以斯拉记 7 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以斯拉记 7:1-28

以斯拉到达耶路撒冷

1这些事以后,波斯亚达薛西年间,以斯拉巴比伦上到耶路撒冷以斯拉西莱雅的儿子,西莱雅亚撒利雅的儿子,亚撒利雅希勒迦的儿子, 2希勒迦沙龙的儿子,沙龙撒督的儿子,撒督亚希突的儿子, 3亚希突亚玛利雅的儿子,亚玛利雅亚撒利雅的儿子,亚撒利雅米拉约的儿子, 4米拉约西拉希雅的儿子,西拉希雅乌西的儿子,乌西布基的儿子, 5布基亚比书的儿子,亚比书非尼哈的儿子,非尼哈以利亚撒的儿子,以利亚撒是大祭司亚伦的儿子。 6以斯拉是位律法教师,精通以色列的上帝耶和华赐下的摩西律法。他的上帝耶和华帮助他,使王批准他的一切要求。

7亚达薛西王第七年,一些以色列人、祭司、利未人、歌乐手、殿门守卫和殿役来到耶路撒冷8-9这年一月一日,以斯拉巴比伦启程去耶路撒冷,五月一日就到达那里,因为他的上帝施恩帮助他。 10以斯拉定意研读、遵行耶和华的律法,并在以色列教导律例和典章。

亚达薛西王给以斯拉的谕旨

11以斯拉是祭司和律法教师,精通耶和华赐给以色列的诫命和律例。亚达薛西王降旨给以斯拉,内容如下:

12“王中之王亚达薛西降旨给精通天上上帝律法的教师以斯拉祭司,愿你平安!

13“我现在降旨,我国中的以色列人、祭司和利未人,凡愿意上耶路撒冷的都可以与你同去。 14我和七位谋士派你去按照你手中上帝的律法察看犹大耶路撒冷的情况, 15并带去我和谋士们自愿献的金银,献给住在耶路撒冷以色列的上帝, 16还要带去你在巴比伦省得到的金银,以及民众和祭司为耶路撒冷的上帝之殿自愿奉献的祭物。 17你一定要用这些金银购买公牛、公绵羊和绵羊羔,以及素祭和奠祭用品,把这一切献在耶路撒冷上帝殿的祭坛上。 18至于余下的金银,你和你的弟兄可以按你们上帝的心意妥善使用。 19那些交托给你、用来在你上帝的殿里敬拜的器皿,你要带到耶路撒冷的上帝面前。 20如果你们上帝的殿还需要什么,你可以从国库支取费用。

21“我亚达薛西王降旨给河西所有的财政大臣,精通天上上帝律法的律法教师以斯拉祭司无论向你们要什么,都要速速办理, 22可以给他银子三点四吨、麦子两万二千升、酒两千二百升、油两千二百升,盐可以随意取用。 23不论天上的上帝为祂的殿有何要求,都要认真办理,以免祂的烈怒临到王及众王子的国。 24我们也通知你们不可向这座上帝殿的祭司、利未人、歌乐手、殿门守卫、殿役或其他工人征收赋税。

25“你以斯拉要运用上帝赐给你的智慧委派官员和审判官,让他们治理河西省的人民,就是明白你上帝律法的人。你要教导那些不明白你上帝律法的人。 26凡不遵行你上帝的律法和王法的,要对他严加治罪,或处死,或发配,或抄家,或监禁。”

以斯拉赞美上帝

27以斯拉说:

“我们祖先的上帝耶和华当受赞美!因为祂使王有这样的心意尊崇耶路撒冷耶和华的殿。 28祂又在王及其谋士和所有权贵面前施恩于我。因为我的上帝耶和华帮助我,我便有勇气召集以色列的首领与我一同上去。”

Luganda Contemporary Bible

Ezera 7:1-28

Ezera Akomawo e Yerusaalemi

17:1 a Ezr 4:7; 6:14; Nek 2:1 b 2Bk 22:4Awo oluvannyuma lw’ebyo, mu biro eby’obufuzi bwa Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi, Ezera mutabani wa Seraya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Kirukiya, 27:2 a 1Bk 1:8; 1By 6:8 b Nek 11:11muzzukulu wa Sallumu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Akitubu, 3muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Merayoosi, 4muzzukulu wa Zerakiya, muzzukulu wa Uzzi, muzzukulu wa Bukki, 5muzzukulu wa Abisuwa, muzzukulu wa Finekaasi, muzzukulu wa Eriyazaali, muzzukulu wa Alooni kabona asinga obukulu, 67:6 a Nek 12:36 b Ezr 5:5; Is 41:20n’ava e Babulooni. Yali munnyonnyozi w’amateeka mukugu mu mateeka, Mukama Katonda wa Isirayiri ge yawa Musa. Kabaka n’amuwa buli kintu kye yasaba kubanga omukono gwa Mukama Katonda we gwali wamu naye. 77:7 Ezr 8:1Abamu ku bantu ba Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona, n’Abaleevi, n’abayimbi, n’abaakuumanga wankaaki, n’abaaweerezanga mu yeekaalu, ne bagenda wamu naye e Yerusaalemi mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka Alutagizerugizi.

