以斯拉记 8 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯拉记 8:1-36

归回之人

1亚达薛西王年间,与我一起从巴比伦上到耶路撒冷之人的族长和家谱如下: 2非尼哈的子孙有革顺以他玛的子孙有但以理大卫的子孙有哈突3巴录的后裔、示迦尼的子孙有撒迦利亚及一百五十名同族谱的男子; 4巴哈·摩押的子孙有西拉希雅的儿子以利约乃及二百名男子; 5萨土8:5 萨土”七十士译本有此名字,希伯来文则无。的子孙有雅哈悉的儿子示迦尼及三百名男子; 6亚丁的子孙有约拿单的儿子以别及五十名男子; 7以拦的子孙有亚他利雅的儿子耶筛亚及七十名男子; 8示法提雅的子孙有米迦勒的儿子西巴第雅及八十名男子; 9约押的子孙有耶歇的儿子俄巴底亚及二百一十八名男子; 10巴尼8:10 巴尼”七十士译本有此名字,希伯来文则无。的后裔、约细斐的子孙有示罗密及一百六十名男子; 11比拜的后裔有比拜的儿子撒迦利亚及二十八名男子; 12押甲的后裔有哈加坦的儿子约哈难及一百一十名男子; 13稍后归回的亚多尼干的子孙有以利法列耶利示玛雅及六十名男子; 14比革瓦伊的子孙有乌太撒布及七十名男子。

以斯拉为圣殿召集利未人

15我把他们召集在流向亚哈瓦的河边,我们在那里扎营三天。我察看民众和祭司,发现他们当中没有利未人。 16于是,我派人叫来首领以利以谢亚列示玛雅以利拿单雅立以利拿单拿单撒迦利亚米书兰及两位教师约雅立以利拿单17我派他们去见迦西斐雅的首领易多,请他们告诉易多及其做殿役的亲族带一些人来我们上帝的殿里事奉。 18我们的上帝施恩帮助我们,他们给我们带来一位能干的人示利比及其弟兄和儿子共十八人。示利比以色列的儿子利未的后裔抹利的子孙。 19他们还带来哈沙比雅米拉利的子孙耶筛亚,以及哈沙比雅的弟兄和儿子共二十人。 20此外还有二百二十名殿役,他们都是被点名指派的。从前大卫和众官员曾指派殿役服侍利未人。

以斯拉带领百姓禁食

21然后,我在亚哈瓦河边宣布禁食,为要在我们的上帝面前谦卑下来,祈求祂保护我们、我们的儿女及财物一路平安。 22我羞于求王派步兵和骑兵沿途帮助我们御敌,因为我们曾经告诉王:“我们的上帝会施恩帮助寻求祂的人,但会向背弃祂的人发烈怒。” 23因此,我们为这事禁食、寻求我们的上帝,祂应允了我们。

献给圣殿的礼物

24我选出十二位祭司长:示利比哈沙比雅和他们的十个弟兄。 25王及其谋士和将领,以及所有在场的以色列人献给我们上帝殿的金银和器皿,我都秤了交给他们。 26我交给他们的有二十二吨银子、三点四吨银器、三点四吨金子、 27共重八公斤半的二十个金碗和两件贵重如金子的上等精铜器皿。 28我对他们说:“你们和这些器皿是献给耶和华的,金银是自愿献给你们祖先的上帝耶和华的礼物。 29你们要好好保管,护送到耶路撒冷耶和华殿的库房里,要在祭司长、利未人和以色列的各族长面前过秤。” 30于是,祭司和利未人接过这些称过的金银和器皿,要带去耶路撒冷我们上帝的殿里。

返回耶路撒冷

31一月十二日,我们从亚哈瓦河边出发上耶路撒冷。我们的上帝施恩帮助我们,救我们脱离仇敌和路上埋伏之人的攻击。 32耶路撒冷后,我们休息了三天。 33第四天,我们在我们上帝的殿里把金银和器皿过秤,交给乌利亚的儿子米利末祭司。在场的还有非尼哈的儿子以利亚撒利未耶书亚的儿子约撒拔宾内的儿子挪亚底34每样东西都被数过、称过,其重量都被记录下来。

35从流亡之地归回的人又献燔祭给以色列的上帝,为全体以色列人献上十二头公牛、九十六只公绵羊和七十七只绵羊羔,并献上十二只公山羊作赎罪祭。这些都是献给耶和华的燔祭。 36他们将王的谕旨交给王的总督和幼发拉底河西的省长,众官员都为民众和上帝殿的工作提供帮助。

