创世记 21 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

创世记 21:1-34

以撒出生

1耶和华按着自己说过的话眷顾撒拉,实现给她的应许。 2亚伯拉罕年老的时候,撒拉怀了孕,在上帝指定的日期为他生了一个儿子。 3亚伯拉罕为儿子取名叫以撒4以撒出生后第八天,亚伯拉罕就照着上帝的吩咐为他行了割礼。 5以撒出生时亚伯拉罕已经一百岁。 6撒拉说:“上帝使我欢笑,凡听见这事的人也必跟我一同欢笑。 7谁曾料到我会为亚伯拉罕哺养孩子呢?我竟然在丈夫年老的时候给他生了儿子。”

夏甲和以实玛利被逐

8以撒渐渐长大,亚伯拉罕在他断奶的那天摆设宴席。 9撒拉埃及夏甲亚伯拉罕生的儿子以实玛利嘲笑以撒10就对亚伯拉罕说:“赶走这婢女和她的儿子,因为这婢女的儿子不可和我的儿子以撒一同承受产业。” 11亚伯拉罕因儿子以实玛利的事非常烦恼。 12上帝对亚伯拉罕说:“你不要再为这孩子和你的婢女烦恼,只管照撒拉的意思去做,因为以撒生的才可算为你的后代。 13至于那婢女的儿子以实玛利,我也会使他自成一国,因为他也是你的儿子。”

14第二天,亚伯拉罕清早起来,把食物和一皮袋水放在夏甲肩上,让她和孩子离开。夏甲别示巴的旷野流浪。 15皮袋的水喝光了,夏甲把儿子留在一丛灌木下, 16自己走到离孩子约一箭之远的地方,对着孩子坐下,说:“我不忍心看着他死啊!”夏甲坐在那里放声大哭起来。 17上帝听见孩子的哭声,就差遣天使从天上安慰夏甲说:“夏甲,你怎么了?不要害怕,上帝已经听见孩子的哭声了。 18你去扶他起来,安慰他,我必使他成为大国。” 19上帝使夏甲的眼睛明亮,让她看见一口水井,她就上前把皮袋装满水拿给儿子喝。 20在上帝的看顾下,孩子在旷野渐渐长大,成为一个射箭能手。 21他住在巴兰旷野,他母亲为他娶了一个埃及女子。

亚伯拉罕与亚比米勒立约

22有一次,亚比米勒和他的将领非各亚伯拉罕说:“你做的一切都有上帝保佑。 23现在请你在这里当着上帝的面向我起誓,你不会欺骗我和我的子孙后代。我怎样善待你,请你也同样善待我以及你所寄居之地的百姓。” 24亚伯拉罕说:“我愿起誓。”

25由于亚比米勒的仆人霸占了一口水井,亚伯拉罕就指责亚比米勒26亚比米勒说:“我不知道是谁做的,你以前没有告诉我,我今天才听说这事。” 27亚伯拉罕把牛羊送给亚比米勒,他们二人立了约。 28亚伯拉罕又从羊群中分出七只母羊羔。 29亚比米勒亚伯拉罕:“你分出七只母羊羔是什么意思?” 30亚伯拉罕回答说:“你要从我手中接受这七只母羊羔,表示你承认这口井是我挖的。” 31所以,那地方被称为别示巴21:31 别示巴”意思是“盟誓之井”。,因为他们二人在那里起了誓。

32他们立约以后,亚比米勒和他的将领非各便回非利士去了。 33亚伯拉罕别示巴栽了一棵红柳,又在那里呼求耶和华——永恒上帝的名。 34亚伯拉罕非利士住了很长时间。

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 21:1-34

Okuzaalibwa kwa Isaaka

121:1 a 1Sa 2:21 b Lub 8:1; 17:16, 21; Bag 4:23Awo Mukama n’akwatirwa Saala ekisa nga bwe yagamba Ibulayimu n’akola Saala nga bwe yasuubiza. 221:2 a Lub 17:19 b Bag 4:22; Beb 11:11Saala n’aba olubuto, n’azaalira Ibulayimu omwana owoobulenzi mu bukadde bwe, mu kiseera Mukama kye yamugamba. 321:3 Lub 17:19Ibulayimu n’atuuma omwana owoobulenzi, eyamuzaalirwa Saala, erinnya Isaaka. 421:4 Lub 17:10, 12; Bik 7:8Ibulayimu n’akomola mutabani we Isaaka ow’ennaku omunaana ez’obukulu nga Katonda bwe yamulagira. 5Ibulayimu yali aweza emyaka kikumi mutabani we Isaaka bwe yazaalibwa.

621:6 Lub 17:17; Is 54:1Saala n’agamba nti, “Katonda andeetedde okusekererwa, buli anaawulira anansekerera.” 7Era n’agamba nti, “Ani yandirowoozezza nti Saala alifuna omwana? Naye, laba mmuzaalidde omwana wabulenzi.”

