Zabbuli 81 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 81:1-16

Zabbuli 81

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Asafu.

181:1 Zab 66:1Mumuyimbire nnyo n’essanyu Katonda amaanyi gaffe;

muyimuse waggulu amaloboozi gammwe eri Katonda wa Yakobo!

281:2 a Kuv 15:20 b Zab 92:3Mutandike okuyimba, mukube ebitaasa

n’ennanga evuga obulungi ey’enkoba awamu n’entongooli.

3Mufuuwe eŋŋombe ng’omwezi gwakaboneka,

era mugifuuwe nga gwa ggabogabo, ku lunaku olw’embaga yaffe.

4Ekyo kye kiragiro eri Isirayiri,

lye tteeka lya Katonda wa Yakobo.

581:5 a Kuv 11:4 b Zab 114:1Yaliteekera Yusufu,

Katonda bwe yalumba ensi ya Misiri;

gye nawulirira olulimi olwannema okutegeera.

681:6 Is 9:4“Nnamutikkula omugugu okuva ku kibegabega kye;

n’emikono gye ne ngiwummuza okusitula ebisero.

781:7 a Kuv 2:23; Zab 50:15 b Kuv 19:19 c Kuv 17:7Mwankoowoola nga muli mu nnaku ne mbadduukirira ne mbawonya,

nabaanukulira mu kubwatuka mu kire;

ne mbagezesa ku mazzi ag’e Meriba.

881:8 Zab 50:7Muwulire, mmwe abantu bange, nga mbalabula.

Singa onompuliriza, ggwe Isirayiri!

981:9 Kuv 20:3; Ma 32:12; Is 43:12Temubeeranga na katonda mulala,

wadde okuvuunamira katonda omulala yenna.

1081:10 a Kuv 20:2 b Zab 107:9Nze Mukama Katonda wo,

eyakuggya mu nsi y’e Misiri.

Yasamya akamwa ko, nange nnaakajjuza.

1181:11 Kuv 32:1-6“Naye abantu bange tebampuliriza;

Isirayiri teyaŋŋondera.

1281:12 Bik 7:42; Bar 1:24Nange ne mbawaayo eri obujeemu bw’omutima gwabwe,

okugoberera ebyo bye baagala.

1381:13 Ma 5:29; Is 48:18“Singa abantu bange bampuliriza;

singa Isirayiri agondera ebiragiro byange,

1481:14 a Zab 47:3 b Am 1:8mangwago nandirwanyisizza abalabe baabwe,

ne mbawangula.

15Abo abakyawa Mukama ne beegonza gy’ali;

ekibonerezo kyabwe kya mirembe gyonna.

1681:16 Ma 32:14Naye ggwe, Isirayiri, nandikuliisizza eŋŋaano esingira ddala obulungi,

ne nkukkusa omubisi gw’enjuki nga guva mu lwazi.”