创世记 38 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 38:1-30

犹大与她玛

1那时,犹大离开了他的兄弟们,到亚杜兰希拉的家里住。 2他在那里遇见了迦南书亚的女儿,就娶她为妻,与她同房。 3她怀孕生了一个儿子,犹大给他取名叫4她又怀孕生了一个儿子,给他取名叫俄南5她再次怀孕生了一个儿子,给他取名叫示拉示拉是在基悉出生的。

6犹大给长子娶了她玛为妻。 7耶和华见行为邪恶,就取走了他的性命。 8犹大俄南说:“你要与哥哥的妻子她玛同房,向她尽你做弟弟的本分,好替你哥哥传宗接代。” 9俄南知道生了儿子也不归自己,所以每次与她玛同房都把精液遗在地上,免得给他哥哥留后。 10耶和华见俄南行为邪恶,就取走了他的性命。 11犹大恐怕示拉会像他的两个哥哥一样死去,就对儿媳她玛说:“示拉还没有长大,你先回娘家守寡吧。”

12多年后,犹大的妻子,即书亚的女儿死了,等到守丧的日子满了,犹大就和他的朋友亚杜兰希拉亭拿,到替他剪羊毛的人那里。 13有人告诉她玛说:“你公公到亭拿去剪羊毛了。” 14她玛示拉已经长大,却仍然没有娶她,就脱下寡妇的衣服,蒙上脸,换了装束,坐在去亭拿路上的伊拿印城门口。 15犹大看见她蒙着脸,以为她是妓女, 16就走过去对她说:“你陪我睡觉吧。”犹大不知道她是自己的儿媳妇。她玛问道:“你要我陪你睡觉,你给我什么呢?” 17犹大回答说:“我会从羊群中取一只山羊羔送给你。”她玛问道:“羊还没有送来以前,你给我什么作抵押呢?” 18犹大问:“你要什么作抵押呢?”她玛说:“我要你的印、印带和你的手杖。”犹大给了她,然后跟她睡觉。她玛就这样怀了孕。 19事后,她起来走了。她拿掉蒙脸的布,仍旧穿上寡妇的装束。

20犹大托他的朋友亚杜兰人送去一只山羊羔,要从那女人手中换回抵押物,却找不到她。 21他的朋友就问当地的人:“伊拿印路旁的庙妓在哪里?”他们回答说:“这里没有庙妓。” 22他的朋友只好回去对犹大说:“我找不着她,当地人说那里没有庙妓。” 23犹大说:“让她留着我的东西吧,免得我们成为笑柄。反正我把羊送过去了,只是你找不到她。”

24大约过了三个月,有人告诉犹大说:“你的儿媳妇她玛不守妇道,并且怀孕了。”犹大说:“把她拉出来烧死!” 25他们正要把她拉出来,她请人带口信给他公公,说:“这些东西的主人使我怀了孕,请你看这印、印带和杖是谁的?” 26犹大认出是自己的东西,就说:“她比我更有理,因为我没有让示拉娶她。”犹大没有再与她睡觉。

27她玛临产的时候,才知道腹中是一对双胞胎。 28生产的时候,一个婴儿先伸出手来,接生婆就把一条红线系在他的手上,说:“他是先出生的。” 29可是那婴儿随后却把手缩回去,另一个婴儿先出生了,接生婆说:“你怎么抢先出来了?”因此,他的名字叫法勒斯38:29 法勒斯”意思是“抢先出来”。30后来,那个手上系有红线的孩子也出生了,给他取名叫谢拉38:30 谢拉”意思是“红色”或“光明”。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 38:1-30

1Awo olwatuuka Yuda n’ava ku baganda be n’aserengeta, n’ayingira ew’Omudulamu, erinnya lye, Kira. 238:2 1By 2:3Yuda n’alabayo muwala wa Suwa, Omukanani, n’amuwasa, ne yeetaba naye, 338:3 nny 6; Lub 46:12; Kbl 26:19n’aba olubuto n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma erinnya Eri. 4Mukyala wa Yuda n’aba olubuto olulala n’azaala omwana omulenzi n’amutuuma Onani. 5Ate n’azaala omwana omulala n’amutuuma Seera. Yamuzaalira mu Kezibu.

6Era Yuda n’awasiza mutabani we omukulu, Eri, omukazi erinnya lye Tamali. 738:7 nny 10; Lub 46:12; 1By 2:3Naye Eri mutabani wa Yuda omukulu n’aba mwonoonyi mu maaso ga Mukama; Mukama n’amutta.

838:8 Ma 25:5-6; Mat 22:24-28Awo Yuda n’agamba Onani nti, “Genda eri muka muganda wo, ofunire muganda wo ezzadde.” 9Naye Onani n’amanya nti ezzadde teririba lirye; bw’atyo bwe yeetaba naye, amannyi n’agafuka wansi aleme okufunira muganda we ezzadde. 1038:10 Lub 46:12; Ma 25:7-10Ekyo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama. N’ono Mukama kyeyava amutta.

