士师记 8 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 8:1-35

基甸擒杀米甸二王

1后来,以法莲人对基甸说:“你攻打米甸人时为什么不召我们去?你为什么这样对待我们?”他们与他激烈地争论起来。

2基甸说:“我怎能比得上你们呢?以法莲人摘剩的葡萄岂不比我们亚比以谢族收获的葡萄更好吗? 3上帝把两名米甸人的首领俄立西伊伯交在了你们手中,我所做的有哪一件能与这事相比呢?我怎能比得上你们呢?”基甸这么一说,他们的怒气就平息了。

4基甸率领他的三百人渡过约旦河,虽然疲惫不堪,仍紧追敌人。 5基甸疏割的人说:“我们在追赶西巴撒慕拿两个米甸王,十分疲惫,请给我的军队一些饼吃。”

6疏割的首领却说:“你还没有抓到西巴撒慕拿,我们凭什么给你的军队饼吃?”

7基甸说:“好吧,耶和华把西巴撒慕拿交在我们手中后,我必回来用荒野的荆棘抽打你们。”

8基甸又去毗努伊勒提出同样的请求,也遭到拒绝。 9基甸对那里的人说:“我凯旋归来时,必拆毁你们的这座城楼。”

10那时,西巴撒慕拿率领东方各族的残余军队一万五千人驻扎在加各,因为已经有十二万刀兵被杀。 11基甸取道挪巴约比哈东边游牧者走的路,出其不意地突袭米甸人。 12米甸二王西巴撒慕拿逃跑,基甸追上去擒住他们,击溃他们全军。

13约阿施的儿子基甸从战场返回,经过希列斯山坡时, 14抓住一个疏割的青年,问他疏割的首领和长老是谁,他就写下疏割七十七位首领和长老的名字。 15基甸到了疏割,对那里的人说:“你们曾经讥笑我说,‘你还没有抓到西巴撒慕拿,我们凭什么给你疲惫的军队饼吃?’看!西巴撒慕拿在这里!” 16说完,就捉住城中的长老,用荒野的荆棘抽打他们。 17他又去拆毁毗努伊勒的城楼,杀了城里的人。

18基甸西巴撒慕拿:“你们在他泊山杀的人是什么样子?”他们回答说:“他们长得像你,都像王子一样。”

19基甸说:“他们是我同母所生的兄弟,我凭永活的耶和华起誓,如果你们当初不杀他们,今天我就不杀你们了。” 20于是,基甸对长子益帖说:“你杀死他们。”但益帖年纪小,心中害怕,不敢动手。

21西巴撒慕拿基甸说:“你亲自动手吧!这是男子汉做的事。”基甸便亲手杀了他们,拿走了他们骆驼颈上的月牙饰物。

基甸造以弗得

22以色列人对基甸说:“你从米甸人手中救了我们,请你和你的子孙统治我们。”

23基甸回答说:“我和我子孙都不统治你们,统治你们的是耶和华。 24但我有一个要求,请你们把抢来的耳环都给我。”原来米甸人属于以实玛利族,都戴金耳环。

25他们欣然同意,便铺开一件外衣,各自把抢来的金耳环都放在上面, 26重约二十公斤。此外,还有米甸王的月牙饰物、耳坠、紫袍以及骆驼颈上的金链。 27基甸用这些金子造了一件以弗得圣衣,放在自己的家乡俄弗拉。后来,以色列人拜那件以弗得,玷污自己,使基甸及其全家陷入网罗。

28这样,米甸人被以色列人征服了,从此一蹶不振。基甸在世之日,以色列境内安享太平四十年。

基甸去世

29约阿施的儿子耶路·巴力返回家乡居住。 30他有许多妻子,生了七十个儿子。 31他的妾住在示剑,也给他生了一个儿子,他给孩子取名叫亚比米勒32约阿施的儿子基甸年高寿终,葬在亚比以谢族的俄弗拉,在他父亲约阿施的坟墓里。

33基甸刚去世,以色列人便又与众巴力苟合,奉巴力·比利土为他们的神明, 34忘记了他们的上帝耶和华曾经从四围的仇敌手中拯救他们, 35也没有因耶路·巴力——基甸的功绩而厚待他的家人。

