Исход 38 – NRT & LCB

New Russian Translation

Исход 38:1-31

Жертвенник для всесожжений

(Исх. 27:1-8)

1Жертвенник для всесожжений высотой три локтя38:1 Около 1,5 м. был сделан из акации. Он был квадратным: пять локтей в длину и пять в ширину38:1 Около 2,5 м в длину и ширину.. 2Он сделал по рогу на каждом из его четырех углов так, что рога и жертвенник составляли одно целое, и покрыл жертвенник бронзой. 3Из бронзы сделал всю его утварь: горшки, лопатки, кропильные чаши, вилки для мяса и противни. 4Он сделал для него решетку, бронзовую сетку, вровень с краями жертвенника, на середине его высоты. 5Он отлил бронзовые кольца для шестов на четырех углах бронзовой решетки. 6Потом сделал шесты из акации и покрыл их бронзой, 7вложил шесты в кольца так, чтобы они были по обеим сторонам, чтобы можно было носить жертвенник. Он сделал его из досок, полым внутри.

Бронзовый умывальник

(Исх. 30:18)

8Он сделал бронзовый умывальник с бронзовым основанием из зеркал женщин, служащих при входе в шатер собрания.

Двор скинии

(Исх. 27:9-19)

9Затем он сделал двор. Южная сторона была сто локтей в длину, отделенная завесами из крученого льна, 10с двадцатью столбами на бронзовых основаниях, с серебряными крюками и соединениями на столбах. 11Северная сторона также была сто локтей38:11 Около 50 м. в длину, с двадцатью столбами на бронзовых основаниях, с серебряными крюками и соединениями на столбах.

12Западная сторона была пятьдесят локтей38:12 Около 25 м. в ширину, отгороженная завесами, с десятью столбами на основаниях, с серебряными крюками и соединениями на столбах. 13Восточная сторона, к восходу солнца, также была пятьдесят локтей в ширину. 14На каждой стороне от входа были завесы пятнадцати локтей38:14 Около 7,5 м; также в ст. 15. в длину, с тремя столбами на основаниях, 15и на другой стороне от входа были завесы пятнадцати локтей в длину, с тремя столбами на основаниях. 16Все завесы вокруг двора были из крученого льна. 17Основания для столбов были бронзовыми, крюки и соединения на столбах – серебряными, а их верх – посеребренным. Все столбы двора имели серебряные связки.

18Завеса ко входу во двор была из голубой, пурпурной и алой пряжи и крученого льна, украшенная шитьем. Она была двадцать локтей38:18 Около 10 м. в длину и пять локтей38:18 Около 2,5 м. в высоту, вровень с завесами двора, 19и для нее четыре столба на бронзовых основаниях. Крюки и соединения столбов были серебряными, а верх – посеребренным. 20Все колья для скинии и окружающего двора были бронзовыми.

Опись материалов

21Вот опись того, что было израсходовано на постройку скинии – скинии свидетельства, – составленная по повелению Моисея левитами под началом Итамара, сына священника Аарона. 22(Веселеил, сын Ури, внук Хура, из рода Иуды, сделал все, как повелел Моисею Господь; 23с ним был Оголиав, сын Ахисамаха, из рода Дана, ремесленник, художник и вышивальщик по голубой, пурпурной и алой ткани и тонкому льну). 24Золота, принесенного в дар на работы в святилище, было двадцать девять талантов семьсот тридцать шекелей38:24 Около 1 т. по весу шекеля скинии.

25Серебра от членов общества, прошедших перепись, было сто талантов и тысяча семьсот семьдесят пять шекелей38:25 Около 3,4 т. по весу шекелю святилища: 26одна бека (то есть половина шекеля38:26 Около 6 г. по весу шекеля святилища) с каждого мужчины, кто прошел перепись, от двадцати лет и старше, общим числом шестьсот три тысячи пятьсот пятьдесят мужчин. 27Сто талантов38:27 Около 3,4 т. серебра пошло на литье оснований для святилища и завесы: сто талантов на сто оснований, по таланту на основание. 28Тысяча семьсот семьдесят пять шекелей38:28 Около 20 кг. ушло на то, чтобы сделать крюки для столбов, покрыть верх столбов и сделать их соединения.