1138:11 Lus 1:13Awo Yuda olw’okutya nti Seera ayinza okufa nga baganda be, n’agamba Tamali nti, “Ogira obeera nnamwandu, ng’oli mu nnyumba ya kitaawo okutuusa Seera lw’alikula.” Tamali kwe kugenda n’abeera mu nnyumba ya kitaawe.

Yuda ne Tamali

1238:12 nny 14; Yos 15:10, 57Bwe waayitawo ebbanga mukazi wa Yuda, muwala wa Suwa n’afa. Yuda bwe yayita mu kukungubaga, n’agenda ne Kira Omudulamu e Timuna eri basajja be abasazi b’ebyoya by’endiga ze. 13Tamali bwe kyamubuulirwa nti, “Sezaala wo agenda e Timuna okusala ebyoya by’endiga ze,” 1438:14 nny 11n’asuula eri ebyambalo by’obwannamwandu ne yeeteekako ekiremba ne yeebikkirira, n’atuula ku mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo ng’ogenda e Timuna. Kubanga yamanya nti, Seera akuze, kyokka nga tamuweereddwa ku muwasa.

15Yuda bwe yamulaba, n’amulowooza okuba omu ku bamalaaya, kubanga yali abisse amaaso ge. 1638:16 Lv 18:15; 20:12N’agenda gy’ali ku mabbali g’ekkubo, n’amugamba nti, “Jjangu, neetabe naawe,” kubanga teyamanya nti ye yali muka mutabani we. Tamali kwe ku mubuuza nti, “Onompa ki bwe neetaba naawe?” 1738:17 a Ez 16:33 b nny 20Yuda n’amuddamu nti, “Nnaakuweereza embuzi ento.” N’amubuuza nti, “Onompa omusingo nga tonnagimpeereza?”

1838:18 nny 25Yuda n’amuddamu nti, “Nkuwe musingo ki?” N’amugamba nti, “Akabonero ko, akajegere ko awamu n’omuggo gwo oguli mu mukono gwo.” Awo n’abimuwa, ne yeetaba naye, n’amufunyisa olubuto. 1938:19 nny 14Tamali n’agolokoka n’agenda, n’aggyako ekiremba n’ayambala ebyambalo by’obwannamwandu bwe.

20Yuda bwe yatuma mukwano gwe Omudulamu, okutwala omwana gw’embuzi, addizibwe omusingo teyalaba ku mukazi. 2138:21 Lv 19:29; Kos 4:14Bwe yabuuliriza ab’omu kifo omwo, omukazi malaaya eyali Enayimu ku mabbali g’ekkubo, ne bamuddamu nti, “Wano tewabeeranga mukazi malaaya.” 22N’alyoka addayo eri Yuda n’amugamba nti takubikako kimunye; era n’abantu ab’ekitundu ekyo bamutegeezeza nti, “Awo tewabangawo mukazi malaaya38:22 malaaya Abakazi abo bamalaaya baalina akakwate ku nzikiriza ya balubaale b’oluzaalo.”

23Yuda kwe kumugamba nti, “Omukazi oli, ebintu k’abisigaze tuleme okusekererwa, naweereza embuzi eno, naye n’atalabikako.”

Perezi ne Zeera Bazaalibwa

2438:24 Lv 21:9; Ma 22:21, 22Emyezi ng’esatu bwe gyayitawo ne bagamba Yuda nti, “Muka mwana wo Tamali yafuuka mwenzi. Ate ebyo nga biri awo obwenzi obwo yabufunamu n’olubuto.” Yuda kwe kwejuumuula nga bw’agamba nti, “Mumuleete ayokebwe.”

2538:25 nny 18Tamali bwe yali atwalibwa n’atumira sezaala we Yuda n’amugamba nti, “Omusajja nannyini bintu bino ye kazaalabulwa. Nkusaba weetegereze ebintu bino: akabonero, akajegere n’omuggo, by’ani?”

2638:26 a 1Sa 24:17 b nny 11Awo Yuda n’abitegeera n’agamba nti, “Omuwala mutuukirivu okunsinga, kubanga saamuwa mutabani wange Seera.” Yuda n’atamuddira.

2738:27 Lub 25:24Ekiseera eky’okuwona bwe kyatuuka n’alabika nga wakuzaala balongo. 28Era bwe yali mu ssanya omulongo omu n’afulumya omukono gwe, omuzaalisa n’agukwata n’agusibako akawuzi akaakakobe nga bw’agamba nti, “Ono y’asoose okujja.” 2938:29 Lub 46:12; Kbl 26:20, 21; Lus 4:12, 18; 1By 2:4; Mat 1:3Naye omulongo bwe yazzaayo omukono gwe munda, muganda we n’afuluma; omuzaalisa n’agamba nti, “Lwaki owaguzza?” Erinnya ly’omwana kyeryava liba Pereezi.38:29 Pereezi yali jjajja wa Dawudi 3038:30 1By 2:4Oluvannyuma muganda we n’afuluma n’akawuzi akaakakobe nga kali ku mukono gwe, n’ayitibwa Zeera.