Agali ne Isimayiri Bagobwa

8Isaaka n’akula, n’aggyibwa ku mabeere, Ibulayimu n’afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaggyibwa ku mabeere.21:8 Abaana baggyibwanga ku mabeere oluvannyuma lw’emyaka ebiri oba esatu, era gwabanga mukolo munene ddala 921:9 a Lub 16:15 b Bag 4:29Naye Saala yalaba nga mutabani wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu ng’azannya ne mutabani we Isaaka. 1021:10 Bag 4:30*N’alyoka agamba Ibulayimu nti, “Goba omuweereza ono ne mutabani we, kubanga omwana w’omuweereza ono talisikira wamu na mwana wange Isaaka.”

1121:11 Lub 17:18Naye ekyo Ibulayimu n’atakisiima. 1221:12 Bar 9:7*; Beb 11:18*Katonda n’agamba Ibulayimu nti, “Tonakuwala olw’omulenzi n’olw’omuweereza wo omukazi, buli Saala ky’akugamba kikole; kubanga mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza. 1321:13 nny 18Era n’omwana w’omuweereza wo omukazi ndimufuula eggwanga, kubanga ava mu ggwe.” 1421:14 nny 31, 32Ibulayimu n’agolokoka ku makya ennyo, n’addira omugaati n’ensawo ey’amazzi n’abiwa Agali n’omwana gwe yazaala ng’abiteeka ku kibegabega kye, n’amusiibula. Agali n’agenda ng’atambulatambula mu ddungu lya Beeruseba.

Agali ne Isimayiri mu Ddungu

15Awo amazzi ag’omu ddiba bwe gaggwaamu, Agali n’ateeka omwana we wansi w’ogumu ku miti. 16Agali ne yeeyongerayo ebbanga ng’awalasibwa akasaale, nga mita kikumi, n’atuula okumwolekera, kubanga yayogera nti, “Nneme okulaba omwana ng’afa.” Naye bwe yali ng’atudde, omwana n’ayimusa eddoboozi n’akaaba.

1721:17 Kuv 3:7Katonda n’awulira eddoboozi ly’omulenzi ng’akaaba, malayika wa Katonda n’ayita Agali ng’asinziira mu ggulu n’amugamba nti, “Kiki ekikuteganya? Totya, kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly’omulenzi w’ali. 1821:18 nny 13Golokoka, situla omwana omunyweze mu mikono gyo, kubanga ndimufuula eggwanga eddene.”

1921:19 Kbl 22:31Awo Katonda n’azibula amaaso g’Agali, n’alaba oluzzi, n’agenda n’ajjuza ensawo ey’eddiba amazzi, n’anywesa omulenzi.

2021:20 Lub 26:3, 24; 28:15; 39:2, 21, 23Awo Katonda n’aba n’omulenzi n’akula n’abeera mu ddungu n’aba mwatiikirivu mu kulasa. 2121:21 Lub 24:4, 38Yabeeranga mu ddungu lya Palani: nnyina n’amufunira omukazi okuva mu nsi y’e Misiri.

Ibulayimu Alagaana n’Abimereki

22Mu kiseera ekyo Abimereki ng’ali ne Fikoli omukulu w’eggye lye n’agamba Ibulayimu nti, “Katonda ali naawe mu buli ky’okola: 2321:23 nny 31; Yos 2:12kale kaakano ndayirira mu maaso ga Katonda nga tolinkuusakuusa, wadde okukuusakuusa omwana wange oba omwana w’omwana wange. Naye nga nze bwe nkukoze obulungi nga naawe bw’olinkola nze n’ensi mw’ozze.”

24Ne Ibulayimu n’amuddamu nti, “Nkulayiridde.”

2521:25 Lub 26:15, 18, 20-22Awo Ibulayimu ne yeemulugunya eri Abimereki olw’oluzzi lwe abaddu be lwe baamunyagako. 26Abimereki n’amugamba nti, “Simanyi n’omu eyakola ekintu ekyo, ggwe tewambulira era sikiwulirangako okutuusa ggwe lw’okintegeezeezza olwa leero.” 2721:27 Lub 26:28, 31Awo Ibulayimu n’addira endiga n’ente n’abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi.

28Awo Ibulayimu n’ayawulako endiga enduusi musanvu okuva mu kisibo kye. 29Abimereki n’abuuza Ibulayimu nti, “Endiga ezo omusanvu enduusi z’oyawuddeko amakulu gaazo ki?” 3021:30 Lub 31:44, 47, 48, 50, 52N’amuddamu nti, “Endiga ezo enduusi omusanvu onoozitwala okuva gye ndi kalyoke kabe obukakafu nti nze nasima oluzzi olwo.”

3121:31 Lub 26:33Ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Beeruseba, kubanga eyo bombi gye baalagaanira. 32Bwe baamala okukola endagaano e Beeruseba, Abimereki ne Fikoli omukulu w’eggye lye ne basitula ne baddayo mu nsi y’Abafirisuuti.

3321:33 a Lub 4:26 b Ma 33:27Ibulayimu n’asimba omuti omumyulimu mu Beeruseba n’akaabiririra eyo erinnya lya Mukama, Katonda Ataggwaawo. 34Ibulayimu ne yeeyongera okutambulatambula mu nsi y’Abafirisuuti okumala ennaku nnyingi.