29Пожертвованной бронзы было семьдесят талантов и две тысячи четыреста шекелей38:29 Около 2,5 т.. 30Она пошла на основания для входа в шатер собрания, бронзовый жертвенник с бронзовой решеткой и всю его утварь, 31на основания для двора и для входа в него и на все колья для скинии и двора.

Luganda Contemporary Bible

Okuva 38:1-31

Ekyoto eky’Ekiweebwayo Ekyokebwa

1Yazimba ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa mu miti gy’akasiya, mita emu ne desimoolo ssatu obugulumivu, ne mita bbiri ne desimoolo ssatu obuwanvu, ate obugazi mita bbiri ne desimoolo ssatu. 238:2 2By 1:5Ku nsonda zaakyo ennya yakolerako amayembe; ng’ekyoto n’amayembe yabibajja bumu mu nduli y’omuti emu. Ekyoto kyonna n’alyoka akibikkako ekikomo. 338:3 Kuv 31:9Ate n’akola eby’okukozesa ku kyoto: ensaka, n’ebisena evvu, n’ebbensani, n’ewuuma z’ennyama, ne fulampeni. Ebyo byonna yabikola mu kikomo. 4Ekyoto yakikolera ekitindiro eky’obutimba obw’ekikomo, n’akireebeeseza ku mukiikiro gw’ekyoto, n’akissa mu kyoto okutuuka mu makkati gaakyo. 5N’akola empeta nnya ku nsonda ennya ez’ekitindiro ky’ekikomo nga ze z’okuwanirira emisituliro. 6Emisituliro gino yagibajja mu muti gwa akasiya, n’agibikkako ekikomo. 7N’asonseka emisituliro egyo ng’agiyisa mu mpeta mu mbiriizi z’ekyoto, gikozesebwenga ng’ekyoto kisitulwa. Yakikola n’embaawo nga wakati kya muwulukwa.

838:8 a Kuv 30:18; 40:7 b Ma 23:17; 1Sa 2:22; 1Bk 14:24N’akola ebbensani ey’ekikomo n’akameeza kaayo, bye yaweesa okuva mu ndabirwamu ez’ekikomo ezaagabwa abakazi abaaweerezanga ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.

Oluggya lw’Eweema ya Mukama

9Ekyaddirira, yakola oluggya. Ku luuyi olw’obukiikaddyo, oluggya lwali obuwanvu mita amakumi ana mu mukaaga, nga lulina amagigi aga linena omulungi omulebevu alangiddwa, 10n’ebikondo amakumi abiri, n’entobo mwe bituula ez’ekikomo amakumi abiri, nga kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro egya ffeeza. 11Ne ku luuyi olw’obukiikakkono oluggya lwali obuwanvu mita ana mu mukaaga, n’ebikondo amakumi abiri, n’ebikolo byabyo mwe bituula eby’ekikomo amakumi abiri, nga ku bikondo kuliko amalobo aga ffeeza n’emikiikiro gyako gyali gya ffeeza.

12Ku luuyi olw’ebugwanjuba oluggya lwali lwa mita amakumi abiri mu bbiri, ne desimoolo ttaano nga luliko entimbe, n’ebikondo kkumi, n’entobo kkumi; n’amalobo n’emikiikiro nga bya ffeeza. 13Ne ku luuyi olw’ebuvanjuba oluggya lwali obugazi mita amakumi abiri mu bbiri n’obutundu butaano. 14Ku ludda olumu olw’omulyango kwaliko amagigi obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 15Ne ku ludda olulala olw’omulyango nakwo kwaliko entimbe obuwanvu mita mukaaga n’obutundu munaana, era n’ebikondo bisatu n’entobo zaabyo ssatu. 16Entimbe zonna okwebungulula oluggya zaali za linena omulungi omulebevu alangiddwa. 17Entobo z’ebikondo zaali za kikomo, naye amalobo n’emikiikiro gyako nga bya ffeeza, ne ku mitwe gyabyo nga kubikkiddwako ffeeza; bwe bityo ebikondo byonna eby’omu luggya byaliko emikiikiro gya ffeeza.

