以斯拉记 2 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯拉记 2:1-70

回归的流亡者名单

1巴比伦尼布甲尼撒从前把犹大省的人掳到巴比伦,这些人的子孙从流亡之地返回耶路撒冷犹大后,各回本城。 2他们是与所罗巴伯耶书亚尼希米西莱雅利来雅末底改必珊米斯拔比革瓦伊利宏巴拿一同回来的。

以下是返回的以色列人的数目:

3巴录的子孙两千一百七十二人; 4示法提雅的子孙三百七十二人; 5亚拉的子孙七百七十五人; 6巴哈·摩押的子孙,即耶书亚约押的子孙两千八百一十二人; 7以拦的子孙一千二百五十四人; 8萨土的子孙九百四十五人; 9萨改的子孙七百六十人; 10巴尼的子孙六百四十二人; 11比拜的子孙六百二十三人; 12押甲的子孙一千二百二十二人; 13亚多尼干的子孙六百六十六人; 14比革瓦伊的子孙两千零五十六人; 15亚丁的子孙四百五十四人; 16亚特的子孙,即希西迦的子孙九十八人; 17比赛的子孙三百二十三人; 18约拉的子孙一百一十二人; 19哈顺的子孙二百二十三人; 20吉罢珥的子孙九十五人。

21伯利恒人一百二十三名; 22尼陀法人五十六名; 23亚拿突人一百二十八名; 24亚斯玛弗人四十二名; 25基列·耶琳人、基非拉人和比录人七百四十三名; 26拉玛人和迦巴人六百二十一名; 27默玛人一百二十二名; 28伯特利人和人二百二十三名; 29尼波人五十二名; 30末必人一百五十六名; 31另一个以拦的子孙一千二百五十四人; 32哈琳人三百二十名; 33罗德人、哈第人和阿挪人七百二十五名; 34耶利哥人三百四十五名; 35西拿人三千六百三十名。

36祭司有耶大雅的子孙,即耶书亚的子孙九百七十三人; 37音麦的子孙一千零五十二人; 38巴施户珥的子孙一千二百四十七人; 39哈琳的子孙一千零一十七人。

40利未人有何达威雅的子孙,即耶书亚甲篾的子孙七十四人; 41负责歌乐的亚萨的子孙一百二十八人; 42负责守卫殿门的沙龙的子孙、亚特的子孙、达们的子孙、亚谷的子孙、哈底大的子孙和朔拜的子孙一百三十九人。

43殿役有西哈的子孙、哈苏巴的子孙、答巴俄的子孙、 44基绿的子孙、西亚的子孙、巴顿的子孙、 45利巴拿的子孙、哈迦巴的子孙、亚谷的子孙、 46哈甲的子孙、萨买的子孙、哈难的子孙、 47吉德的子孙、迦哈的子孙、利亚雅的子孙、 48利汛的子孙、尼哥大的子孙、迦散的子孙、 49乌撒的子孙、巴西亚的子孙、比赛的子孙、 50押拿的子孙、米乌宁的子孙、尼普心的子孙、 51巴卜的子孙、哈古巴的子孙、哈忽的子孙、 52巴洗律的子孙、米希大的子孙、哈沙的子孙、 53巴柯的子孙、西西拉的子孙、答玛的子孙、 54尼细亚的子孙和哈提法的子孙。

55所罗门仆人的子孙有琐太的子孙、琐斐列的子孙、比路大的子孙、 56雅拉的子孙、达昆的子孙、吉德的子孙、 57示法提雅的子孙、哈替的子孙、玻黑列·哈斯巴音的子孙和亚米的子孙。

58殿役和所罗门仆人的子孙共三百九十二人。

59以下这些人来自特·米拉特·哈萨基绿押但音麦,但不能证明自己是以色列人的后代: 60第来雅的子孙、多比雅的子孙和尼哥大的子孙,共六百五十二人。

61-62祭司中的哈巴雅宗族、哈哥斯宗族和巴西莱宗族,在族谱中都找不到自己的谱系,因此他们算为不洁净,不能做祭司。巴西莱子孙的祖先娶了基列巴西莱的女儿为妻,因此取名叫巴西莱63省长吩咐他们,要等到用乌陵和土明求问上帝的祭司出现后,才可以吃至圣之物。

64回到犹大的人共四万二千三百六十名。 65此外还有他们的七千三百三十七名男女仆婢,二百名男女歌乐手, 66七百三十六匹马,二百四十五匹骡子, 67四百三十五头骆驼和六千七百二十头驴。

68有些族长来到耶路撒冷耶和华的殿时,甘愿为上帝的殿献上礼物,用来在旧址上重新建殿。 69他们尽自己的能力为这工程捐献了五百公斤金子,三吨银子,以及一百件祭司礼服。

70祭司、利未人、一些百姓、歌乐手、殿门守卫和殿役住在自己的城里,其余的以色列人也都住在自己的城里。

Luganda Contemporary Bible

Ezera 2:1-70

Olukalala olw’Abawaŋŋangusibwa Abaddayo

12:1 a 2By 36:20; Nek 7:6 b 2Bk 24:16; 25:12 c Nek 7:73Bano be bantu ab’omu ssaza, abanyagibwa Kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni ne batwalibwa e Babulooni, abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda buli muntu mu kibuga ky’ewaabwe. 22:2 a 1By 3:19 b Ezr 3:2 c Nek 10:2Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya2:2 Nekkemiya ono, si ye oli eyawandiika ekitabo kya Nekkemiya., ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.

Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:

32:3 Ezr 8:3bazzukulu ba Palosi enkumi bbiri mu kikumi mu nsavu mu babiri (2,172),

4bazzukulu ba Sefatiya bisatu mu nsavu mu babiri (372),

5bazzukulu ba Ala lusanvu mu nsavu mu bataano (775),

6bazzukulu ba Pakasumowaabu ab’olunnyiriri olwa Yesuwa ne Yowaabu enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi na babiri (2,812),

7bazzukulu ba Eramu lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),

8bazzukulu ba Zattu lwenda mu ana mu bataano (945),

9bazzukulu ba Zakkayi lusanvu mu nkaaga (760),

10bazzukulu ba Bani lukaaga mu ana mu babiri (642),

11bazzukulu ba Bebayi lukaaga mu abiri mu basatu (623),

12bazzukulu ba Azugaadi lukumi mu bibiri mu abiri mu babiri (1,222),

132:13 Ezr 8:13bazzukulu ba Adonikamu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga (666),

14bazzukulu ba Biguvaayi enkumi bbiri mu amakumi ataano mu mukaaga (2,056),

15bazzukulu ba Adini ebikumi bina mu ataano mu bana (454),

16bazzukulu ba Ateri ow’olunnyiriri lwa Keezeekiya kyenda mu munaana (98),

17bazzukulu ba Bezayi ebikumi bisatu mu amakumi abiri mu basatu (323),

18bazzukulu ba Yola kikumi mu kumi na babiri (112),

19bazzukulu ba Kasumu ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),

20bazzukulu ba Gibbali kyenda mu bataano (95).

212:21 Mi 5:2Abazzukulu ab’e Besirekemu kikumi mu abiri mu basatu (123),

22abazzukulu ab’e Netofa amakumi ataano mu mukaaga (56),

23abazzukulu ab’e Anasosi kikumi abiri mu munaana (128),

24abazzukulu ab’e Azumavesi amakumi ana mu babiri (42),

25abazzukulu ab’e Kiriaswalimu, n’e Kefira n’e Beerosi lusanvu mu ana mu basatu (743),

262:26 Yos 18:25abazzukulu ab’e Laama n’e Geba lukaaga mu abiri mu omu (621),

27abazzukulu ab’e Mikumasi kikumi mu abiri mu babiri (122),

282:28 Lub 12:8abazzukulu ab’e Beseri n’e Ayi ebikumi bibiri mu abiri mu basatu (223),

29abazzukulu ab’e Nebo amakumi ataano mu babiri (52),

30abazzukulu ab’e Magubisi kikumi ataano mu mukaaga (156),

31abazzukulu ab’e Eramu omulala lukumi mu bibiri mu ataano mu bana (1,254),

32abazzukulu ab’e Kalimu ebikumi bisatu mu amakumi abiri (320),

33abazzukulu ab’e Loodi, n’e Kadidi, n’e Ono lusanvu mu abiri mu bataano (725),

342:34 1Bk 16:34; 2By 28:15abazzukulu ab’e Yeriko ebikumi bisatu mu amakumi ana mu bataano (345),

35n’abazzukulu ab’e Sena enkumi ssatu mu lukaaga mu amakumi asatu (3,630).

362:36 1By 24:7Bano be bakabona:

bazzukulu ba Yedaya ab’ennyumba ya Yesuwa lwenda mu nsavu mu basatu (973),

372:37 1By 24:14bazzukulu ba Immeri lukumi mu amakumi ataano mu babiri (1,052),

382:38 1By 9:12bazzukulu ba Pasukuli lukumi mu bibiri mu amakumi ana mu musanvu (1,247),

392:39 1By 24:8bazzukulu ba Kalimu lukumi mu kumi na musanvu (1,017).

402:40 a Lub 29:34; Kbl 3:9; Ma 18:6-7; 1By 16:4; Ezr 7:7; 8:15; Nek 12:24 b Ezr 3:9Ne bano be Baleevi:

bazzukulu ba Yesuwa ne Kadumyeri ab’olunnyiriri olwa Kadaviya nsavu mu bana (74).

412:41 1By 15:16Bano be bayimbi:

bazzukulu ba Asafu2:41 Asafu y’omu ku Baleevi, Dawudi be yalonda okuvunaanyizibwanga eby’okuyimba kikumi mu amakumi abiri mu munaana (128).

422:42 1Sa 3:15; 1By 9:17Bano be baakuumanga2:42 Abaakuumanga baali Baleevi abaavunaanyizibwanga okukuuma omulyango gwa Yeekaalu. enzigi za yeekaalu:

bazzukulu ba Sallumu, bazzukulu ba Ateri, bazzukulu ba Talumoni, bazzukulu ba Akkubu, bazzukulu ba Katita, ne bazzukulu ba Sobayi kikumi mu amakumi asatu mu mwenda (139).