8N’atuuka mu Yerusaalemi mu mwezi ogwokutaano ogw’omwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa kabaka oyo. 97:9 nny 6Yasitula okuva e Babulooni ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye, n’atuuka e Yerusaalemi ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogwokutaano, kubanga omukono gwa Katonda we omulungi gwali wamu naye. 107:10 nny 25; Ma 33:10; Nek 8:1-8Ezera yali amaliridde mu mutima gwe okusoma n’okukuuma Etteeka lya Mukama, era n’okuyigirizanga amateeka n’ebiragiro byalyo mu Isirayiri.

Ebbaluwa Kabaka Alutagizerugizi gye yawandiikira Ezera

11Eno ye kopi ey’ebbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona era omusomesa, omusajja eyali omukugu mu nsonga ez’amateeka n’ebiragiro bya Mukama eri Isirayiri.

127:12 Ez 26:7; Dan 2:37Alutagizerugizi, kabaka wa bakabaka,

Eri Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu:

Nkulamusizza.

13Nteeka etteeka nga buli muntu ow’omu ggwanga lya Isirayiri, omwo nga mwe muli bakabona n’Abaleevi, awulira okugenda e Yerusaalemi naawe, ayinza okugenda. 147:14 Es 1:14Otumiddwa kabaka n’abakungu be omusanvu ab’oku ntikko okugenda okunoonyereza ku bikwata ku Yuda ne Yerusaalemi nga mugoberera etteeka lya Katonda wammwe, lye mumanyi obulungi. 157:15 a 1By 29:6 b 1By 29:6, 9; 2By 6:2Bwe muba nga mugenda mutwale effeeza ne zaabu kabaka n’abakungu be bye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isirayiri, atuula mu Yerusaalemi, 167:16 a Ezr 8:25 b Zek 6:10awamu n’effeeza ne zaabu yonna gye muliggya mu ssaza lya Babulooni, n’ebiweebwayo eby’obuwa abantu ne bakabona bye baliwaayo ku lwa yeekaalu ya Katonda waabwe mu Yerusaalemi. 177:17 a 2Bk 3:4 b Kbl 15:5-12 c Ma 12:5-11Ensimbi ezo mulizikozesa okugula ente ennume, n’endiga ennume, n’abaana b’endiga, n’ebiweebwayo byako eby’obutta, n’ebiweebwayo byako ebyokunywa era munaabiweerangayo ku kyoto eky’omu yeekaalu ya Katonda wammwe mu Yerusaalemi.

18Ggwe ne baganda bo Abayudaaya, kye mulisiima okukolamu effeeza ne zaabu erifikkawo kiriva gye muli ng’okusiima kwa Katonda wammwe bwe kuli. 197:19 Ezr 5:14; Yer 27:22Ebintu byonna ebibaweereddwa okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe mubiwangayo olw’okusinza Katonda wa Yerusaalemi. 207:20 Ezr 6:4N’ekintu ekirala kyonna kye muliba mwetaaze okukozesa mu yeekaalu ya Katonda wammwe, kinaggyibwanga mu ggwanika lya kabaka.

21Kaakano, nze kabaka Alutagizerugizi nteeka etteeka nga ndagira abawanika bonna abali mu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati okuwanga Ezera kabona era omunnyonnyozi w’amateeka ga Katonda w’eggulu, by’anaabasabanga 22n’okutuusa ku ttani ssatu n’ekitundu eza ffeeza, oba kilo enkumi bbiri mu bibiri ez’eŋŋaano, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’envinnyo, oba lita enkumi bbiri mu bibiri ez’amafuta, oba n’omunnyo gwe baliba baagala gwonna. 237:23 Ezr 6:10Ekintu kyonna ekyalagirwa Katonda w’eggulu, kiribaweebwa mu bungi, ku lwa yeekaalu ya Katonda w’eggulu. Kale kiki ekirimuleetera okusunguwalira kabaka ne batabani be? 247:24 a Ezr 4:13 b Ezr 8:36Ate era mutegeere nga temusaana kuwooza musolo, oba empooza ey’engeri yonna ku kabona yenna newaakubadde Abaleevi newaakubadde abayimbi newaakubadde abakuumi ab’oku nzigi newaakubadde abaweereza ab’omu yeekaalu newaakubadde abaddu abalala ab’omu nnyumba ya Katonda eyo.

257:25 a Kuv 18:21, 26; Ma 16:18 b nny 10; Lv 10:11“Naawe, ggwe Ezera, ng’okozesa amagezi Katonda ge yakuwa, londa abaami n’abalamuzi, abanaalamulanga abantu bonna ab’omu ssaza eriri emitala w’omugga Fulaati, abamanyi amateeka ga Katonda wo, era oyigirize n’abo abatagamanyi. 267:26 Ezr 6:11Omuntu yenna ataligondera tteeka lya Katonda wo, n’etteeka lya Kabaka aliweebwa ekibonerezo kya kuttibwa, oba okugobebwa mu bantu, oba okuggyibwako ebibye, oba okusibibwa mu kkomera.”

277:27 a Ezr 1:1; 6:22 b 1By 29:12Mukama Katonda w’abajjajjaffe atenderezebwe ayolesezza kabaka okuwa ennyumba ya Mukama mu Yerusaalemi ekitiibwa, 287:28 a 2Bk 25:28 b Ezr 5:5; 9:9era ansobozesezza okulaba omukisa mu maaso ga kabaka ne mu maaso g’abawi b’amagezi be ab’oku ntikko, n’abakungu ba kabaka bonna, n’olw’omukono gwa Mukama Katonda wange ogubadde awamu nange, nsobole okukuŋŋaanya abakulembeze ba Isirayiri okugenda nange.