Yeremiya 46 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 46:1-28

Obubaka Obukwata ku Misiri

146:1 Yer 1:10; 25:15-38Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku mawanga:

246:2 a 2Bk 23:29 b 2By 35:20 c Yer 45:1Ebikwata ku Misiri:

Buno bwe bubaka obukwata ku ggye lya Falaawo Neko kabaka w’e Misiri, eryawangulwa e Kalukemisi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni lye yakuba mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ku Mugga Fulaati.

346:3 Is 21:5; Yer 51:11-12“Mutegeke engabo zammwe,

ennene n’entono mukumbe okugenda mu lutalo!

446:4 a Ez 21:9-11 b 1Sa 17:5, 38; 2By 26:14; Nek 4:16Mutegeke embalaasi

muzeebagale!

Muyimirire mu bifo byammwe

n’esseppeewo zammwe!

Muzigule amafumu,

mwambale ebizibaawo eby’ebyuma!

546:5 a nny 21 b Yer 49:29Kiki kye ndaba?

Batidde,

badda ennyuma,

abalwanyi baabwe bawanguddwa.

Badduka mu bwangu

awatali kutunula mabega,

era waliwo okufa ku buli luuyi,”

bw’ayogera Mukama Katonda.

646:6 a Is 30:16 b nny 12, 16; Dan 11:19“Abawenyusi b’embiro tebasobola kuwona

n’ab’amaanyi tebasobola kwewonya.

Beesittala

ne bagwa mu bukiikakkono obw’Omugga Fulaati.

746:7 Yer 47:2“Ani oyo ayimuka ng’omugga Kiyira,

ng’emigga egy’amazzi agabimba?

8Misiri eyimuka nga Kiyira,

ng’emigga egy’amazzi agabimba.

Agamba nti, ‘Ndisituka ne mbuutikira ensi yonna.

Ndizikiriza ebibuga n’abantu baabyo.’

946:9 a Yer 47:3 b Is 66:19Mulumbe, mmwe embalaasi!

Muzidduse n’amaanyi, mmwe abalwanyi b’oku mbalaasi!

Mukumbe mmwe abalwanyi,

abasajja b’e Kuusi ne Puuti46:9 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya abeettika engabo,

abasajja b’e Luudi abakozesa obusaale.

1046:10 a Yo 1:15 b Ma 32:42 c Zef 1:7Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,

olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.

Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,

okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.

Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,

alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.

1146:11 a Yer 8:22 b Is 47:1 c Yer 30:13; Mi 1:9“Genda e Gireyaadi ofune eddagala ery’okusaaba,

ggwe Omuwala Embeerera owa Misiri.

Naye mwongerera bwereere obujjanjabi;

temujja kuwonyezebwa.

1246:12 Is 19:4; Nak 3:8-10Amawanga gajja kuwulira obuswavu bwammwe;

emiranga gyammwe gijja kujjuza ensi.

Omulwanyi omu alitomera omulala

bombi ne bagwa.”

1346:13 Is 19:1Buno bwe bubaka Mukama Katonda bwe yayogera eri nnabbi Yeremiya ku bikwata ku kujja kwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni okulumba Misiri:

1446:14 Yer 43:8“Langirira kino mu Misiri, era okyogere e Migudooli;

kirangirire e Tapaneese ne Noofu nti,

‘Muyimirire mu bifo byammwe mwetegeke

kubanga ekitala kirya abo ababeetoolodde.’

1546:15 Is 66:15-16Lwaki abalwanyi bo bagudde wansi?

Tebasobola kuyimirira, kubanga Mukama Katonda ajja kubasindika wansi.

1646:16 a Lv 26:37 b nny 6Balyesittala emirundi egiwera;

baligwiragana.

Bagambe nti, ‘Yimuka, tuddeyo

eri abantu baffe era n’ensi zaffe,

tuve awali ekitala ky’oyo atunyigiriza.’

1746:17 Is 19:11-16Eyo gye baliwowogganira nti,

‘Falaawo kabaka w’e Misiri mulekaanyi bulekaanyi

afiiriddwa omukisa gwe.’ 

1846:18 a Yer 48:15 b Yos 19:22 c 1Bk 18:42“Nga bwe ndi omulamu,” bw’ayogera oyo Kabaka

ayitibwa Mukama Katonda ow’Eggye,

“Waliwo alijja ali nga Taboli wakati mu nsozi,

nga Kulumeeri ku nnyanja.

1946:19 Is 20:4Musibe engugu zammwe muwaŋŋanguke,

mmwe abali mu Misiri

kubanga Noofu kirifuuka matongo,

ekiryaawo omutali bantu.

2046:20 nny 24; Yer 47:2“Misiri nte nduusi nnungi nnyo,

naye kawawa avudde mu bukiikakkono azze okumulumba.

2146:21 a 2Bk 7:6 b nny 5 c Zab 37:13N’abajaasi be abapangise

bagezze ng’ennyana.

Nabo bajja kukyuka badduke,

tebaasobole kuyimirirawo,

kubanga olunaku olw’ekikangabwa lubajjira,

ekiseera kyabwe eky’okubonerezebwa kisembedde.

22Misiri alikaaba ng’omusota ogudduka,

omulabe alimulumba mu maanyi,

amujjire n’embazzi,

ng’abatemi b’emiti.

