Zabbuli 114 – LCB & NSP

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 114:1-8

Zabbuli 114

1114:1 Kuv 13:3Isirayiri bwe yava mu Misiri,

abaana ba Yakobo abo, ne bava mu bantu abaayogeranga olulimi olutali lwabwe;

2Yuda n’afuuka omutukuvu wa Katonda,

Isirayiri n’afuuka amatwale ge.

3114:3 a Kuv 14:21; Zab 77:16 b Yos 3:16Ennyanja bwe yabalaba n’edduka;

Omugga Yoludaani ne gudda emabega.

4Ensozi ne zibuukabuuka ng’endiga zisseddume,

n’obusozi obutono ng’obuliga obuto.

5Ggwe ennyanja, lwaki wadduka?

Ggwe Yoludaani, lwaki wadda emabega?

6Mmwe ensozi, lwaki mwabuukabuuka ng’endiga zisseddume,

nammwe obusozi obutono ng’obuliga obuto?

7114:7 Zab 96:9Kankana, ggwe ensi, mu maaso ga Mukama,

mu maaso ga Katonda wa Yakobo,

8114:8 Kuv 17:6; Kbl 20:11; Zab 107:35eyafuula olwazi ekidiba eky’amazzi,

n’olwazi olugumu n’aluggyamu ensulo ez’amazzi.

New Serbian Translation

Псалми 114:1-8

Псалам 114

1Када је из Египта изашао Израиљ,

дом Јаковљев из народа туђинског језика,

2Јуда је постао његово Светилиште

и Израиљ царство његово.

3Видело то море, па устукну,

а и Јордан потече уназад.

4Ко овнови поскакаше горе

и брежуљци попут јагањаца.

5Море, што си утекло?

Јордане, што си уназад потекао?

6Горе, што скачете ко овнови

и ви, брежуљци, попут јагањаца?

7Пред Господом потреси се, земљо,

пред Јаковљевим Богом;

8што претвара стену у језеро,

кремен-камен у свој извор воде.