士师记 9 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 9:1-57

亚比米勒做王

1耶路·巴力的儿子亚比米勒示剑的舅舅家,对外祖父全家说: 2“请你们去问示剑人,耶路·巴力的七十个儿子统治他们好呢,还是一个人统治他们好呢?别忘记我是你们的骨肉至亲。” 3他们便将他的话转告示剑人。示剑人因为亚比米勒是他们的亲戚,都拥护他, 4巴力·比利土的庙里拿了七十块银子给他。他用这些钱收买了一班无赖做随从。 5他前往俄弗拉,来到他父亲家,在一块磐石上杀死了他七十个同父异母的兄弟,只有耶路·巴力的小儿子约坦躲了起来,幸免于难。 6示剑米罗的人都聚集到示剑石柱旁的橡树下,拥立亚比米勒为王。

7约坦听见这消息,便上到基利心山顶,高喊:“示剑人啊,你们要听我说,这样上帝也会听你们说。 8从前,树木要选一个王,它们对橄榄树说,‘你来做我们的王。’ 9橄榄树说,‘我怎能因为贪图凌驾于众树之上而停止出产用来尊崇神与人的橄榄油呢?’ 10树木对无花果树说,‘你来做我们的王。’ 11无花果树说,‘我怎能因为贪图凌驾于众树之上而停止出产甜美的果子呢?’ 12于是,树木对葡萄树说,‘你来做我们的王。’ 13葡萄树说,‘我怎能因为贪图凌驾于众树之上而停止出产令神明和世人都快乐的美酒呢?’ 14最后,所有的树木都对荆棘说,‘你来做我们的王。’ 15荆棘回答说,‘倘若你们诚心立我为你们的王,就投靠在我的荫下吧;不然,愿火从荆棘中冒出来吞噬黎巴嫩的香柏树。’

16“现在你们立亚比米勒为王,光明正大吗?你们有没有善待耶路·巴力和他一家?有没有按他的功绩对待他? 17你们想想,从前我父亲为你们出生入死,从米甸人手中拯救你们。 18现在你们却背叛我父亲家,在一块磐石上杀死他七十个儿子。因为他婢女的儿子亚比米勒是你们的亲戚,你们就立亚比米勒为王。 19倘若你们光明正大地对待了耶路·巴力一家,愿你们给亚比米勒带来快乐,也愿亚比米勒给你们带来快乐。 20否则,愿亚比米勒烧灭你们示剑人和米罗人,也愿你们示剑人和米罗人烧灭亚比米勒。” 21约坦因惧怕他的兄弟亚比米勒,就逃往比珥居住。

亚比米勒毁灭示剑

22亚比米勒治理以色列三年后, 23上帝派遣一个邪灵挑起亚比米勒示剑人之间的争端,示剑人用诡诈的手段对待亚比米勒24这是要惩罚亚比米勒和帮他残杀耶路·巴力七十个儿子的示剑人。 25示剑人在山顶设下埋伏,等候亚比米勒,他们抢劫所有过路的行人。有人把这事告诉了亚比米勒

26以别的儿子迦勒和他的弟兄来到示剑示剑人都信任他们。 27示剑人出城到田间采摘葡萄,踩榨葡萄汁,然后在他们的神庙中欢宴,尽情吃喝,咒诅亚比米勒28以别的儿子迦勒说:“亚比米勒是谁?我们示剑人是谁,竟要服侍他?他不就是耶路·巴力的儿子吗?他的帮手不就是西布勒吗?我们为什么要服侍他?你们要服侍示剑人祖先哈抹的后代。 29要是这百姓归我领导就好了!我会除掉亚比米勒,我会挑战他召集全军来战9:29 我会挑战他召集全军来战”参考七十士译本;希伯来文为“他对亚比米勒说:‘召集你的全军来战吧!’”。”

30示剑城的官长西布勒听见以别的儿子迦勒的话,勃然大怒, 31暗中派人对亚比米勒说:“以别的儿子迦勒和他的弟兄已经到了示剑,正在煽动全城反对你。 32请你晚上带着部下埋伏在田间, 33清晨日出时攻城。迦勒带着部下出来应战时,你便可以见机行事。”

34于是,亚比米勒带领军队夜间出发,兵分四路埋伏在示剑城外。 35早晨,以别的儿子迦勒出来站在城门口时,亚比米勒带领部下从埋伏的地方冲了出来。 36迦勒看见他们,便对西布勒说:“看!有人正从山顶下来。”西布勒说:“你把山影看成人了吧。” 37迦勒说:“看!有人正从山上下来,还有一队人正从占卜橡树那边的路上奔来。” 38西布勒说:“你的豪气哪里去了?你曾说,‘亚比米勒是谁,我们竟要服侍他?’这些不就是你讥笑的人吗?出去迎战吧!” 39于是,迦勒率领示剑人出城迎战亚比米勒40迦勒败逃,亚比米勒紧追不舍,沿途有许多人受伤倒在地上,一直到城门口。 41之后,亚比米勒住在亚鲁玛西布勒迦勒和他的弟兄逐出示剑

