Zabbuli 82 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 82:1-8

Zabbuli 82

Zabbuli ya Asafu.

182:1 Zab 58:11; Is 3:13Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,

ng’alamula bakatonda.

282:2 a Ma 1:17 b Zab 58:1-2; Nge 18:5Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,

nga musalira abanafu?

382:3 a Ma 24:17 b Yer 22:16Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;

abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.

4Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;

mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.

582:5 a Zab 14:4; Mi 3:1 b Is 59:9 c Zab 11:3Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.

Batambulira mu kizikiza;

emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.

682:6 Yk 10:34*Njogedde nti, Muli bakatonda,

era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.

782:7 Zab 49:12; Ez 31:14“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;

muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”

882:8 a Zab 12:5 b Zab 2:8; Kub 11:15Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;

kubanga amawanga gonna gago.