18Olutimbe olw’omu mulyango gw’oluggya lwakolebwa mu linena omulungi omulebevu alangiddwa obulungi, nga lutungiddwamu amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu. Lwali luweza obuwanvu mita mwenda n’obugulumivu mita bbiri n’obutundu busatu, ng’entimbe ez’oluggya bwe zaali. 19Lwalina empagi nnya, n’entobo zaazo nnya nga za kikomo, n’amalobo gaazo n’emikiikiro nga bya ffeeza, ne kungulu kwonna ne kubikkibwako ffeeza. 2038:20 Kuv 35:18Enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama n’okwebungulula oluggya zaali za kikomo.

Ebyakozesebwa ku Weema ya Mukama

2138:21 a Kbl 1:50, 53; 8:24; 9:15; 10:11; 17:7; 1By 23:32; 2By 24:6; Bik 7:44; Kub 15:5 b Kbl 4:28, 33Bino bye bintu byonna ebyakozesebwa ku Weema, Eweema ya Mukama ey’Obujulizi, nga Musa bwe yalagira okubibala bikozesebwe Abaleevi nga balabirirwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona. 2238:22 Kuv 31:2Bezaaleeri, mutabani wa Uli muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda, n’akola ebyo byonna Mukama bye yalagira Musa; 2338:23 Kuv 31:6baakolera wamu ne Okoliyaabu, mutabani wa Akisamaki ow’omu kika kya Ddaani, eyali omukugu ennyo mu kwola ne mu kutetenkanya, n’okutunga amajjolobera mu linena ennungi endebevu ennange n’ewuzi eza bbululu ne kakobe ne myufu. 2438:24 a Kuv 30:16 b Kuv 30:13; Lv 27:25; Kbl 3:47; 18:16Zaabu yenna eyali aweereddwayo eri Mukama, eyakozesebwa mu kuzimba ekifo ekitukuvu, yali nga ttani emu, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli.

2538:25 Kuv 30:12Ne ffeeza eyaweebwayo abaabalibwa nga bava mu kibiina mu kubala abantu, yali wa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina, ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. 2638:26 a Kuv 30:12 b Kuv 30:13 c Kuv 30:14 d Kuv 12:37; Kbl 1:46Noolwekyo, buli muntu yawangayo gulaamu ttaano ne desimoolo ttaano ng’okupima kw’Awatukuvu okutongole bwe kuli ng’aweebwayo abo abaabalibwa nga bava ku myaka egy’obukulu amakumi abiri n’okweyongerayo, bonna baawera abasajja obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 2738:27 Kuv 26:19Ffeeza ow’obuzito bwa kilo enkumi ssatu mu ebikumi bina ye yasaanuusibwa okukolamu entobo ekikumi ez’Awatukuvu n’eggigi: noolwekyo, nga buli kilo amakumi asatu mu nnya zikola entobo emu. 28Kilo amakumi asatu ezaasigalawo zaakolwamu amalobo ag’oku bikondo n’emikiikiro gyabyo, n’okubikka ku mitwe gy’ebikondo.

29Ekikomo ekyaweebwayo eri Mukama kyali kilo enkumi bbiri mu ebikumi bina. 30Omwo Bezaaleeri mwe yakola ekituurwamu eky’omulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’ekyoto eky’ekikomo, n’ekitindiro eky’obutimba eky’ekikomo, n’ebikozesebwa ebirala byonna eby’ekyoto, 31n’ekituurwamu okwebungulula oluggya, n’ekituurwamu eky’omulyango omunene ogw’oluggya, n’enkondo zonna ez’Eweema ya Mukama, n’enkondo zonna okwebungulula oluggya.