Ekibuga ekyo kyali mu kiwonvu ky’omugga Tigiriisi. 21:2 a Nek 7:2 b Yer 52:28Kanani, omu ku baganda bange, n’ajja n’abamu ku basajja okuva mu Yuda, ne mubuuza ku bikwata ku kitundu ky’Abayudaaya ekyasigalawo, ne ku bifa mu Yerusaalemi. 31:3 2Bk 25:10; Nek 2:3, 13, 17Ne bantegeeza nti, “Abaawaŋŋangusibwa abaddayo mu ssaza1:3 Obwakabaka bwa Buperusi bwalina amasaza asatu. Essaza lya Yuda lyafugibwanga mu Samaliya. bali mu kabi kanene ne mu nnaku nnyingi; bbugwe wa Yerusaalemi yamenyebwa, era ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro.” 41:4 a Zab 137:1 b Ezr 9:4Awo bwe nawulira ebigambo ebyo, ne ntuula wansi ne nkaaba, ne mmala ebiro nga nnakuwadde, nga nsiiba era nga nsaba mu maaso ga Katonda w’eggulu. 51:5 a Ma 7:21; Nek 4:14 b Kuv 20:6; Dan 9:4Ne njogera nti,

“Ayi Mukama Katonda w’eggulu, Katonda omukulu ow’entiisa, akuuma endagaano ye, era ayagala abo abagondera amateeka ge. 61:6 a 1Bk 8:29 b Dan 9:17Ozibule amaaso go, otege okutu okuwulira okusaba kw’omuddu wo kwe nsaba mu maaso go emisana n’ekiro ku lwa baddu bo abantu ba Isirayiri. Njatula ebibi bye twakola, ffe Abayisirayiri, nga nange n’ennyumba ya kitange mwe tuli. 71:7 Ma 28:14-15; Zab 106:6Twasobya mu maaso go, ne tutagoberera mateeka go n’ebiragiro byo bye watuma omuddu wo Musa.

81:8 a 2Bk 20:3 b Lv 26:33“Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga, 91:9 a Ma 30:4 b 1Bk 8:48; Yer 29:14naye bwe mulikyuka ne mukomawo gye ndi, ne mugondera amateeka gange, abantu bammwe abaawaŋŋangusibwa ne bwe banaabeeranga ku nkomerero y’eggulu, ndibakuŋŋaanyayo ne mbaleeta mu kifo kye neeroboza okubeerangamu Erinnya lyange.’

101:10 Kuv 32:11; Ma 9:29“Abo be baddu bo era be bantu bo be wanunula n’amaanyi go amangi era n’omukono gwo ogw’amaanyi. 111:11 a nny 6 b Lub 40:1Ayi Mukama, otege okutu eri okusaba kw’omuddu wo n’eri okusaba kw’abaddu bo abatya erinnya lyo. Omuddu wo omusobozese okulaba ekisa mu maaso g’omusajja ono.”

Ebiro ebyo nnali musenero wa kabaka.