启示录 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 6:1-17

羔羊揭开前六印

1然后,我看见羔羊揭开七印中的第一印,那时我听见四个活物中的一个用如雷的声音说:“来!” 2我便观看,见有一匹白马,马上的骑士拿着弓,他接受了赏赐给他的冠冕后,便四处征战,战无不胜。

3羔羊揭开第二印时,我听见第二个活物说:“来!” 4这次出现了一匹红马,马上的骑士获得权柄和一把大刀,要夺取地上的和平,使人类互相厮杀。

5揭开第三印的时候,我听见第三个活物说:“来!”我便看见一匹黑马,马上的骑士手里拿着天平。 6我又听见四个活物中好像有声音说:“一升小麦值一个银币6:6 一个银币相当于一天的工钱。,三升大麦也同价,油和酒都不要糟蹋。”

7羔羊揭开第四印的时候,我听到第四个活物说:“来!” 8这次我看到一匹浅灰色的马,马上骑士的名字叫死亡,阴府紧跟在他后面。他们得到权力可以用刀剑、饥荒、瘟疫和野兽消灭全人类的四分之一。

9羔羊揭开第五印的时候,我看到一个祭坛,祭坛下有许多灵魂,都是为传扬上帝的道、为祂做见证而被杀的。 10他们大声喊着说:“圣洁真实的主宰啊,还要等多久呢?为什么你还不审判地上那些屠杀我们的人,为我们申冤呢?” 11这时有白袍赐给他们,有声音告诉他们要再稍候片刻,直到和他们同做奴仆的弟兄被杀害的数目满了为止。

12羔羊揭开第六印的时候,我看见大地震发生了,太阳变得像黑毛布一样黑,整个月亮变成血红色, 13天上的星辰都坠落,好像未成熟的无花果被狂风吹落一般。 14天空也像书卷被卷起来,所有的山岭和海岛都被挪离原位。 15地上的君王、显贵、将领、富豪、有势力的、一切奴隶和自由人都躲藏在山洞里和岩穴间。 16他们哀求群山和岩石,说:“倒下来遮盖我们,将我们藏起来吧!我们不敢面对宝座上的那位和羔羊的烈怒啊! 17因为祂们发烈怒的大日子到了,谁能站得住呢?”

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 6:1-17

Obubonero bw’Envumbo

16:1 a Kub 5:6 b Kub 5:1 c Kub 4:6, 7 d Kub 14:2; 19:6Awo ne ndaba Omwana gw’Endiga ng’abembulula akamu ku bubonero bw’envumbo; ne mpulira ekimu ku biramu ebina nga kyogera n’eddoboozi eryawulikika ng’okubwatuka nga kigamba nti, “Jjangu!” 26:2 a Zek 6:3; Kub 19:11 b Zek 6:11 c Zab 45:4Ne ndaba, era laba, embalaasi enjeru, ng’agyebagadde alina omutego ogulasa akasaale; n’aweebwa engule n’agenda ng’awangula, n’awangulira ddala.

36:3 Kub 4:7Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookubiri, ne mpulira ekiramu ekyokubiri nga kyogera nti, “Jjangu!” 46:4 a Zek 6:2 b Mat 10:34Ne wavaayo embalaasi endala nga myufu, eyali agyebagadde n’aweebwa ekitala ekiwanvu, n’aweebwa n’obuyinza okuggyawo emirembe ku nsi, n’okuleeta entalo wakati w’abantu, battiŋŋane bokka na bokka.

56:5 a Kub 4:7 b Zek 6:2Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akokusatu ne mpulira ekiramu ekyokusatu nga kyogera nti, “Jjangu!” Era laba, ne ndaba embalaasi enzirugavu n’eyali agyebagadde ng’akutte minzaani mu mukono gwe. 66:6 a Kub 4:6, 7 b Kub 9:4Ne mpulira eddoboozi eryawulikika ng’eriva wakati w’ebiramu ebina nga ligamba nti, “Omugaati gumu gugula ddinaali, ne kilo y’obuwunga bwa sayiri nayo bw’eba egula, kyokka omuzigo n’envinnyo tobyonoona.”

76:7 Kub 4:7Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookuna ne mpulira ekiramu ekyokuna nga kyogera nti, “Jjangu!” 86:8 a Zek 6:3 b Kos 13:14 c Yer 15:2, 3Ne ndaba, era laba, embalaasi ey’erangi ensiiwuukirivu n’eyali agyebagadde ng’ayitibwa Walumbe, ne Magombe n’agenda naye. Ne baweebwa okufuga ekitundu ekyokuna eky’ensi, okutta n’ekitala, n’enjala, n’olumbe, n’ensolo enkambwe ez’oku nsi.

96:9 a Kub 14:18; 16:7 b Kub 20:4Bwe yabembulula akabonero k’envumbo akookutaano ne ndaba wansi w’ekyoto emyoyo egy’abo abattibwa olw’okubuulira ekigambo kya Katonda n’olw’okuba abeesigwa mu bujulizi bwabwe. 106:10 a Zek 1:12 b Kub 3:7 c Kub 19:2Ne bakaabirira Mukama n’eddoboozi ery’omwanguka nga bagamba nti, “Ayi Mukama, Omutukuvu era ow’amazima, onoosalira ddi abantu b’ensi omusango, n’owoolera eggwanga olw’omusaayi gwaffe?” 116:11 a Kub 3:4 b Beb 11:40Buli omu ku bo n’aweebwa ekyambalo ekyeru, era ne bagambibwa okugira nga bawummulako okutuusa baganda baabwe abalala era baweereza bannaabwe aba Yesu abaali bagenda okuttibwa, lwe balibeegattako.

126:12 a Kub 16:18 b Mat 24:29Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi. 136:13 a Mat 24:29 b Is 34:4Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi, 146:14 Yer 4:24; Kub 16:20n’eggulu ne lyezingako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe gwezingazinga na buli lusozi na buli kizinga ne biggibwawo mu bifo byabyo.

156:15 Is 2:10, 19, 21Bakabaka b’ensi, n’abafuzi ab’oku ntikko n’abantu abagagga, n’abakulu b’amaggye n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow’eddembe, ne beekweka mu mpuku ne mu njazi z’ensozi. 166:16 Kos 10:8; Luk 23:30Ne bagamba ensozi nti, “Mutugweko mutukweke mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, ne mu busungu bw’Omwana gw’Endiga. 176:17 a Zef 1:14, 15; Kub 16:14 b Zab 76:7Kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse era ani ayinza okugumira obusungu bwabwe!”