Zabbuli 72 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 72:1-20

Zabbuli 72

Zabbuli ya Sulemaani.

1Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,

ne mutabani we omuwe obutuukirivu,

272:2 Is 9:7; 11:4-5; 32:1alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,

n’abaavu abalamulenga mu mazima.

3Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana

n’obusozi bubaleetere obutuukirivu.

472:4 Is 11:4Anaalwaniriranga abaavu,

n’atereeza abaana b’abo abeetaaga,

n’omujoozi n’amusaanyaawo.

5Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma

okwaka mu mirembe gyonna.

672:6 Ma 32:2; Kos 6:3Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,

afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi.

772:7 Zab 92:12; Is 2:4Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,

n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka!

872:8 a Kuv 23:31 b Zek 9:10Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,72:8 Kyalowoozebwanga nti ensi yakomanga ku Nnyanja ey’Omunnyo okumpi n’Ennyanja Ennene, eya Meditereniyaani.

n’okuva ku mugga Fulaati72:8 Omugga Fulaati gwe gwali ensalo ku luuyi olw’ebuvanjuba bwa Isirayiri, mu bufuzi bwa Sulemaani. Kyali kyasuubizibwa Abayisirayiri mu biro eby’okuva mu Misiri. okutuuka ku nkomerero z’ensi!

9Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,

n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu.

1072:10 a Lub 10:7 b 2By 9:24Bakabaka b’e Talusiisi72:10 Talusiisi kyali mu Esupaniya, era eyo ye yalowoozebwa okuba enkomerero y’ensi. n’ab’oku bizinga eby’ewala

bamuwenga omusolo;

bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba72:10 Syeba kiri mu Buwalabu, ate Seeba kiri mu Afirika.

bamutonerenga ebirabo.

11Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;

amawanga gonna ganaamuweerezanga.

12Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,

n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi.

13Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;

n’awonya obulamu bwa kateeyamba.

1472:14 a Zab 69:18 b 1Sa 26:21; Zab 116:15Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;

kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali.

1572:15 Is 60:6Awangaale!

Aleeterwe zaabu okuva e Syeba.

Abantu bamwegayiririrenga

era bamusabirenga emikisa buli lunaku.

1672:16 Zab 104:16Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,

ebikke n’entikko z’ensozi.

Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni;

n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale.

1772:17 a Kuv 3:15 b Zab 89:36 c Lub 12:3; Luk 1:48Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,

n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba.

Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye,

era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa.

1872:18 a 1By 29:10; Zab 41:13; 106:48 b Yob 5:9Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,

oyo yekka akola ebyewuunyisa.

1972:19 a Kbl 14:21; Nek 9:5 b Zab 41:13Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!

Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye.

Amiina era Amiina!

20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 72:1-20

第 72 篇

为君王祈祷

所罗门的诗。

1上帝啊,

求你将你的公正赐给王,

将你的公义赐给王的儿子。

2让他凭公义审判你的子民,

按公平对待那些贫苦的人。

3愿大山给百姓带来繁荣,

小山带来公义。

4愿他保护百姓中受苦的人,

拯救贫穷的人,打倒欺压者。

5只要日月尚存,

愿百姓永远敬畏你。

6愿他的统治如春雨降在新割过的草场上,

又像甘霖滋润大地。

7在他统治之下,

愿义人兴旺,国富民强,

如月长存。

8愿他的疆域横跨洋海,

幼发拉底河直到地极。

9愿旷野的居民都来向他下拜,

敌人都扑倒在尘土中。

10他施示巴西巴的君王都来纳贡称臣。

11愿君王都敬拜他,

万国都事奉他。

12贫穷人呼求,他便搭救;

困苦人无助,他就伸出援手。

13他怜悯软弱和贫困的人,

拯救贫困人的性命。

14他要救他们脱离别人的压迫和暴力,

因为他爱惜他们的生命。

15愿王寿命长久,

愿人们将示巴的金子献给他,

不断为他祷告,

终日称颂他。

16愿遍地五谷丰登,

山顶上出产丰富,

黎巴嫩的密林。

愿各城人口稠密如原野的青草。

17愿他的名流芳百世,如日长存。

愿万国都因他而蒙福,

都称颂他。

18以色列的上帝耶和华当受称颂,

唯有祂行奇妙的事。

19愿祂荣耀的名永受称颂!

愿普天下充满祂的荣耀。

阿们!阿们!

20耶西的儿子大卫的祷告结束。