42第二天,示剑人出城来到田间。亚比米勒得知后, 43把部下兵分三队,埋伏在田间,等城里的人出来时,伏击他们。 44亚比米勒率领一队人冲到示剑的城门口,截断示剑人的退路,其他两队击杀田间的示剑人。 45亚比米勒鏖战一天,攻陷了示剑城,杀了城内的居民,把整座城夷为平地,还撒上了盐。

46示剑楼的人听到风声,躲进了巴力·比利土神庙的内堂。 47亚比米勒得知后, 48便领兵上撒门山用斧头砍下树枝,扛在肩上,并命令部下赶紧照做。 49他们都砍下一根树枝,跟着亚比米勒把树枝堆在神庙内堂的四周,放火烧死了里面所有的人,男女约一千人。

50随后,亚比米勒去围攻提备斯,占领了该城。 51全城的人都逃进城中一座坚固的城楼内,锁上大门,爬上楼顶。 52亚比米勒攻打城楼,走到城楼门口正准备放火时, 53有个妇人扔下一块磨石,砸烂了他的头。 54亚比米勒连忙对为他拿兵器的年轻人说:“拔刀杀了我吧,免得人们说,‘一位妇人杀了他。’”于是,那年轻人刺死了他。 55以色列人见亚比米勒已死,便各自回家了。 56上帝就这样使亚比米勒得到了报应,因为他残杀了自己的七十个兄弟, 57也让示剑人因自己的一切恶行而得到了报应。耶路·巴力的儿子约坦的咒诅临到了他们。

Luganda Contemporary Bible

Balam 9:1-57

19:1 Bal 8:31Abimereki mutabani wa Yerubbaali n’agenda e Sekemu eri baganda ba nnyina n’eri ab’ekika bonna, ab’ennyumba ya kitaawe, n’ennyumba ya nnyina n’abagamba nti, 29:2 Lub 29:14; Bal 8:30“Mubuuze kaakano ng’abatuuze b’e Sekemu bonna bawulira nti, ‘Kiki ekisingako obulungi? Batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu okubafuganga oba omuntu omu y’aba abafuganga?’ Mujjukire nti ndi wa musaayi gwammwe.”

3Awo baganda ba nnyina ne bategeeza abatuuze b’e Sekemu ebintu ebyo byonna. Ab’e Sekemu ne basalawo okugoberera Abimereki nga bwe bagamba nti, “Muganda waffe.” 49:4 a Bal 8:33 b Bal 11:3; 2By 13:7Ne bamuwa ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu9:4 ebitundu bya ffeeza ebya sekeri nsanvu byenkana gulaamu lunaana okuva mu ssabo lya Baaluberisi. Abimereki n’apangisa abayaaye n’abantu abataalina bya buvunaanyizibwa ne bamugoberera. 59:5 a nny 2; Bal 8:30 b 2Bk 11:2N’alaga mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula n’addira baganda be, batabani ba Yerubbaali nsanvu n’abattira ku jjinja. Naye omu ku baana abo omuto ayitibwa Yosamu mutabani wa Yerubbaali, n’adduka ne yeekweka. 6Awo abatuuze bonna ab’e Sekemu n’e Besimiiro ne bakuŋŋaana ne batikkira Abimereki ng’ayimiridde okuliraana omuti omunene, ne bamufuula kabaka mu Sekemu.

79:7 Ma 11:29; 27:12; Yk 4:20Awo Yosamu bwe baamugamba ebigambo ebyo, n’alinnya ku ntikko y’olusozi Gerizimu n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Mumpulirize abatuuze b’e Sekemu, Katonda alyoke abawulirize. 8Emiti gy’agenda okulonda kabaka, ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ba kabaka waffe.’ 9Naye omuzeyituuni ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu amafuta ag’omuzeeyituuni agampeesa balubaale n’abantu ekitiibwa, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 10Awo ne giraga eri omutiini ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ 11Naye nagwo ne guddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu obuwoomi n’ekibala ekirungi, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 12Awo ne giraga eri omuzabbibu ne gigugamba nti, ‘Ggwe jjangu obeere kabaka waffe.’ 139:13 Mub 2:3Naye omuzabbibu ne gubaddamu nti, ‘Ndekeyo okuvaamu wayini asanyusa balubaale n’abantu, ŋŋende okuyuuguumya emiti?’ 14Awo emiti gyonna ne gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu obeere kabaka waffe.’ 159:15 a Is 30:2 b nny 20 c Is 2:13Awo omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Bwe muba nga ddala munnonda okuba kabaka wammwe, mujje mwewogome mu kisiikirize kyange. Naye bwe kitaba kityo, omuliro guve mu mweramannyo gusaanyeewo emivule gy’omu Lebanooni.’

