Yeremiya 40 – LCB & CARSA

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 40:1-16

1Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, nga Nebuzaladaani omuduumizi w’abambowa amusumuludde e Laama, bwe yamusanga ng’asibiddwa mu masamba n’abasibe abalala bonna ab’e Yerusaalemi ne Yuda abaali batwalibwa e Babulooni mu busibe. 240:2 Yer 50:7Omuduumizi w’abaserikale yatwala Yeremiya n’amugamba nti, “Mukama Katonda wo, ye yaleeta ekivume kino ku kifo kino. 340:3 a Dan 9:11 b Ma 29:24-28; Bar 2:5-9Kaakano Mukama akireese era akikoze nga bwe yasuubiza. Bino byonna byabaawo kubanga abantu bo baasobya eri Mukama ne batamugondera. 440:4 Lub 13:9; Yer 39:11-12Naye leero nkusumulula okuva mu njegere ez’oku mikono gyo. Jjangu tugende ffembi e Babulooni obanga oyagala, nnaakulabirira; naye bw’oba nga toyagala, tojja. Laba, ensi yonna eri mu maaso go, genda yonna gy’oyagala.” 540:5 a 2Bk 25:22 b Yer 39:14Wabula Yeremiya nga tannaba kukyuka kugenda, Nebuzaladaani n’ayongerako nti, “Ddayo eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani, kabaka w’e Babulooni gw’afudde Gavana w’ebibuga bya Yuda, obeere naye mu bantu, oba genda yonna gy’osiima okubeera.” Awo omuduumizi w’abambowa n’amuwa ebyokulya n’ekirabo n’amuleka.

640:6 Bal 20:1; 1Sa 7:5-17Awo Yeremiya n’agenda ewa Gedaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa n’abeera naye n’abantu abaaliyo abaali balekeddwa mu nsi eyo.

Gedaliya Attibwa

740:7 Yer 39:10Awo abakulu b’eggye lya Yuda bonna n’abasajja baabwe abaali bakyali mu byalo ne bawulira nti, Kabaka w’e Babulooni alonze Gedaliya omwana wa Akikamu okuba Gavana w’ensi era ng’amuwadde obuvunaanyizibwa bw’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana, n’abaali basembayo obwavu mu nsi abataatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. 840:8 a nny 13 b nny 14; Yer 41:1, 2 c 2Sa 23:28 d Ma 3:14Awo Isimayiri mutabani wa Nesaniya, ne Yokanaani ne Yonasaani batabani ba Kaleya, ne Seraya mutabani wa Tanukumesi, ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w’omu Maakasi, ne bagenda n’abasajja baabwe eri Gedaliya e Mizupa. 940:9 a Yer 27:11 b Yer 38:20Awo Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n’abalayirira bo n’abasajja baabwe ng’ayogera nti, “Temutya kuweereza Bakaludaaya. Mubeere mu nsi, muweereze kabaka w’e Babulooni munaaba bulungi. 1040:10 a nny 6 b Ma 1:39Nze kennyini nzija kusigala e Mizupa okubakiikirira eri Abakaludaaya abajja gye tuli, naye mmwe mukungule emizabbibu, n’ebibala eby’omu kyeya, mukuŋŋaanye n’omuzigo mubiteeke mu materekero gammwe, mubeere mu bibuga bye mufuga.”

1140:11 Kbl 25:1Awo Abayudaaya bonna mu Mowaabu, ne Amoni, ne Edomu n’ensi endala zonna bwe baawulira nti, Kabaka w’e Babulooni yali aleseeyo abantu mu Yuda era nga ataddewo Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani okuba Gavana waabwe, 1240:12 Yer 43:5bonna ne bakomawo mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bava mu nsi zonna gye baali basaasaanidde. Ne bakungula ebirime mu bungi, emizabbibu n’ebibala eby’omu kyeya.

1340:13 nny 8Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abakulu bonna ab’ebibinja bya magye abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa. 1440:14 2Sa 10:1-19; Yer 25:21; 41:10Ne bamugamba nti, “Tomanyi nga Baalisi kabaka w’abaana ba Amoni atumye Isimayiri mutabani wa Nesaniya okukutta?” Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu teyakikkiriza.

15Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng’agamba nti, “Ka ŋŋende nkwegayiridde nzite Isimayiri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya. Lwaki akutta, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanidde gy’oli basaasaane, ekitundu kya Yuda ekifisseewo nakyo kizikirire?”

16Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n’agamba Yokanaani mutabani wa Kaleya nti, “Tokola kintu bwe kityo! Ky’oyogera ku Isimayiri si kituufu.”

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Иеремия 40:1-16

Иеремия освобождён

1Слово Вечного, которое было к Иеремии после того, как Невузарадан, начальник царской охраны, освободил его в Раме. Тот нашёл Иеремию, закованного в цепи, среди всех пленников из Иерусалима и Иудеи, которых угоняли в плен в Вавилон. 2Разыскав Иеремию, начальник охраны сказал ему:

– Вечный, твой Бог, сулил такую беду этой стране. 3А ныне она разразилась: как Вечный говорил, так Он и сделал. Это случилось потому, что вы грешили против Вечного и не слушались Его. 4Но сегодня я освобождаю тебя от цепей, что на твоих руках. Если хочешь, пойдём со мной в Вавилон, и я позабочусь о тебе, а не хочешь, так и не ходи. Смотри, вся земля перед тобой: ступай, куда хочешь.

5Не успел Иеремия отойти, как Невузарадан добавил:

– Возвращайся к Гедалии, сыну Ахикама, внуку Шафана, которого царь Вавилона назначил начальником над городами Иудеи, и живи у него среди народа. Или ступай, куда хочешь.

Затем начальник охраны дал ему припасов в дорогу и подарок и отпустил его. 6И Иеремия пошёл к Гедалии, сыну Ахикама, в Мицпу, и поселился там у него среди народа, который был оставлен в стране.

Убийство Гедалии

(4 Цар. 25:22-26)

7Когда все военачальники и их люди, оставшиеся в этой стране, услышали, что царь Вавилона назначил Гедалию, сына Ахикама, наместником над страной, и что ему поручили заботы о мужчинах, женщинах и детях, которые были самыми бедными в стране и не были угнаны в плен в Вавилон, 8они пришли к Гедалии в Мицпу. Это были Исмаил, сын Нетании, Иоханан и Ионафан, сыновья Кареаха, Серая, сын Танхумета, сыновья Ефая из Нетофы, Иазания, сын маахитянина, со своими людьми. 9Гедалия, сын Ахикама, внук Шафана, поклялся им, чтобы успокоить их и их людей:

– Не бойтесь служить вавилонянам, – сказал он. – Селитесь в земле, служите царю Вавилона, и вам будет хорошо. 10Сам я буду жить в Мицпе, чтобы представлять вас перед вавилонянами, которые будут приходить к нам, а вы собирайте и запасайте вино, летние плоды и оливковое масло в кувшины и живите себе в городах, которые заняли.

11Когда все иудеи в Моаве, Аммоне, Эдоме и во всех других странах услышали, что вавилонский царь оставил в Иудее часть народа и назначил Гедалию, сына Ахикама, внука Шафана, их наместником, 12все они вернулись в землю Иудеи к Гедалии, в Мицпу, из всех стран, куда были изгнаны. Они собрали в изобилии вина и летних плодов.

13Иоханан, сын Кареаха, и все военачальники, всё ещё пребывавшие в поле, явились к Гедалии в Мицпу 14и сказали ему:

– Неужели ты не знаешь, что Баалис, царь аммонитян, подослал Исмаила, сына Нетании, чтобы убить тебя?

Но Гедалия, сын Ахикама, не поверил им. 15Тогда Иоханан, сын Кареаха, тайно сказал Гедалии в Мицпе:

– Давай я пойду и убью Исмаила, сына Нетании, так, что никто об этом не узнает. Зачем позволять ему лишать тебя жизни, чтобы все иудеи, которые собрались вокруг тебя, были рассеяны, чтобы оставшиеся в Иудее погибли?!

16Но Гедалия, сын Ахикама, сказал Иоханану, сыну Кареаха:

– Не делай этого! То, что ты говоришь об Исмаиле, – неправда.