Luganda Contemporary Bible

Ezera 8:1-36

Amannya g’Abaddayo ne Ezera

18:1 Ezr 7:7Bano be bakulu b’ennyumba, n’abo abeewandiisa n’abo abaayambuka nange okuva e Babulooni mu mulembe gwa kabaka Alutagizerugizi:

2okuva mu bazzukulu ba Finekaasi,

Gerusomu;

n’okuva mu bazzukulu ba Isamaali,

Danyeri;

n’okuva mu bazzukulu ba Dawudi,

Kattusi 38:3 a 1By 3:22 b Ezr 2:3muzzukulu wa Sekaniya,

n’okuva mu bazzukulu ba Palosi,

Zekkaliya, era wamu naye abasajja abeewandiisa kikumi mu ataano (150);

48:4 Ezr 2:6n’okuva mu bazzukulu ba Pakasumowaabu,

Eriwenayi mutabani wa Zekkaliya, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri (200);

5n’okuva mu bazzukulu ba Sekaniya,

mutabani wa Yakazyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bisatu (300);

68:6 Ezr 2:15; Nek 7:20; 10:16n’okuva mu bazzukulu ba Adini,

Ebedi mutabani wa Yonasaani, era wamu naye abasajja amakumi ataano (50);

7n’okuva mu bazzukulu ba Eramu,

Yesaya mutabani wa Asaliya, era wamu naye abasajja nsanvu (70);

8n’okuva mu bazzukulu ba Sefatiya,

Zebadiya mutabani wa Mikayiri, era wamu naye abasajja kinaana (80);

9n’okuva mu bazzukulu ba Yowaabu,

Obadiya mutabani wa Yekyeri, era wamu naye abasajja ebikumi bibiri mu kkumi na munaana (218);

10n’okuva mu bazzukulu ba Seromisi,

mutabani wa Yosifiya, era wamu naye abasajja kikumi mu nkaaga (160);

11n’okuva mu bazzukulu ba Bebayi,

Zekkaliya mutabani wa Bebayi, era wamu naye abasajja amakumi abiri mu munaana (28);

12n’okuva mu bazzukulu ba Azugadi,

Yokanaani mutabani wa Kakkatani, era wamu naye abasajja kikumi mu kkumi (110);

138:13 Ezr 2:13n’okuva mu bazzukulu ba Adonikamu,

abajja oluvannyuma, Erifereti, ne Yeyeri, ne Semaaya, era wamu nabo abasajja nkaaga (60);

14n’okuva mu bazzukulu ba Biguvaayi,

Usayi ne Zabudi, era wamu nabo abasajja nsanvu (70).

Okuddayo e Yerusaalemi

158:15 a nny 21, 31 b Ezr 2:40; 7:7Ne mbakuŋŋaanyiza ku mugga ogukulukutira e Yakava, ne tusiisira eyo okumala ennaku ssatu. Awo bwe nnali nga nneekebejja abantu ne bakabona, ne sirabamu Baleevi. 16Kyennava ntumya Eryeza ne Alyeri ne Semaaya ne Erunasani ne Yalibu ne Erunasani ne Nasani ne Zekkaliya ne Mesullamu, abaali abakulembeze ne Yoyalibu ne Erunasani, abaali abategeevu, 178:17 Ezr 2:43ne mbatuma eri Iddo omukulu w’ekifo eky’e Kasifiya, ne mbategeeza bye baba bagamba Iddo ne baganda be, abaaweerezanga mu yeekaalu mu kifo ekyo eky’e Kasifiya, batuuweereze abaweereza abaliyamba mu nnyumba ya Katonda waffe. 188:18 Ezr 5:5Olw’omukono gwa Katonda ogwali awamu naffe, ne batuleetera omusajja omutegeevu, omu ku bazzukulu ba Makuli, mutabani wa Leevi, mutabani wa Isirayiri, erinnya lye Serebiya, wamu ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja kkumi na munaana; 19ne Kasabiya, wamu naye Yesaya omu ku bazzukulu ba Merali, ne baganda be ne batabani baabwe, abasajja amakumi abiri. 208:20 1By 9:2; Ezr 2:43Ate era ne baleeta n’abaweereza ba yeekaalu Dawudi n’abakungu be baalonda okubeeranga Abaleevi ebikumi bibiri mu abiri. Bonna baali beewandiisizza.

