启示录 13 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

启示录 13:1-18

两只怪兽

1我又看见一只怪兽从海中上来,有七头十角,每只角上都戴着一个冠冕,每个头上都写着亵渎上帝的名号。 2它看起来像豹,却有熊的脚和狮子的口。巨龙将自己的能力、王位和大权柄都交给了怪兽。 3我看见怪兽的一个头似乎受了致命伤,这伤却复原了。全世界的人都惊奇地跟从了它。 4他们拜巨龙,因为巨龙将自己的权力给了怪兽。他们又拜怪兽,说:“有谁比得上这兽呢?谁能与它对抗呢?” 5巨龙又使怪兽说狂妄、亵渎的话,并给它权柄,可以任意妄为四十二个月。 6怪兽开口亵渎上帝的名、上帝的居所和一切居住在天上的。 7它又获准去攻打圣徒,征服他们,并得到权柄制服各民族、各部落、各语言族群、各国家。 8凡住在地上的人,就是从创世以来名字没有记在被杀羔羊的生命册上的,都会崇拜怪兽。

9凡有耳朵的都应当听。

10该被掳的人必被掳,

该被刀杀的必被刀杀。

因此,圣徒需要坚忍和信心。

11我又看见另一只怪兽从地里窜出来,它的两只角像羔羊的角,说话却像龙, 12在头一只怪兽面前行使头一只怪兽的一切权柄。它命令世上的人拜曾受了致命伤但已复原的头一只怪兽, 13又行大奇迹,当众叫火从天降到地上。 14它在头一只怪兽面前获准行奇迹,欺骗了普世的人,并吩咐他们为受了刀伤却仍然活着的头一只怪兽塑像。 15它又获准给怪兽的塑像生命气息,使它不但能说话,还能使所有不敬拜那像的人遭害。 16它又强迫所有的人,不论老少、尊卑、贫富、自由人或奴隶,都在右手或额上接受印记。 17凡没有盖上怪兽印记的,就是没有怪兽的名字或代号的,都不能做买卖。 18这里藏有玄机,聪明的人可以计算那怪兽的代号,因为那是一个人的代号,是“六百六十六”。

Luganda Contemporary Bible

Okubikkulirwa 13:1-18

Ekisolo Ekyava mu Nnyanja

1Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. 213:2 a Dan 7:6 b Dan 7:5 c Dan 7:4 d Kub 16:10Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi. 313:3 a nny 12, 14 b Kub 17:8Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo. 413:4 Kuv 15:11Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”

513:5 a Dan 7:8, 11, 20, 25; 11:36; 2Bs 2:4 b Kub 11:2Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 613:6 Kub 12:12Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu. 713:7 a Dan 7:21; Kub 11:7 b Kub 5:9Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu n’okubawangula era n’okufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi. 813:8 a Kub 3:10 b Kub 3:5; 20:12 c Mat 25:34Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.

913:9 Kub 2:7Alina amatu awulire.

1013:10 a Yer 15:2; 43:11 b Beb 6:12 c Kub 14:12Buli ow’okutwalibwa mu busibe

wa kusiba.

Era buli ow’okuttibwa n’ekitala,

wa kuttibwa na kitala.

Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa.

Ekisolo Ekyava mu Ttaka

11Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ng’ag’akaliga akato naye ng’eddoboozi lyakyo liri ng’ery’ogusota. 1213:12 a nny 4 b nny 14 c Kub 14:9, 11 d Kub 14:3Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna. 1313:13 a Mat 24:24 b 1Bk 18:38; Kub 20:9Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ng’okuwandula ennimi ez’omuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba. 1413:14 a 2Bs 2:9, 10 b Kub 12:9Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona. 1513:15 Dan 3:3-6Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. 1613:16 a Kub 19:5 b Kub 14:9Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, 1713:17 a Kub 14:9 b Kub 14:11; 15:2nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.

1813:18 a Kub 17:9 b Kub 15:2; 21:17Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu g’omuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gw’omuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.