Yobu 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 11:1-20

Zofali Ayogera

1Awo Zofali Omunaamasi n’ayogera nti,

211:2 Yob 8:2“Ebigambo ebyo byonna bisigale nga tebiddiddwamu?

Omwogezi ono anaabalibwa ng’ataliiko musango?

311:3 Yob 17:2; 21:3Okwogera kwo okutaliimu kunaatusirisa?

Oduule bw’otyo wabulewo akunenya?

411:4 a Yob 6:10 b Yob 10:7Ogamba Katonda nti, ‘Ebirowoozo byange tebirina nsobi,

era ndi mutukuvu mu maaso go.’

5Naye, singa Katonda ayogera,

singa abikkula akamwa ke n’akuddamu,

611:6 a Yob 9:4 b Ezr 9:13; Yob 15:5n’akubikkulira ebyama by’amagezi;

kubanga amagezi amatuufu ddala galiko enjuuyi bbiri.

Manya kino: Katonda n’okwerabira yeerabira ebimu ku bibi byo.

711:7 Mub 3:11; Bar 11:33“Osobola okupima ebyama bya Katonda?

Oyinza okunoonyereza ku Ayinzabyonna n’omumalayo?

811:8 Yob 22:12Bigulumivu okusinga eggulu, kiki ky’osobola okukola?

Bikka okusinga obuziba bw’emagombe, kiki ky’osobola okumanya?

9Obuwanvu bwabyo businga ensi

era bugazi okusinga ennyanja.

1011:10 Yob 9:12; Kub 3:7“Singa ajja n’akusibira mu kkomera era n’atuuza olukiiko,

ani ayinza okumuwakanya?

1111:11 Yob 34:21-25; Zab 10:14Mazima ddala amanya abantu abalimba.

Bw’alaba ebibi, tabifaako?

12Naye omuntu omusirusiru, talifuna magezi,

ng’omwana gw’endogoyi ogw’omu nsi bwe gutayinza kuzaalibwa nga gusobola okufugibwa.

1311:13 a 1Sa 7:3; Zab 78:8 b Zab 88:9“Naye bw’owaayo omutima gwo gy’ali,

n’ogolola emikono gyo gy’ali,

1411:14 a Zab 101:4 b Yob 22:23singa oggyawo ekibi ekiri mu mukono gwo,

n’otokkiriza kibi kubeera mu weema yo,

1511:15 Yob 22:26; 1Yk 3:21olwo onoositula omutwe n’obwenyi bwo nga tokwatibwa nsonyi,

era oyimirire ng’oli munywevu awatali kutya.

1611:16 a Is 65:16 b Yob 22:11Mazima ddala ojja kwerabira emitawaana gyo,

olijjukira bujjukizi ng’amazzi agaayita edda.

1711:17 Yob 22:28; Zab 37:6; Is 58:8, 10Obulamu bujja kwaka okusinga omusana ogw’omu ttuntu,

n’ekizikiza kijja kufuuka ng’obudde obw’oku nkya.

1811:18 a Zab 3:5 b Lv 26:6; Nge 3:24Olibeera munywevu, kubanga olibeera n’essuubi;

olitunuulira ebikwetooloodde n’owummulira mu mirembe.

1911:19 a Lv 26:6 b Is 45:14Oligalamira nga tewali n’omu akutiisa,

era bangi abalikunoonyaako omukisa.

2011:20 a Ma 28:65; Yob 17:5 b Yob 27:22; 34:22 c Yob 8:13Naye amaaso g’abakozi b’ebibi galiremererwa,

era tebalisobola kuwona,

essuubi lyabwe libeere ng’omukka ogw’enkomerero.”