Yeremiya 47 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 47:1-7

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

147:1 Lub 10:19; Am 1:6; Zek 9:5-7Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:

247:2 Is 8:7; 14:31Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,

galifuuka omugga ogwanjaala.

Galyanjaala ku nsi

ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.

Abantu balikaaba;

bonna abali mu nsi baliwowoggana.

3Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka

n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe

era n’okuwuuma kwa nnamuziga,

bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,

emikono gyabwe gya kulebera.

447:4 a Am 1:9-10; Zek 9:2-4 b Yer 25:22 c Lub 10:14; Yo 3:4 d Ma 2:23Kubanga olunaku lutuuse

okuzikiriza Abafirisuuti bonna,

n’okusalako bonna abandisigaddewo

abandiyambye Ttuulo ne Sidoni.

Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti

abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.

547:5 a Yer 41:5; Mi 1:16 b Yer 25:20Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.

Asukulooni alisirisibwa.

Ggwe eyasigala mu kiwonvu,

olituusa ddi okwesalaasala?

647:6 Yer 12:12“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,

obudde bunaatuuka ddi owummule?

Ddayo mu kiraato kyo

sirika teweenyeenya.’

7Naye kiyinza kitya okuwummula

nga Mukama y’akiragidde,

ng’akiragidde

okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 47:1-7

关于非利士的预言

1在法老攻打迦萨之前,耶和华告诉了耶利米先知有关非利士人的事。

2耶和华说:

“看啊,大水将从北方涨溢,

形成一道洪流,

淹没大地和地上的一切,

吞噬城邑和其中的居民。

人们必呼喊,

地上的居民必哀哭。

3一听见马蹄嗒嗒、

战车隆隆、车轮滚滚的声音,

做父亲的就吓得手脚发软,

无力照顾儿女。

4因为毁灭所有非利士人的日子到了,

铲除泰尔西顿剩余帮手的日子到了。

耶和华要灭绝迦斐托岛剩余的非利士人。

5迦萨一片荒凉,

亚实基伦沦为废墟。

谷中的余民啊!

你们要割伤身体到何时呢?

6你们大喊,‘耶和华的刀啊,

你何时才停下来呢?

求你入鞘吧!停下来吧!’

7但耶和华已命令它攻击亚实基伦和沿海一带,

它怎能停下来呢?”