Yuda Wakuzikirira
115:1 a Kuv 32:11; Kbl 14:13-20 b 1Sa 7:9 c Yer 7:16; Ez 14:14, 20 d 2Bk 17:20Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Musa ne Samwiri ne bwe bandiyimiridde okunneegayirira, sandisonyiye bantu bano. Bagobe okuva mu maaso gange, banviire. 215:2 a Yer 43:11 b Yer 14:12 c Kub 13:10Era bwe bakubuuza nti, ‘Tunaagenda wa?’
“Bagambe nti, ‘Kino Mukama kyagamba nti,
Ab’okuttibwa bagenda kuttibwa,
n’ab’ekitala bafe ekitala, n’ab’enjala bafe enjala,
n’ab’okuwambibwa bawambibwe.’
315:3 a Lv 26:16 b Ma 28:26 c Lv 26:22; Ez 14:21“Ndiweereza engeri nnya ez’okubazikiriza,” bw’ayogera Mukama. “Ekitala kya kufumita, embwa zikulule, ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko zirye n’okuzikiriza. 415:4 a Yer 24:9; 29:18 b Ma 28:25 c 2Bk 21:2; 23:26-27Era ndibawaayo babeetamwe eruuyi n’eruuyi mu bwakabaka bwonna obw’omu nsi olw’ekyo Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda kye yakola mu Yerusaalemi.
515:5 Is 51:19; Yer 13:14; 21:7; Nak 3:7“Ani alikukwatirwa ekisa ggwe Yerusaalemi?
Oba ani alikukungubagira?
Oba ani alikyama okubuuza ebikufaako?
615:6 a Yer 6:19; 7:24 b Zef 1:4Mwanneegaana,” bw’ayogera Mukama.
“Temutya kudda nnyuma.
Noolwekyo mbagololeddeko omukono gwange
ne mbazikiriza.
Sikyasobola
kukukwatirwa kisa.
715:7 Yer 18:21Era ndibakuŋŋunta n’ekitiiyo eky’amannyo
mu miryango gy’ebibuga eby’omu nsi.
Ndizikiriza abantu bange ne mbamalawo
kubanga tebaaleka makubo gaabwe.
815:8 Yer 6:4Bannamwandu beeyongedde obungi
okusinga n’omusenyu gw’ennyanja.
Mu ttuntu mbaleetedde omuzikiriza
amalewo ababazaalira abalenzi abato.
Mbakubiddewo
obubalagaze n’entiisa.
915:9 a 1Sa 2:5 b Yer 21:7Eyazaala omusanvu ayongobedde,
awejjawejja.
Enjuba ye egudde nga bukyali misana,
amaanyi gamuwedde, ensonyi zimukutte, awuunze, awuubadde.
N’abo abawonyeewo ndi wa kubasogga ekitala,
mu maaso ga balabe baabwe,”
bwayogera Mukama.
1015:10 a Yob 3:1 b Yer 1:19 c Lv 25:36Zinsanze, mmange lwaki wanzaala
omuntu eggwanga lyonna gwe lirwanyisa ne likuluusanya?
Siwolanga wadde okweyazika,
kyokka buli muntu ankolimira.
1115:11 a Yer 40:4 b Yer 21:1-2; 37:3; 42:1-3Mukama agamba nti,
“Ddala ndikununula olw’ekigendererwa ekirungi,
ddala ndireetera abalabe bo okukwegayirira,
mu biseera eby’okuluma obujiji, mu biseera eby’akabi.
1215:12 Yer 28:14“Omusajja ayinza okumenya ekikomo
oba ekyuma eky’omu bukiikakkono?
1315:13 a Zab 44:12 b Yer 17:3“Ndiwaayo eby’obugagga byo n’ebintu byo eby’omuwendo ennyo
binyagibwe awatali kusasulwa,
olw’ebibi byo byonna
ebikoleddwa mu ggwanga lyonna.
1415:14 a Ma 28:36; Yer 16:13 b Ma 32:22; Zab 21:9Ndibafuula abasibe b’abalabe bammwe
mu ggwanga lye mutamanyi,
kubanga obusungu bwange bwakukoleeza omuliro
ogunaabookya gubamalewo.”
Yeremiya Yeekaabirako
1515:15 a Yer 12:3 b Zab 69:7-9Ayi Mukama ggwe omanyi byonna.
Nzijukira ondabirire.
Ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya.
Mu kugumiikiriza kwo okunene tontwala.
Lowooza ku ngeri gye mbonyeebonye ku lulwo.
1615:16 a Ez 3:3; Kub 10:10 b Zab 119:72, 103 c Yer 14:9Ebigambo byo bwe byanzijira, ne mbirya,
byali ssanyu era okujaguza kw’omutima gwange.
Kubanga mpitibwa linnya lyo,
Ayi Mukama Katonda ow’Eggye.
1715:17 Zab 1:1; 26:4-5; Yer 16:8Situulangako mu kuŋŋaaniro ly’abo ab’ebinyumu
era sibeerangako mu biduula nabo.
Natuulanga nzekka kubanga naliko omukono gwo,
era wandeetera okwekyawa.
1815:18 a Yer 30:15; Mi 1:9 b Yob 6:15Lwaki okulumwa kwange tekukoma
era n’ekiwundu kyange ne kitawona?
Onomberera ng’akagga akalimbalimba
ng’ensulo ekalira?
1915:19 Zek 3:7Noolwekyo kino Mukama ky’agamba nti,
“Bwe muneenenya,
ndibakomyawo musobole okumpeereza;
bwe mulyogera ebigambo ebisaana so si ebitasaanidde,
mulibeera boogezi bange.
Leka abantu bano be baba bajja gy’oli,
so si ggwe okugenda gye bali.
2015:20 Yer 20:11; Ez 3:8Ndikufuula ekisenge eri abantu bano,
ekisenge ekinywezebbwa eky’ekikomo.
Balikulwanyisa
naye tebalikuwangula,
kubanga ndi naawe,
okukununula, n’okukulokola,”
bw’ayogera Mukama.
2115:21 a Yer 50:34 b Lub 48:16“Ndikununula okuva mu mukono gw’abakozi b’ebibi
era n’enkuggya mu mukono gw’abasajja abakambwe,” bw’ayogera Mukama.