Yobu 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yobu 12:1-25

Yobu Ayanukula

1Awo Yobu n’amuddamu nti,

212:2 Yob 17:10“Awatali kubuusabuusa muli bantu.

Bwe mulifa n’amagezi gammwe ne gafa.

312:3 Yob 13:2Naye nange nnina amagezi ntegeera,

temunsinga.

Ani atabimanyi ebyo byonna?

412:4 a Yob 21:3 b Zab 91:15 c Yob 6:29Nfuuse ekisekererwa eri mikwano gyange.

Nze eyakoowolanga Katonda n’anziramu,

ne nsekererwa obusekererwa, ate nga ndi mutukuvu ataliiko musango!

5Abantu abali mu ddembe lyabwe batera okusekerera abali mu mitawaana,

ng’ebizibu bwe biba ku abo ababa batuuse awazibu.

612:6 a Yob 22:18 b Yob 9:24; 21:9Weema z’abanyazi tezibaako mutawaana,

era abo abanyiiza Katonda babeera mu ddembe

abo abeetikka katonda waabwe mu mikono gyabwe.

7Naye buuza ensolo zijja kukuyigiriza,

oba ebinyonyi eby’omu bbanga binaakubuulira.

8Oba yogera n’ettaka linaakusomesa

oba ebyennyanja eby’omu nnyanja binaakunnyonnyola.

912:9 Is 41:20Biki ku bino ebitamanyi nti,

omukono gwa Mukama gwe gukoze ebyo?

1012:10 Yob 27:3; 33:4; Bik 17:28Buli bulamu bwa kitonde buli mu mukono gwe,

na buli mukka ogussibwa abantu bonna.

1112:11 Yob 34:3Okutu tekugezesa bigambo

ng’olulimi bwe lukomba ku mmere?

1212:12 a Yob 15:10 b Yob 32:7, 9Amagezi tegasangibwa mu bakaddiye?

Okuwangaala tekuleeta kutegeera?

1312:13 a Yob 11:6 b Yob 9:4 c Yob 32:8; 38:36Katonda y’alina amagezi n’amaanyi;

y’ateesa ebigambo era y’alina okutegeera.

1412:14 a Yob 19:10 b Yob 37:7; Is 25:2Ky’amenya teri ayinza kuddamu kukizimba;

ky’asiba mu kkomera tekiyinza kuteebwa.

1512:15 a 1Bk 8:35 b 1Bk 17:1 c Lub 7:11Bw’aziyiza amazzi, ekyeeya kijja,

bw’agata gazikiriza ensi.

1612:16 Yob 13:7, 9Ye, ye nannyini maanyi n’obuwanguzi,

abalimba n’abalimbibwa bonna babe.

1712:17 a Yob 19:9 b Yob 3:14Aggyawo abawi b’amagezi nga tebalina kantu,

abalamuzi n’abafuula abasirusiru.

1812:18 Zab 116:16Bakabaka abaggyako enjegere ze beesiba ebiwato byabwe,

n’abasibamu obukete.12:18 Obukete bwe bugoye bwokka abaddu abawambe bwe bakkirizibwanga okwambala.

1912:19 Yob 24:12, 22; 34:20, 28; 35:9Bakabona abatwala nga tebalina kantu,

n’asuula abasajja abaanywera.

2012:20 Yob 32:9Aziba emimwa egy’abawi b’amagezi abeesigwa,

era n’aggyawo okwolesebwa kw’abakadde.

21Ayiwa ekivume ku bakungu,

era n’aggya ebyokulwanyisa ku b’amaanyi.

2212:22 a 1Ko 4:5 b Yob 3:5 c Dan 2:22Abikkula ebintu eby’ebuziba eby’ekizikiza,

n’aleeta n’ebisiikirize eby’amaanyi mu kitangaala.

2312:23 a Yer 25:9 b Zab 107:38; Is 9:3; 26:15Afuula amawanga okuba ag’amaanyi, era n’agazikiriza;

agaziya amawanga n’agasaasaanya.

2412:24 Zab 107:40Abakulembeze baamawanga abaggyako okukola ebisaanidde;

n’abasindika nga bagwirana mu ddungu eritaliimu kkubo.

2512:25 a Yob 5:14 b Zab 107:27; Is 24:20Bawammantira mu kizikiza awatali kitangaala;

abaleetera okutagala ng’abatamiivu.”