以斯拉记 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯拉记 1:1-11

塞鲁士下令犹太人回国

1波斯塞鲁士元年,耶和华为要应验祂借耶利米所说的话,就感动波斯塞鲁士,使他下诏通告全国:

2波斯塞鲁士如此说,‘天上的上帝耶和华已把天下万国都赐给我,祂吩咐我在犹大耶路撒冷为祂建造殿宇。 3你们当中凡是耶和华的子民,都可以去犹大耶路撒冷,为住在耶路撒冷以色列的上帝耶和华建殿,愿上帝与他们同在! 4凡留下不回国的人,无论住在哪里,都要用金银、财物和牲畜帮助同区那些将要回国的人,此外还要为耶路撒冷的上帝的殿献上自愿献的礼物。’”

5于是,犹大便雅悯的族长、祭司和利未人——所有被上帝感动的人都准备上耶路撒冷重建耶和华的殿。 6他们周围的人除了献上自愿献的礼物外,还拿出银器、金子、财物、牲畜和珍宝来支持他们。 7巴比伦尼布甲尼撒曾从耶路撒冷耶和华的殿里带回珍贵的器皿,放在自己神明的庙里。波斯塞鲁士将这些器皿取出来, 8派财政大臣米提利达如数交给犹大的首领设巴萨9三十个金盘、一千个银盘、二十九把刀、 10三十个金碗、四百一十个次等银碗及一千件其他器皿, 11共有五千四百件金银器皿。被掳者从巴比伦耶路撒冷时,设巴萨把这些器皿一并带去。

Luganda Contemporary Bible

Ezera 1:1-11

Kuulo Ayamba Abawaŋŋanguse okuddayo

11:1 a Yer 25:11-12; 29:10-14 b 2By 36:22, 23Awo mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Kuulo kabaka wa Buperusi, ekigambo Mukama kye yayogerera mu Yeremiya ne kituukirira, Mukama n’akoma ku mutima gwa Kuulo kabaka w’e Buperusi okulangirira mu bwakabaka bwe bwonna, n’okukiteeka mu buwandiike nti,

21:2 a Is 44:28; 45:13 b Ezr 5:13“Bw’ati bw’ayogera Kuulo1:2 Kuulo Obwakabaka bwa Kuulo bwavanga mu Buyindi ne butuuka ku Misiri, n’okuva ku Nnyanja Emyufu mu guyanja gw’e Buperusi okutuuka mu Esiyopya. kabaka w’e Buperusi nti,

“ ‘Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde, era annonze okumuzimbira yeekaalu e Yerusaalemi mu Yuda. 3Omuntu yenna mu mmwe abantu be, Katonda we abeere naye, agende e Yerusaalemi mu Yuda addaabirize yeekaalu ya Mukama, Katonda wa Isirayiri, Katonda ali mu Yerusaalemi. 41:4 a Is 10:20-22 b Kbl 15:3; Zab 50:14; 54:6; 116:17 c Ezr 4:3; 5:13; 6:3, 14Na buli Muyisirayiri eyasigalawo gy’ali, abantu abo baabeeramu, banaamuwa ffeeza ne zaabu, n’ebintu n’ebisolo ebirundibwa, obutasaako ebiweebwayo bye bawaayo ku bwabwe ebya yeekaalu ya Katonda eri mu Yerusaalemi.’ ”

51:5 a Ezr 4:1; Nek 11:4 b nny 1; Kuv 35:20-22; 2By 36:22; Kag 1:14; Baf 2:13 c Zab 127:1Awo abakulu b’ennyumba za Yuda ne Benyamini, ne bakabona, n’Abaleevi, na buli muntu Katonda gwe yakubiriza, ne beeteekateeka okwambuka okugenda okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama eri mu Yerusaalemi1:5 Olugendo lwali wakati wa kilomita 900 ne kilomita 1,000, nga lwa myezi ebiri oba esatu. 6Baliraanwa baabwe bonna ne babawa ebintu ebya ffeeza ne zaabu, n’ebintu ebirala n’ebisolo ebirundibwa, n’ebirabo eby’omuwendo omungi, okwo nga kwe kuli ebiweebwayo bye baawaayo nga beeyagalidde. 71:7 2Bk 24:13; 2By 36:7, 10; Ezr 5:14; 6:5Ebintu ebyali mu yeekaalu ya Mukama, Nebukadduneeza bye yanyaga mu Yerusaalemi n’abiteeka mu ssabo lya bakatonda be, Kabaka Kuulo, n’abiggyayo. 81:8 Ezr 5:14Kuulo kabaka w’e Buperusi n’abikwasa Misuledasi omuwanika, eyabikwasa Sesubazzali omulangira wa Yuda.

9Guno gwe gwali omuwendo gwabyo:

Esowaani eza zaabu amakumi asatu 30,Esowaani eza ffeeza lukumi 1,000,Ebiso ebya ffeeza amakumi abiri mu mwenda 29,10Ebibya ebya zaabu amakumi asatu 30,n’ebibya ebya ffeeza ebigenderako ebikumi bina mu kumi 410,n’ebintu ebirala lukumi 1,000.

11Byonna awamu ebintu ebya zaabu ne ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina (5,400).

Sesubazzali n’agenda nabyo byonna e Yerusaalemi okuva e Babulooni mu buwaŋŋanguse.