Yeremiya 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 14:1-22

Ekyeya, Enjala, n’Ekitala

1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.

214:2 Is 3:26; Yer 8:21“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,

bakaabira ensi,

era omulanga

gusimbuse mu Yerusaalemi.

314:3 a 2Bk 18:31; Yob 6:19-20 b 2Sa 15:30Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;

bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,

bakomawo n’ebintu ebikalu;

ensonyi nga zibakutte

n’essuubi nga libaweddemu;

babikka amaaso gaabwe.

414:4 Yer 3:3Ettaka lyatise

kubanga enkuba tekyatonnya,

abalimi baweddemu amaanyi,

babikka ku mitwe gyabwe.

514:5 Is 15:6N’empeewo ku ttale ezaala

n’ereka awo omwana gwayo

kubanga tewali muddo.

614:6 Yob 39:5-6; Yer 2:24N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalu

nga ziwejjawejja ng’ebibe,

amaaso gaazo nga tegalaba bulungi

kubanga tezirina kye zirya.”

714:7 a Kos 5:5 b Yer 5:6 c Yer 8:14Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,

baako ky’okola olw’erinnya lyo.

Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,

tukwonoonye nnyo.

814:8 Yer 17:13Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,

Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,

lwaki oli ng’omuyise mu nsi,

ng’omutambuze asula ekiro ekimu?

914:9 a Is 50:2 b Yer 8:19 c Is 63:19; Yer 15:16Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,

ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?

Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,

era tuyitibwa linnya lyo.

Totuleka.

1014:10 a Zab 119:101; Yer 2:25 b Yer 6:20; Am 5:22 c Kos 9:9 d Yer 44:21-23; Kos 8:13Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,

“Baagala nnyo okubula,

tebaziyiza bigere byabwe.

Noolwekyo Mukama tabakkiriza

era kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabwe

era ababonereze olw’ebibi byabwe.”

1114:11 Kuv 32:10Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi. 1214:12 a Is 1:15; Yer 11:11 b Yer 7:21 c Yer 6:20Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”

1314:13 Yer 5:12Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”

1414:14 a Yer 27:14 b Yer 23:21, 32 c Yer 23:16 d Ez 12:24Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe. 1514:15 a Ez 14:9 b Yer 5:12-13Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala. 1614:16 a Zab 79:3 b Yer 7:33 c Nge 1:31N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.

1714:17 a Yer 9:1 b Yer 8:21“Kino ky’oba obagamba nti,

“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amaziga

emisana n’ekiro awatali kukoma;

kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,

bafunye ekiwundu ekinene,

ekintu eky’amaanyi.

1814:18 Ez 7:15Bwe ŋŋenda mu byalo

ndaba abafumitiddwa n’ekitala!

Bwe ŋŋenda mu kibuga

ndaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.

Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwanga

kyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”

1914:19 a Yer 7:29 b Yer 30:12-13 c Yer 8:15Yuda ogigaanidde ddala?

Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?

Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?

Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,

ekiseera eky’okuwonyezebwa

naye laba tufunye bulabe bwereere.

2014:20 Dan 9:7-8Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffe

era n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,

kubanga ddala twayonoona gy’oli.

2114:21 a nny 7 b Yer 3:17Olw’erinnya lyo totugoba,

tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.

Jjukira endagaano gye wakola naffe,

togimenya, gituukirize.

2214:22 Zab 135:7Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?

Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?

Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.

Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,

kubanga ggwe okola bino byonna.