Zabbuli 54 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 54:1-7

Zabbuli 54

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi, Abazifu bwe bajja ne babuulira Sawulo nti, “Dawudi yeekwese mu ffe.”

154:1 a Zab 20:1 b 2By 20:6Olw’erinnya lyo ondokole, Ayi Katonda,

n’amaanyi go amangi onzigyeko omusango.

254:2 Zab 5:1; 55:1Wulira okusaba kwange, Ayi Katonda,

owulirize ebigambo by’omu kamwa kange.

354:3 a Zab 86:14 b Zab 40:14 c Zab 36:1Abantu be simanyi bannumba;

abantu abalina ettima abatatya Katonda;

bannoonya okunzita.

454:4 a Zab 118:7 b Zab 41:12Laba, Katonda ye mubeezi wange,

Mukama ye mukuumi wange.

554:5 a Zab 94:23 b Zab 89:49; 143:12Leka ebintu ebibi byonna bye bantegekera, bibeekyusize,

obazikirize olw’obwesigwa bwo.

654:6 a Zab 50:14 b Zab 52:9Nnaakuleeteranga ssaddaaka ey’ekyeyagalire;

ne ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama,

kubanga ddungi.

754:7 a Zab 34:6 b Zab 59:10Kubanga Katonda amponyezza ebizibu byange byonna;

era amaaso gange galabye ng’awangula abalabe bange.