士师记 7 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 7:1-25

基甸打败米甸人

1耶路·巴力,也就是基甸,清早起来,率领众人在哈律泉旁扎营,米甸人的军营在他们北边靠近摩利山的谷中。

2耶和华对基甸说:“你的人太多了,我不能把米甸人交在你们手中,免得以色列人以为是靠自己的力量救了自己。 3你要向他们宣布,胆小害怕的人可以离开基列山回家。”结果两万二千人离去,只剩下一万人。

4但耶和华对基甸说:“人还是太多,你带他们到下面的泉水边,我会在那里为你挑选人员。” 5于是,基甸把他们带到泉水边,耶和华对他说:“把像狗一样用舌头舔水喝的和跪着喝水的分开。” 6那时有三百人捧水舔着喝,其余的都跪着喝。 7耶和华对基甸说:“我要用这三百舔水喝的人拯救你们,我要把米甸人交在你手中。让其余的人都回家吧。” 8于是,基甸留下这三百人,把其余人的食物和号角收集起来,让他们回家。米甸人的军营就在他们下面的山谷里。

9当天晚上,耶和华吩咐基甸说:“起来,下去攻打敌营吧!我已把敌人交在你手中了。 10如果你害怕,可以和你的仆人普拉一起下到敌营, 11听听他们说什么,你就有胆量攻打敌营了。”于是,基甸就带着仆人普拉下到敌营旁。 12米甸人、亚玛力人及东方人像蝗虫一样布满山谷,他们的骆驼如海边的沙一样不计其数。 13基甸到了那里,听见一个人对同伴说:“我做了个梦,梦见一个大麦饼滚进我们的营中,把一个帐篷撞翻在地。” 14他的同伴说:“那不是别的,正是以色列约阿施的儿子基甸的刀,上帝把米甸人和整个军营都交在他手中了。”

15基甸听了这梦和梦的解释,就俯伏敬拜上帝。他回到以色列人的营中,大声喊道:“起来吧,耶和华已经把米甸军营交在你们手中了。” 16基甸把三百人分成三队,分给他们号角和藏有火把的瓦瓶, 17对他们说:“你们要看我的行动,当我们走到敌营旁边时,我怎么做,你们也要怎么做。 18我们这队吹响号角时,你们也要在敌营四周吹响号角,高喊,‘为了耶和华!为了基甸!’”

19午夜初,守卫刚换班,基甸带着一百人来到米甸营旁。他们吹响号角,打破手中的瓦瓶。 20其余的二百人也吹响号角,打破瓦瓶。他们左手举着火把,右手拿着号角,高喊:“为耶和华和基甸而战!” 21他们在敌营周围各守其位,米甸全军边喊边逃。 22基甸的三百人一起吹响号角时,耶和华使米甸人自相残杀。他们逃往西利拉伯·哈示他,一直逃到靠近他巴亚伯·米何拉的边境。

23基甸号召拿弗他利亚设玛拿西以色列人追杀米甸败军, 24又派人到整个以法莲山区,吩咐当地人攻打米甸人,占据远至伯·巴拉一带的约旦河渡口。以法莲人都依言而行, 25还生擒了米甸人的两名首领俄立西伊伯。他们在俄立磐石上杀死了俄立,在西伊伯榨酒池杀了西伊伯。他们继续追杀米甸人,并带着俄立西伊伯的人头穿过约旦河,交给基甸

Luganda Contemporary Bible

Balam 7:1-25

Gidyoni ayungula abalwanyi ebikumi bisatu

17:1 a Bal 6:32 b Lub 12:6Awo Gidyoni gwe baakazaako erya Yerubbaali, ne be yali nabo bonna, ne bakeera mu makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; Olusiisira lwa Bamidiyaani lwali mu bukiika obwa kkono mu kiwonvu, kumpi n’olusozi Mole. 27:2 Ma 8:17; 2Ko 4:7Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Abalwanyi bo basusse obungi; nze sibaganye kuwangula Abamidiyaani, Abayisirayiri baleme okwennyumiriza nti amaanyi gaabwe ge gabawanguzza. 37:3 Ma 20:8Noolwekyo kaakano genda olangirire eri abalwanyi bo nti, ‘Buli mutiitiizi yenna n’oyo akankana, ave ku lusozi luno Gireyaadi addeyo ewuwe.’ ” Abalwanyi emitwalo ebiri mu enkumi bbiri ne baddayo ewaabwe, ne wasigalawo omutwalo gumu.

47:4 1Sa 14:6Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Era abalwanyi bo bakyasusse obungi, baserengese ku mugga, eyo gye naabayunguliramu abasaanidde okugenda naawe n’abatasaanidde.”

5Awo Gidyoni n’aserengesa abalwanyi ku mugga, Mukama Katonda n’amugamba nti, “Buli mulwanyi anaasena amazzi n’engalo ze era n’aganywa ng’embwa mwawule okuva mu abo abanaafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa ne banywa. 6Abo bonna abaasena amazzi n’engalo zaabwe ne baganywa ng’embwa baali ebikumi bisatu, naye abalala bonna baafukamira ku mugga ne bakubamu emimwa okunywa.”

77:7 1Sa 14:6Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Nzija kubanunula era mbawe n’obuwanguzi ku ba Midiyaani nga nkozesa abalwanyi ebikumi ebisatu abaanywedde amazzi ng’embwa, naye abo bonna abasigaddewo bagambe beddireyo ewaabwe.” 8Awo Gidyoni n’asigaza abalwanyi be ebikumi ebisatu, bali abalala n’abakuŋŋaanyaako emmere n’amakondeere gaabwe, n’abalagira ne beddirayo ewaabwe.

