Engero 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 1:1-33

11:1 a 1Bk 4:29-34 b Nge 10:1; 25:1; Mub 1:1Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.

2Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,

era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.

3Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,

okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;

41:4 a Nge 8:5 b Nge 2:10-11; 8:12okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,

n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.

51:5 Nge 9:9N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga

n’abategeevu beeyongere okubangulwa.

61:6 a Zab 49:4; 78:2 b Kbl 12:8Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,

enjogera n’ebikokyo.

71:7 Yob 28:28; Zab 111:10; Nge 9:10; 15:33; Mub 12:13Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

Amagezi eri Abavubuka

81:8 a Nge 4:1 b Nge 6:20Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

91:9 Nge 4:1-9bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

n’emikuufu mu bulago bwo.

101:10 a Lub 39:7 b Ma 13:8 c Nge 16:29; Bef 5:11Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,

tokkirizanga.

111:11 Zab 10:8Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,

tunyage, tubbe n’okutta;

tokkirizanga;

121:12 Zab 28:1ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,

era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;

13nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,

ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;

14ng’ababi batuyita tubeegatteko,

tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”

151:15 a Zab 119:101 b Zab 1:1; Nge 4:14Mwana wange totambuliranga wamu nabo,

era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:

161:16 Nge 6:18; Is 59:7Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,

era kibanguyira okuyiwa omusaayi.

17Nga kuba kumala biseera okutega omutego,

ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,

18naye abantu ng’abo baba beetega bokka,

baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.

191:19 Nge 15:27Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.

Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.

Okulabula Eri Abanyooma Amagezi

201:20 Nge 8:1; 9:1-3, 13-15Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;

gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.

21Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,

era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:

221:22 Nge 8:5; 9:4, 16Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,

nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?

23Kale singa muwuliriza okunenya kwange,

laba, ndifuka omutima gwange

n’ebirowoozo byange mu mmwe.

241:24 Is 65:12; 66:4; Yer 7:13; Zek 7:11Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,

ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,

25era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,

era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,

261:26 a Zab 2:4 b Nge 6:15; 10:24kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,

era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.

27Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,

ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,

281:28 a 1Sa 8:18; Is 1:15; Yer 11:11; Mi 3:4 b Yob 27:9; Nge 8:17; Ez 8:18; Zek 7:13kale balinkoowoola, naye siriyitaba;

balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.

291:29 Yob 21:14Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,

era ne bamalirira obutatya Mukama.

301:30 nny 25; Zab 81:11Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;

ne banyooma okunenya kwange kwonna.

311:31 Yob 4:8; Nge 14:14; Is 3:11; Yer 6:19Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,

era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.

321:32 Yer 2:19Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono

n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,

331:33 a Zab 25:12; Nge 3:23 b Zab 112:8naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,

ng’agumye nga talina kutya kwonna.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

箴言 1:1-33

箴言的价值

1这是大卫的儿子以色列所罗门的箴言。

2为使人认识智慧和教诲,

领悟真知灼见;

3为使人接受劝诫,

为人处事仁义、公平、正直;

4使愚昧人明智,

使青年有知识和明辨力;

5使智者听了长学问,

明哲听了得指引;

6使人领悟箴言和比喻,

明白智者的话和谜语。

7知识始于敬畏耶和华,

愚人轻视智慧和教诲。

8孩子啊,

你要听从父亲的教诲,

不可背弃母亲的训言。

9因为这要作你头上的华冠,

颈上的项链。

10孩子啊,恶人若引诱你,

千万不要听从。

11他们若说:“跟我们来吧,

我们去埋伏杀人,

暗害无辜者取乐;

12我们要像阴间一样生吞他们,

整个吞没他们,

使他们如坠入坟墓的人;

13我们必得到各样宝物,

把战利品装满我们的房屋。

14跟我们一起干吧,

大家有福同享!”

15孩子啊,

不要走他们的道,

切莫行他们的路。

16因为他们奔向罪恶,

急速地去杀人流血。

17在飞鸟眼前设网罗,徒劳无功。

18他们埋伏,却自流己血;

他们伏击,却自害己命。

19这就是贪爱不义之财者的结局,

不义之财终要夺去他们的性命。

智慧的劝诫

20智慧在大街上高喊,

在广场上扬声,

21在热闹的市集宣告,

在城门口演说:

22“你们愚昧人喜爱愚昧,

嘲讽者以嘲弄为乐,

无知者厌恶知识,

要到什么时候呢?

23你们若因我的责备而回转,

我就向你们显明我的旨意1:23 我就向你们显明我的旨意”希伯来文是“我就将我的灵浇灌你们”。

叫你们明白我的话语。

24我呼唤你们,

你们却充耳不闻;

我向你们招手,

你们却视若无睹。

25你们漠视我的劝诫,

不接受我的责备。

26因此,

你们遭遇灾难时,

我必发笑;

惊恐临到你们时,

我必嗤笑——

27那时,恐惧如风暴袭击你们,

灾难如旋风临到你们,

忧愁和苦难吞没你们。

28你们呼求我,

我也不回答;

你们恳切地寻找我,

却找不到。

29因为你们厌恶知识,

不愿意敬畏耶和华,

30不接受我的劝诫,

又藐视我的责备。

31所以,你们必自食其果,

因自己的恶谋而吃尽苦头。

32愚昧人背离正道,

自招灭亡;

愚顽人逍遥自在,

毁掉自己。

33然而,那听从我的必安然居住,

得享安宁,

不怕灾祸。”