Luganda Contemporary Bible

Balam 8:1-35

18:1 a Bal 12:1 b 2Sa 19:41Awo abasajja ba Efulayimu ne babuuza Gidyoni nti, “Lwaki watuyisa bw’otyo, n’ototuyita bwe wagenda okulwana ne Midiyaani?” Ne bamunenya nnyo. 2Naye n’abaddamu nti, “Kiki kye nkoze okugeraageranya nammwe kye mukoze? Amakungula ga Efulayimu tegasinga ezabbibu Abiyezeeri z’akungudde? 38:3 Bal 7:25; Nge 15:1Katonda yagabula Olebu ne Zeebu abakulembeze ba Midiyaani mu mukono gwammwe. Kiki kye nandiyinzizza okukola okugeraageranya nammwe?” Awo bwe yabagamba ebigambo ebyo ne bakkakkana.

48:4 Bal 7:25Awo Gidyoni n’abasajja be ebikumi bisatu, nga bakooye, naye nga bakyabawondera, ne batuuka ku Yoludaani ne basomoka. 58:5 a Lub 33:17 b Zab 83:11N’agamba abasajja ab’omu Sukkosi nti, “Muwe ku basajja bange, ekyokulya, bakooye. Mpondera Zeba ne Zalumunna bakabaka ba Midiyaani.”

68:6 a 1Sa 25:11 b nny 15Naye abakungu ab’omu Sukkosi ne bamuddamu nti, “Eggye lyo limaze okuwamba Zeba ne Zalumunna tulyoke tubawe emmere?” 78:7 Bal 7:15Awo Gidyoni n’abaddamu nti, “Kale olw’ekyo kye muŋŋambye, Mukama Katonda bw’aligabula Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange, ndiyuza emibiri gyammwe n’amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo.” 88:8 Lub 32:30; 1Bk 12:25Bwe yava eyo, n’ayambuka n’alaga e Penieri8:8 Penieri ky’ekifo Yakobo gye yamegganira ne Katonda., n’abasaba ekintu kye kimu. Naye abantu b’e Penieri ne bamuddamu ng’abasajja ab’omu Sukkosi bwe bamuddamu. 98:9 nny 17Kyeyava agamba abantu b’e Penieri nti, “Bwe ndikomawo emirembe, ndimenyaamenya omunaala guno.”

108:10 Bal 6:5; 7:12; Is 9:4Zeba ne Zalumunna baali mu Kalukoli n’eggye lyabwe ery’abasajja ng’omutwalo gumu n’ekitundu, nga be bantu abaasigalawo ku ggye lyonna ery’abantu ab’obuvanjuba. Abasajja ng’emitwalo kkumi n’ebiri abaasowolanga ebitala be baali bafudde. 118:11 a Kbl 32:42 b Kbl 32:35Awo Gidyoni n’ayambukira mu kkubo ly’abo ababeera mu weema ku luuyi olw’ebuvanjuba olw’e Noba n’e Yogubeka n’alumba eggye nga teritegedde. 12Zeba ne Zalumunna ne badduka, naye n’abawondera, era n’awamba bakabaka bombi aba Midiyaani, n’awangulira ddala eggye lyabwe lyonna.

13Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’akomawo okuva mu lutalo ng’ayitira mu Lukuubo lwa Keresi. 14N’asangiriza omuvubuka ow’oku bantu ab’omu Sukkosi, n’abaako by’amubuuza. Omuvubuka n’amuwandiikira amannya g’abakungu ab’omu Sukkosi, abakadde nsanvu mu musanvu. 158:15 nny 6Gidyoni n’alyoka ajja eri abasajja ab’omu Sukkosi n’abagamba nti, “Zeba ne Zalumunna baabo be mwasinzirako okundulira nga muŋŋamba nti, temuyinza kuwa basajja bange abaali bakooye mmere, nga sirina Zeba ne Zalumunna mu mukono gwange.” 168:16 nny 7N’akwata abakadde b’ekibuga n’addira amaggwa ag’omu ddungu n’emyeramannyo n’abonereza abasajja ab’omu Sukkosi. 178:17 nny 9N’agenda n’e Penieri n’amenyaamenya omunaala gwa Penieri, n’atta n’abasajja b’omu kibuga.