16“Kale nno obanga mwakola kya kitiibwa era mu mutima omulungi ne mufuula Abimereki kabaka, era bwe muba nga mwalaga obwenkanya eri Yerubbaali n’ennyumba ye, ne mumukola nga bwe kyamusaanira, 17kubanga kitange yabalwanirira, n’awaayo obulamu bwe, n’abawonya mu mukono gwa Midiyaani, 189:18 nny 5-6; Bal 8:30naye mmwe ne mujeemera ennyumba ya kitange ne muttira batabani be nsanvu ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki omwana w’omuddu omukazi, kabaka w’abatuuze ab’omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe, 19era bwe muba nga mwakola kya kitiibwa era nga mwakikola mu mutima omulungi ne muyisa Yerubbaali n’ennyumba ye bwe mutyo, kale Abimereki asanyuke, era nammwe abasanyuse. 209:20 nny 15Naye bwe kitaba bwe kityo, omuliro guve mu Abimereki, gusaanyeewo abatuuze b’omu Sekemu n’ab’e Besimiiro, ate era omuliro guve mu batuuze ab’omu Sekemu ne mu Besimiiro gusaanyeewo Abimereki.”

21Oluvannyuma lw’ebyo, Yosamu n’adduka n’alaga e Beeri, n’abeera eyo olw’okutya muganda we Abimereki.

22Awo Abimereki n’afuga Isirayiri okumala emyaka esatu. 239:23 1Sa 16:14, 23; 18:10; 1Bk 22:22; Is 19:14; 33:1Katonda n’akyawaganya Abimereki n’abatuuze b’omu Sekemu, ne balya mu Abimereki olukwe, 249:24 a Kbl 35:33; 1Bk 2:32 b nny 56-57 c Ma 27:25Katonda ng’awoolera eggwanga olw’ekikolwa eky’okutta batabani ba Yerubbaali ensanvu, n’omusaayi gwabwe ng’aguteeka ku Abimereki muganda waabwe eyabatta ng’ayambibwako abatuuze b’omu Sekemu. 25Abatuuze b’omu Sekemu ne bassaawo abasajja ku nsozi babbenga era banyagululenga buli eyayitanga mu kkubo. Abimereki n’ategeezebwa.

26Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ajja ne baganda be mu Sekemu, abatuuze b’omu Sekemu, ne batanula okumwesiga. 279:27 a Am 9:13 b Bal 8:33Ne balaga mu nnimiro ne bakungula ezzabbibu zaabwe, ne basogola omubisi, n’oluvannyuma ne bakola embaga mu ssabo lya katonda waabwe, ne balya ne banywa ne bakolimira Abimereki. 289:28 a 1Sa 25:10; 1Bk 12:16 b Lub 34:2, 6Awo Gaali mutabani wa Ebedi n’ayogera nti, “Abimereki ye ani? Ab’omu Sekemu be baani okumuweereza? Si ye mutabani wa Yerubbaali, era Zebbuli si ye mumyuka we? Muweereze abantu ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu. Lwaki tuweereza Abimereki? 299:29 2Sa 15:4Ani ayinza okumpa obuyinza okukulembera abantu bano, olwo ndyoke nziggyewo Abimereki? Era nzija kumusoomooza nga mugamba nti, ‘Kuŋŋaanya eggye lyo, otulumbe.’ ”

30Awo Zebbuli omukulu w’ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n’asunguwala nnyo. 31N’aweereza ababaka eri Abimereki mu kyama okumugamba nti, “Laba Gaali mutabani wa Ebedi, ne baganda be bazze mu Sekemu. Basekeeterera ekibuga okukulwanyisa. 329:32 Yos 8:2Kaakano, ggwe jjangu mu kiro n’abasajja bo muteegere mu nnimiro. 339:33 1Sa 10:7Mu makya enjuba ng’evaayo, onoogolokoka n’olumba ekibuga. Onoomulumba ye n’abantu abali naye abajja okukulumba, ggwe olyoke obakole ekyo omukono gwo kye guteekeddwa okukola.”