218:21 a nny 15; 2By 20:3 b Zab 5:8; 107:7Awo ku mugga Akava, ne nangirira okusiiba, twetoowaze mu maaso ga Katonda waffe, nga tumwegayirira okubeera awamu naffe n’abaana baffe n’ebintu byaffe byonna mu lugendo lwaffe. 228:22 a Nek 2:9; Ezr 7:6, 9, 28 b Ezr 5:5 c Ma 31:17; 2By 15:2Nakwatibwa ensonyi okusaba kabaka abaserikale abakuumi ab’ebigere n’abeebagala embalaasi okutukuuma eri abalabe, kubanga twali tumutegeezeza nti, “Omukono omulungi ogwa Katonda waffe gubeera ku buli muntu amunoonya, naye obusungu bwe bubeera ku abo abamujeemera.” 238:23 2By 20:3; 33:13Kyetwava tusiiba ne twegayirira Katonda waffe ku nsonga eyo, era n’addamu okusaba kwaffe.

248:24 nny 18Awo ne nonda Serebiya ne Kasabiya ne baganda baabwe abalala kkumi, be bantu kkumi na babiri okuva mu bakabona abakulu, 258:25 nny 33; Ezr 7:15, 16ne mbapimira ffeeza ne zaabu n’ebintu kabaka, n’abaami be, n’abakungu be, ne Isirayiri yenna, bye baawaayo ku lw’ennyumba ya Katonda waffe. 26Ne mbagererera ttani amakumi abiri mu ttaano eza ffeeza, n’ebintu ebya ffeeza obuzito bwabyo ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, ne zaabu ttani ssatu n’ebitundu bisatu byakuna, 27ne kilo munaana n’ekitundu eza zaabu, n’ebitundu bibiri eby’ekikomo ebirungi ebizigule, eby’omuwendo nga zaabu.

288:28 Lv 21:6; 22:2-3Ne mbategeeza nti, “Muli batukuvu eri Mukama, n’ebintu bino bitukuvu eri Mukama. Effeeza ne zaabu biweebwayo kyeyagalire eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe. 29Mubikuume bulungi era mubituuse bulungi eri bakabona abakulu n’Abaleevi, n’abakulu b’ennyumba za Isirayiri.” 30Awo bakabona n’Abaleevi ne baweebwa effeeza ne zaabu, n’ebintu ebyawongebwa, ebyali bipimiddwa, okubitwala mu nnyumba ya Katonda waffe e Yerusaalemi.

318:31 nny 15Ku lunaku olw’ekkumi n’ebbiri olw’omwezi ogw’olubereberye ne tusitula okuva ku mugga Akava okugenda e Yerusaalemi. Omukono gwa Katonda waffe ne gubeera wamu naffe, n’atukuuma eri abalabe n’abanyazi mu kkubo. 328:32 Lub 40:13; Nek 2:11Ne tutuuka e Yerusaalemi gye twawumulira okumala ennaku ssatu. 338:33 a Nek 3:4, 21 b Nek 3:24Awo ku lunaku olwokuna, nga tuli mu nnyumba ya Katonda waffe, ne tupima ffeeza ne zaabu n’ebintu ebyawongebwa ne tubikwasa Meremoosi kabona, mutabani wa Uliya, ne Eriyazaali mutabani wa Finekaasi eyali awamu naye, ne Yozabadi mutabani wa Yeswa, ne Nowadiya mutabani wa Binnuyi, Abaleevi. 34Byonna ne bibalibwa ng’omuwendo gwabyo bwe gwali n’obuzito bwabyo bwe bwali era ne biwandiikibwa.

358:35 2By 29:21; Ezr 6:17Mu kiseera ekyo abaawaŋŋangusibwa, abakomawo okuva mu busibe, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda wa Isirayiri: ente ennume kkumi na bbiri ku lwa Isirayiri yenna, n’endiga ennume kyenda mu mukaaga, n’obuliga obuto nga bulume nsanvu mu musanvu, n’embuzi ennume kkumi na bbiri okuba ekiweebwayo olw’ekibi, ebyo byonna ne biba ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama. 368:36 a Ezr 7:21-24 b Es 9:3Ate era ne batuusa n’ebiragiro bya kabaka eri bagavana8:36 bagavana be baakulirwanga abaamasaza. n’abaamasaza abaali emitala w’omugga Fulaati, abafuzi abo ne bayamba abantu ne bawaayo n’obuyambi eri ennyumba ya Katonda.