2346:23 Bal 7:12Balitema ekibira kye,” bw’ayogera Mukama Katonda,

“newaakubadde nga kikutte nnyo.

Bangi n’okusinga enzige,

tebasobola kubalika.

2446:24 Yer 1:15Muwala wa Misiri aliswazibwa,

aweebweyo mu mukono gw’abo abava mu bukiikakkono.”

2546:25 a Ez 30:14; Nak 3:8 b Yer 43:12 c Is 20:6Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, agamba nti, “Nnaatera okuleeta ekibonerezo ku Amoni katonda w’e Tebeesi, ne ku Falaawo, ne ku Misiri, ne ku bakatonda be, ne ku bakabaka be, ne ku abo abeesiga Falaawo. 2646:26 a Yer 44:30 b Ez 32:11 c Ez 29:11-16Ndibawaayo eri abo abaagala okubatta, eri Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abakungu be. Wabula oluvannyuma, Misiri eribeeramu abantu nga bwe yali edda,” bw’ayogera Mukama Katonda.

2746:27 a Is 41:13; 43:5 b Is 11:11; Yer 50:19“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;

toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.

Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,

n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.

Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,

era tewali alimutiisa.

2846:28 a Is 8:9-10 b Yer 4:27Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,

kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.

“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna

gye nabasaasaanyiza,

naye mmwe siribazikiririza ddala.

Ndibabonereza naye mu bwenkanya;

siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 46:1-28

关于埃及的预言

1耶和华把有关列国的事告诉了耶利米先知。 2犹大约西亚的儿子约雅敬执政第四年,埃及王法老尼哥的军队在幼发拉底河边的迦基米施巴比伦尼布甲尼撒击败。论到埃及,耶和华说:

3“要预备大小盾牌,

冲向战场。

4要套好战车,

骑上战马,

擦亮矛枪,

顶盔贯甲。

5可是,我看见的是什么呢?

他们惊慌后退,

勇士败逃,不敢回头,

惊恐不安。

这是耶和华说的。

6善跑者跑不掉,

强壮者逃不了,

他们扑倒在北面的幼发拉底河边。

7“那如尼罗河涨溢,

如江水奔腾的是谁呢?

8埃及尼罗河涨溢,

如江水奔腾。

她说,‘我要涨溢,淹没大地,

毁灭城邑和其中的居民。’

9战马奔驰吧!

战车疾驶吧!

勇士啊,就是那些手拿盾牌的古实人和人以及箭法娴熟的吕底亚人啊,出战吧!

10因为这是主——万军之耶和华向敌人报仇的日子。

刀剑必吞噬他们,

痛饮他们的血,

因为要在北方的幼发拉底河边向主——万军之耶和华献祭。

11埃及人啊,

基列取乳香吧!

然而,再多的良药也无法医治你们。

12你们的耻辱传遍列国,

你们的哀哭响彻大地,

你们的勇士彼此碰撞,

倒在一起。”

13论到巴比伦尼布甲尼撒要来攻打埃及的事,耶和华对耶利米先知说:

14“你要在埃及宣布,在密夺挪弗答比匿宣告,

‘你们要准备战斗,

因为刀剑要吞噬你们周围的人。’

15你们的勇士为何扑倒?

他们无法坚立,

因为耶和华击倒了他们,

16使他们跌跌绊绊,纷纷倒下。

他们说,‘起来,我们回到同胞那里,回到故乡吧,

好躲避敌人的刀剑。’

17他们在那里喊叫,

埃及王法老只会虚张声势,

他已错失良机。’”

18名叫万军之耶和华的王说:

“我凭我的永恒起誓,

将有一位要来,

他的气势如群山中的他泊山,

又像海边的迦密山。

19住在埃及的子民啊,

收拾行装准备流亡吧!

因为挪弗必被烧毁,

沦为废墟,杳无人迹。

20埃及像头肥美的母牛犊,

但从北方却来了牛虻。

21埃及的佣兵好像肥牛犊,

都转身逃之夭夭,无力抵挡,

因为他们遭难、受罚的日子到了。

22“敌军进攻的时候,

埃及必像蛇一样嘶嘶地溜走。

敌军必拿着斧头蜂拥而来,

像樵夫砍树一样攻击他们。

23埃及的人口虽然稠密如林,

敌军必像无数的蝗虫一样扫平他们。

这是耶和华说的。

24埃及人必蒙羞,

落在北方人的手中。”

25以色列的上帝——万军之耶和华说:“看啊,我要惩罚提比斯的神明亚扪埃及的其他神明、法老、首领以及依靠法老的人。 26我要把他们交在想杀他们的巴比伦尼布甲尼撒及其官长手中。然而,日后埃及必再有人居住,如往日一样。这是耶和华说的。

27“我的仆人雅各啊,不要害怕!

以色列人啊,不要惊慌!

因为我要从远方把你们救回来,

使你们从流亡之地归回。

你们必重返家园,安享太平,

无人搅扰。

28我的仆人雅各啊,不要害怕,

因为我与你同在。

我曾使你流亡到列国,

我必彻底毁灭列国,

但不会彻底毁灭你,

也不会饶过你,

我必公正地惩治你。

这是耶和华说的。”