34Awo Abimereki n’abasajja be ne bagolokoka mu kiro ne bagenda ne beekweka mu bibanja bina okumpi n’e Sekemu. 359:35 Zab 32:7; Yer 49:10Gaali mutabani wa Ebedi n’afuluma n’ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ne Abimereki n’abasajja be nabo ne bavaayo gye baali beekwese.

36Awo Gaali bwe yabalaba, n’agamba Zebbuli nti, “Laba abantu nga bava ku nsozi waggulu!” Zebbuli n’amuddamu nti, “Ebisiikirize eby’ensozi by’olaba ng’abantu.” 37Naye Gaali n’ayogera nate nti, “Laba, abantu bajja nga bayitira mu muwaatwa gw’ensi, n’ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery’omwera ogw’abafumu.”

389:38 nny 28-29Awo Zebbuli n’alyoka amugamba nti, “Biki bye wali oyogera bwe wagamba nti, ‘Abimereki ye ani ffe okumuweereza?’ Abo si be bantu be wanyooma? Kaakano genda obalwanyise.” 39Awo Gaali n’akulembera abatuuze b’omu Sekemu okulwanyisa Abimereki. 40Abimereki n’amugoba, ne Gaali n’amudduka, era bangi ne batuusibwako ebiwundu, era ne bagwa ku mulyango gwa wankaaki. 41Abimereki n’abeera mu Aluma. Zebbuli n’agoba Gaali ne baganda be mu Sekemu baleme kubeerangamu.

42Ku lunaku olwaddirira, Abimereki n’ategeezebwa ng’abantu bwe bagenda okulima. 439:43 Bal 7:16Awo n’addira abasajja be n’abaawulamu ebibinja bisatu, n’ateegera abantu mu nnimiro. Bwe yalaba ng’abantu bafuluma ekibuga balage mu nnimiro, n’abalumba. 44Abimereki n’ekibinja kye yali nakyo ne banguwa okuwamba omulyango gwa wankaaki w’ekibuga, ate ebibinja ebibiri byo ne byanguwa okulaga mu nnimiro ne batta abaaliyo. 459:45 a nny 20; 2Bk 3:25 b Ma 29:23Abimereki n’azibya olunaku olwo ng’alwanyisa ab’omu kibuga, n’akiwamba, n’abaalimu n’abatta, n’ekibuga n’akizikiriza, n’akiyiwamu n’omunnyo.

469:46 Bal 8:33Olwawulira ebyo, abatuuze abaali mu kigo kya Sekemu, ne baddukira mu ssabo lya Eruberisi. 47Awo bwe baategeeza Abimereki nti abatuuze b’omu Sekemu baali bakuŋŋaanidde mu kigo kya Sekemu, 489:48 Zab 68:14ye n’abasajja be ne balinnya ku lusozi Zalumoni, n’akwata embazi n’atema ettabi n’alyetikka ku kibegabega. N’alagira n’abasajja be yali nabo ng’abagamba nti, “Mwanguwe, mukole nga bwe nkoze.” 49Buli omu ku bo n’atema ettabi n’alyetikka, ne bagoberera Abimereki. Ne bagatuuma ku kigo, ne bakikumako omuliro. Abantu bonna abaali mu kigo kya Sekemu, be basajja n’abakazi nga lukumi ne bafiiramu.

509:50 2Sa 11:21Awo Abimereki n’agenda e Sebezi, n’asiisira okwetooloola ekibuga ekyo era n’akiwamba. 51Mu kibuga ekyo mwalimu ekigo eky’amaanyi, era abantu bonna abasajja n’abakazi ab’omu kibuga ne baddukira omwo ne beggaliramu. Ne balinnya ku kasolya k’ekigo. 52Abimereki n’alumba ekigo, naye bwe yali ng’akisemberedde, akume omuliro ku mulyango gwakyo, 539:53 2Sa 11:21ne wabaawo omukazi omu eyakasuka olubengo ku mutwe gwa Abimereki, n’amwasa omutwe.

549:54 1Sa 31:4; 2Sa 1:9Amangwago Abimereki n’agamba eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo onzite, si kulwa nga kinjogerwako nti nattibwa mukazi.” Omuddu we n’amufumita ekitala n’afa. 55Awo abantu ba Isirayiri bwe baalaba nga Abimereki afudde, buli omu n’addayo ewuwe.

56Katonda bw’atyo n’awalana eggwanga olw’obutali butuukirivu bwa Abimereki, olwa Abimereki okutta abaana ba kitaawe, abooluganda nsanvu. 579:57 nny 20Katonda n’abonereza n’abantu b’omu Sekemu olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, n’atuukiriza n’ekikolimo Yosamu mutabani wa Yerubbaali kye yabakolimira.