432:43 1By 9:2; Nek 11:21Abaaweerezanga mu yeekaalu be bano:

bazzukulu ba Zika, bazzukulu ba Kasufa, bazzukulu ba Tabbawoosi,

44bazzukulu ba Kerosi, bazzukulu ba Siyaka, bazzukulu ba Padoni,

45bazzukulu ba Lebana, bazzukulu ba Kagaba, bazzukulu ba Akkubu,

46bazzukulu ba Kagabu, bazzukulu ba Samulaayi, bazzukulu ba Kanani,

47bazzukulu ba Gidderi, bazzukulu ba Gakali, bazzukulu ba Leyaya,

48bazzukulu ba Lezini, bazzukulu ba Nekoda, bazzukulu ba Gazzamu,

49bazzukulu ba Uzza, bazzukulu ba Paseya, bazzukulu ba Besayi,

50bazzukulu ba Asuna, bazzukulu ba Meyunimu, bazzukulu ba Nefisimu,

51bazzukulu ba Bakubuki, bazzukulu ba Kakufa, bazzukulu ba Kalukuli,

52bazzukulu ba Bazulusi, bazzukulu ba Mekida, bazzukulu ba Kalusa,

53bazzukulu ba Balukosi, bazzukulu ba Sisera, bazzukulu ba Tema,

54bazzukulu ba Neziya, ne bazzukulu ba Katifa.

55Bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani baali:

bazzukulu ba Sotayi, bazzukulu ba Kassoferesi, bazzukulu ba Peruda,

56bazzukulu ba Yaala, bazzukulu ba Dalukoni, bazzukulu ba Gidderi,

57bazzukulu ba Sefatiya, bazzukulu ba Kattiri, bazzukulu ba Pokeresukazzebayimu, ne bazzukulu ba Ami.

582:58 1Bk 9:21; 1By 9:2Omuwendo ogw’abaaweerezanga mu yeekaalu ne bazzukulu b’abaweereza ba Sulemaani bonna awamu, gwali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri (392).

592:59 Kbl 1:18Ne bano be baava mu bibuga eby’e Terumeera, n’e Terukalusa, n’e Kerubu, n’e Yaddani, n’e Immeri, naye tebaalina bukakafu bulaga nti bava mu nnyumba ya Isirayiri.

60Baali bazzukulu ba Deraya, bazzukulu ba Tobiya, ne bazzukulu ba Nekoda n’omuwendo gwabwe gwali lukaaga mu amakumi ataano mu babiri (652).

612:61 2Sa 17:27Ne ku bakabona kwaliko bazzukulu ba Kobaya,

ne bazzukulu ba Kakkozi, ne bazzukulu ba Baluzirayi eyawasa muwala wa Baluzirayi Omugireyaadi, n’atuumibwa erinnya eryo.

622:62 Kbl 3:10; 16:39-40Ate waaliwo abalala abaanoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa naye ne batagalaba, era ne batabalibwa mu bakabona kubanga kyagambibwa nti si balongoofu. 632:63 a Lv 2:3, 10 b Kuv 28:30; Kbl 27:21Omukulembeze n’abalagira baleme okulya ku bintu ebitukuvu ennyo, okuggyako nga waliwo kabona alina Ulimu ne Sumimu.

64Bonna awamu baali emitwalo ena mu enkumi bbiri mu bisatu mu nkaga (42,360), 652:65 2Sa 19:35okwo nga kw’otadde abaddu n’abaddu abakazi abaali kasanvu mu bisatu mu amakumi asatu mu musanvu (7,337), n’abayimbi2:65 Okugatta ku bayimbi Abaleevi, waabangawo n’abayimbi abalala abaayimbanga mu mbaga ez’enjawulo ne mu nnyimbe abasajja n’abakazi abaali ebikumi bibiri (200). 662:66 Is 66:20Baalina embalaasi lusanvu mu asatu mu mukaaga (736), n’ennyumbu ebikumi bibiri mu amakumi ana mu ttaano (245), 67n’eŋŋamira ebikumi bina mu amakumi asatu mu ttaano (435), n’endogoyi kakaaga mu lusanvu mu abiri (6,720).

682:68 Kuv 25:2Awo abakulu b’ennyumba z’abajjajjaabwe bwe baatuuka ku kifo ennyumba ya Mukama we yali mu Yerusaalemi, ne bawaayo ebiweebwayo nga beeyagalidde, olw’okuddaabiriza ennyumba ya Katonda. 69Ne bawaayo mu ggwanika ng’obusobozi bwabwe bwe bwali; ne bawaayo kilo bitaano eza zaabu (500), ne tani ssatu (3), n’ebyambalo bya bakabona kikumi (100) mu ggwanika.

702:70 nny 1; 1By 9:2; Nek 11:3-4Awo bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga enzigi za yeekaalu, n’abakozi ba yeekaalu ne baddayo mu bibuga byabwe, awamu n’abamu ku bantu abalala, n’Abayisirayiri abalala bonna ne baddayo mu bibuga byabwe.