Zabbuli 55 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 55:1-23

Zabbuli 55

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

155:1 Zab 27:9; 61:1Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,

togaya kwegayirira kwange.

255:2 a Zab 66:19 b Zab 77:3; Is 38:14Ompulire era onziremu,

kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.

355:3 a 2Sa 16:6-8; Zab 17:9 b Zab 71:11Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;

ababi bankanulidde amaaso

ne banvuma nga bajjudde obusungu.

455:4 Zab 116:3Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;

entiisa y’okufa entuukiridde.

555:5 Yob 21:6; Zab 119:120Okutya n’okukankana binnumbye;

entiisa empitiridde.

6Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,

nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.

7“Nandiraze wala nnyo,

ne mbeera eyo mu ddungu;

855:8 Is 4:6nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,

eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

955:9 Yer 6:7Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;

kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.

10Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,

ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.

1155:11 a Zab 5:9 b Zab 10:7Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.

Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12Singa omulabe wange y’abadde anvuma,

nandikigumiikirizza;

singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,

nandimwekwese.

1355:13 2Sa 15:12; Zab 41:9Naye ggwe munnange,

bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!

1455:14 Zab 42:4Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,

nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

1555:15 a Zab 64:7 b Kbl 16:30, 33Okufa kubatuukirire,

bakke emagombe nga bakyali balamu;

kubanga bajjudde okukola ebibi.

16Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,

n’andokola.

1755:17 a Zab 141:2; Bik 3:1 b Zab 5:3Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,

ndaajana nga bwe nsinda;

n’awulira eddoboozi lyange.

18Amponyezza mu lutalo

nga siriiko kintuseeko

newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.

1955:19 a Ma 33:27 b Zab 78:59Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,

aliwulira n’ababonereza

abo abatakyusa makubo gaabwe

era abatatya Katonda.

2055:20 a Zab 7:4 b Zab 89:34Agololera emikono gye ku mikwano gye;

n’amenya endagaano ye.

2155:21 a Nge 5:3 b Zab 28:3; 57:4; 59:7By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,

so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;

ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,

so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

2255:22 a Zab 37:5; Mat 6:25-34; 1Pe 5:7 b Zab 37:24Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,

ajja kukuwanirira;

kubanga talireka mutuukirivu kugwa.

2355:23 a Zab 73:18 b Zab 5:6 c Yob 15:32; Nge 10:27 d Zab 25:2Naye ggwe, Ayi Katonda,

olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;

era abatemu n’abalimba bonna

tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.

Naye nze, neesiga ggwe.