188:18 Yos 19:22; Bal 4:6N’alyoka abuuza Zeba ne Zalumunna nti, “Abasajja be mwattira e Taboli baali bafaanana batya?” Ne bamuddamu nti, “ggwe nga bw’oli nabo bwe baali. Buli omu yali afaanana abalangira.” 19N’abaddamu nti, “Abo baali baganda bange, abaana ba mmange. Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, singa mwabalekawo, sandi basse mmwe.” 20Awo n’agamba Yeseri mutabani we omubereberye nti, “Golokoka obatte.” Naye omuvubuka oyo n’atasowolayo kitala kye okubatta. Yatya kubanga yali akyali mulenzi bulenzi. 218:21 nny 26; Zab 83:11Zeba ne Zalumunna ne boogera nti, “Ggwe jjangu otutte, kubanga ng’omusajja bw’ali, n’amaanyi ge bwe genkana. Gidyoni n’agolokoka n’atta Zeba ne Zalumunna, n’atwala n’ebyali bitimbiddwa mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe.”

22Awo abantu ba Isirayiri ne bagamba Gidyoni nti, “Tufugire ddala ggwe ne mutabani wo, kubanga otulokodde okuva mu mukono gwa Midiyaani.” 238:23 Kuv 16:8; 1Sa 8:7; 10:19; 12:12Naye Gidyoni n’abaddamu nti, “Nze sijja kubafuga, so ne mutabani wange tajja kubafuga, wabula Mukama y’anaabafuganga.” 248:24 Lub 25:13Gidyoni n’abagamba nti, “Mbasaba ekintu kimu; buli omu ku mmwe ampe empeta ze yanyaga ku Bayisimayiri.”

25Ne bamuddamu nti, “Okuzikuwa tujja kuzikuwa.” Ne bayalirira olugoye wansi, buli omu n’ateekako empeta ze yanyaga. 26Obuzito bw’empeta eza zaabu ne buba sekeri lukumi mu lusanvu (nga kilo kkumi na mwenda n’ekitundu), obutabalirako bya kwewoomya, ebirengejja, n’ebyambalo ebya ffulungu, ebyayambalwanga bakabaka ba Midiyaani, n’emikuufu egyateekebwanga mu bulago bw’eŋŋamira zaabwe. 278:27 a Bal 17:5; 18:14 b Ma 7:16; Zab 106:39Awo Gidyoni n’addira zaabu n’amusaanuusa n’amukolamu ekifaananyi eky’ekkanzu (efodi), n’akiteeka mu kibuga kye Ofula. Abayisirayiri bonna ne bakivuunamiranga ne bakisinzanga, era ne kifuukira Gidyoni n’enju ye yonna omutego.

288:28 Bal 5:31Awo Midiyaani n’ewangulwa abaana ba Isirayiri, era n’etaddayo kubalumba. Ensi n’eba n’emirembe okumala emyaka amakumi ana, Gidyoni gye yabalamula. 298:29 Bal 7:1Yerubbaali ye Gidyoni mutabani wa Yowaasi, n’addayo ewaabwe. 308:30 Bal 9:2, 5, 18, 24Gidyoni yazaala abaana aboobulenzi nsanvu mu bakazi abangi be yalina. 318:31 Bal 9:1N’omuzaana we ow’omu Sekemu yamuzaalira omwana wabulenzi, era n’amutuuma Abimereki. 328:32 Lub 25:8Awo Gidyoni mutabani wa Yowaasi n’afa, ng’akaddiye bulungi, n’aziikibwa mu ntaana ya kitaawe Yowaasi mu Ofula eky’Ababiezeri.

338:33 a Bal 2:11, 13, 19 b Bal 9:4 c Bal 9:27, 46Gidyoni nga y’akafa, abaana ba Isirayiri ne bakyuka okusinza babaali ne bafuula Baaluberisi8:33 Baaluberisi yali lubaale ng’essabo lye liri mu Sekemu katonda waabwe. 348:34 Bal 3:7; Ma 4:9; Zab 78:11, 42Abaana ba Isirayiri ne batajjukira Mukama Katonda waabwe eyabalokola okuva mu mukono gw’abalabe baabwe bonna ku njuyi zonna. 358:35 Bal 9:16Ne batalaga kusiima eri ab’enju ya Yerubbaali, ye Gidyoni, olw’ebirungi byonna bye yakolera Isirayiri.