Olusiisira lw’Abamidiyaani lwamuli kyemmanga mu kiwonvu. 97:9 Yos 2:24; 10:8; 11:6Ekiro ekyo Mukama Katonda n’amulagira nti, “Situkiramu olumbe eggye ly’Abamidiyaani mu lusiisira kubanga mbawaddeyo mu mikono gyo. 10Naye obanga otya okubalumba genda ne Pula omuweerezaawo: 11era bw’onoowulira bye boogera onoofuna obuvumu okubalumba. Gidyoni n’omuweereza we Pula ne basemberera olusiisira lw’Abamidiyaani.” 127:12 a Bal 8:10 b Bal 6:5 c Yer 49:29 d Yos 11:4Abamidiyaani, Abamaleki n’Abamawanga amalala ag’ebuvanjuba abaali mu kiwonvu, mu bungi baali ng’enzige; era n’eŋŋamira zaabwe mu bungi, nga ziri ng’empeke z’omusenyu oguli ku lubalama lw’ennyanja.

13Gidyoni aba atuuka bw’ati ku lusiisira n’awulira omukuumi ng’ategeeza munne ekirooto nti, “Naloota nga omugaati gwa sayiri guyiringise, gutomedde eweema ne yevuunika.” 14Munne n’amuddamu nti, “Ekyo si kirala wabula kitala ky’omusajja Omuyisirayiri Gidyoni mutabani wa Yowaasi. Era oyo Katonda amuwadde obuwanguzi ku ba Midiyaani n’eggye lyaffe lyonna.”

157:15 1Sa 15:31Gidyoni bwe yamala okuwulira ekirooto ekyo n’amakulu gaakyo, n’avuunama n’asinza Mukama Katonda; era n’addayo mu lusiisira lw’Abayisirayiri n’abalagira nti, “Musitukiremu; kubanga Mukama abawadde obuwanguzi ku ggye ly’Abamidiyaani.” 167:16 a Lub 14:15 b 2Sa 18:2Awo Abasajja bali ebikumi ebisatu n’abawulamu ebibinja bisatu, buli omu ku bo n’amukwasa ekkondeere n’ensuwa ng’erimu ekitawuliro.

17N’abagamba nti, “Munnekalirize, bwe tunaaba tunaatera okutuuka ku lusiisira buli kye nnaakola nammwe nga mukikola. 187:18 Bal 3:27Nze n’abo benaabeera nabo, bwe tunaafuuwa amakondeere gaffe, nammwe ne mufuuwa agammwe, ne muleekaanira waggulu nti, ‘Ku lwa Mukama Katonda ne ku lwa Gidyoni.’ ”

Aba Midiyaani balinnyibwa ku nfeete

19Eyo mu ttumbi nga Abamidiyaani baakajja bakyuse ekibinja ky’abakuumi, Gidyoni n’abalwanyi ekikumi be yali nabo, ne basemberera olusiisira, ne bafuuwa amakondeere, ne baasa n’ensuwa ze baali bakutte. 207:20 nny 14Ebibinja ebirala nabo ne bafuuwa amakondeere, ne baasa ensuwa zaabwe, ne bakwata ebitawuliro mu mikono gyabwe egya kkono, n’amakondeere mu mikono gyabwe egya ddyo, ne bafuuwa nga bwe baleekaanira waggulu nti, “Ekitala kya Mukama Katonda era n’ekya Gidyoni.” 217:21 2Bk 7:7Buli mulwanyi n’ayimirira mu kifo kye okwetooloola olusiisira: eggye lyonna ery’Abamidiyaani ne bafubutuka nga bwe baleekaanira waggulu.

227:22 a Yos 6:20 b 1Sa 14:20; 2By 20:23 c 1Bk 4:12; 19:16Awo amakondeere ebikumi ebisatu bwe gaafuuyibwa, Mukama Katonda n’atabulatabula Abamidiyaani ne battiŋŋana bokka na bokka n’ebitala byabwe era n’eggye lyabwe lyonna ne lifubutulwa okutuukira ddala e Besusitta okwolekera e Zerera, era n’okutuukira ddala Aberumekola okumpi ne Tabbasi. 237:23 Bal 6:35Abalwanyi ba Isirayiri bonna okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Aseri n’ekya Manase, ne bakoowoolebwa okuwondera Abamidiyaani. 247:24 Bal 3:28Gidyoni n’asindika ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Efulayimu eky’ensozi: babalagire nti, “Muserengete era muwondere Abamidiyaani, mubasooke okwekwata omugga Yoludaani era n’enzizi okutuukira ddala e Besubata.”

Awo abalwanyi bonna ab’omu kika kya Efulayimu ne bakoowoolwa, ne bawamba omugga Yoludaani n’enzizi zonna okutuukira ddala e Besubata. 257:25 a Bal 8:3; Zab 83:11 b Is 10:26 c Bal 8:4Ne bawamba Olebu ne Zeebu bombi abalangira ba Midiyaani; Olebu ne bamuttira ku lwazi olumanyiddwa nga “Olwazi lwa Olebu” ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero erimanyiddwa nga “essogolero lya Zeebu”, ne bongera okuwondera Abamidiyaani. Omutwe gwa Olebu n’ogwa Zeebu, Gidyoni ne bagimusanza emitala wa Yoludaani.