Olubereberye 36 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 36:1-43

Ezadde lya Esawu

136:1 Lub 25:30Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, ye Edomu.

236:2 a Lub 28:8-9 b Lub 26:34 c nny 25Esawu yawasa abakazi ng’abaggya mu Bakanani: Yawasa Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana mutabani wa Zibyoni Omukiivi, 3ne Basimansi muwala wa Isimayiri muganda wa Nebayoosi.

436:4 1By 1:35Ada n’azaalira Esawu Erifaazi, ne Basimansi n’azaala Leweri; 5ne Okolibama n’azaala Yewusi, ne Yalamu ne Koola; abo be batabani ba Esawu abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani.

636:6 Lub 12:5Awo Esawu n’atwala bakazi be, ne batabani be, ne bawala be n’abantu be bonna, n’ente ze, awamu n’ebintu bye byonna bye yafuna mu nsi ya Kanani; n’agenda mu nsi ey’ewala ku ya muganda we Yakobo. 736:7 Lub 13:6; 17:8; 28:4Kubanga obugagga bwabwe bwali bungi nnyo nga tebukyabasobozesa kubeera wamu n’ensi mwe baali ng’ebafundiridde olw’obungi bw’ebisolo byabwe. 836:8 a Ma 2:4 b Lub 32:3Olwo ye Esawu, era ye Edomu, n’abeera mu nsi ey’ensozi za Seyiri.

9Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Esawu, kitaawe w’Abaedomu abaamuzaalirwa ng’ali mu nsi y’ensozi za Seyiri.

10Batabani be baali:

Erifaazi eyamuzaalirwa Ada, ne Leweri eyamuzaalirwa Basimansi.

1136:11 a nny 15-16; Yob 2:11 b Am 1:12; Kbk 3:3Batabani ba Erifaazi baali

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Gatamu ne Kenazi.

1236:12 a Kuv 17:8, 16; Kbl 24:20; 1Sa 15:2 b nny 16Timuna yali mukazi wa Erifaazi, mutabani wa Esawu era yamuzaalira Ameleki. Abo be batabani ba Ada mukazi wa Esawu.

13Bano be batabani ba Leweri:

Nakasi, ne Zeera, ne Saama ne Mizza. Abo be bazzukulu ba Esawu ne mukazi we Basemasi.

14N’abaana ba Okolibama muwala wa Ana, muzzukulu wa Zibyoni, baali

Yewusi, ne Yalamu ne Koola, be yazaalira bba Esawu.

1536:15 a Kuv 15:15 b Yob 2:11Bano be bakulu b’enda ya Esawu:

Enda ya Erifaazi omubereberye wa Esawu:

Temani, ne Omali, ne Zefo, ne Kenazi, 1636:16 nny 12ne Koola, ne Gatamu ne Amaleki abaali mu nsi ya Edomu be batabani ba Ada.

1736:17 1By 1:37Enda ya Leweri mutabani wa Esawu:

Nakasi, ne Zeera, ne Samma ne Mizza nabo baali mu nsi ya Edomu, era baava mu Basimansi, mukazi wa Esawu.

18Abaazaalibwa Okolibama mukazi wa Esawu, muwala wa Ana:

Yewusi, ne Yalamu ne Koola.

1936:19 Lub 25:30Abo bonna be baava mu Esawu, ye Edomu, era be bakulu b’enda zaabwe.

2036:20 Lub 14:6; Ma 2:12, 22; 1By 1:38Batabani ba Seyiri Omukooli abaabeeranga mu Edomu be ba

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 21ne Disoni, ne Ezeri ne Disani. Abo be baava mu Bakooli, be baana ba Seyiri abaali mu nsi ya Edomu.

22Batabani ba Lotani baali

Kooli, ne Kemamu, era Lotani yalina mwannyina nga ye Timuna.

23Batabani ba Sobali be ba

Aluvani, ne Manakasi, ne Eberi, ne Sefo ne Onamu.

24Aba Zibyoni, be ba

Aya ne Ana; ono ye Ana eyavumbula ensulo z’amazzi agookya, ezaali mu ddungu; bwe yali ng’alunda endogoyi za kitaawe Zibyoni.

25Abaana ba Ana be ba

Disoni ne Okolibama omuwala.

26Bo batabani ba Disoni be ba

Kemudaani, ne Esubani, ne Isulani ne Kerani.

27Aba Ezeri be ba

Birani, ne Zaavani ne Akani.

28Ate aba Disani be ba

Uzi ne Alani.

29Bano be bakulu b’enda za Bakooli:

Lotani, ne Sobali, ne Zibyoni, ne Ana, 30ne Disoni, ne Ezeri ne Disani.

Bano be bakulu b’enda za Bakooli ng’ebika byabwe bwe byali, mu nsi ya Seyiri.

Bakabaka ba Edomu

3136:31 Lub 17:6; 1By 1:43Bakabaka abafuga ensi ya Edomu, nga tewannaba na kabaka afuga Isirayiri be bano:

32Bera mutabani wa Byori yafuga Edomu ng’asinziira mu kibuga kye Dinukaba.

3336:33 Yer 49:13, 22Bera bwe yafa Yobabu mutabani wa Zeera ow’e Bozula n’afuga mu kifo kye.

3436:34 Ez 25:13Yobabu bwe yafa Kusamu Omutemani n’afuga mu kifo kye.

3536:35 Lub 19:37; Kbl 22:1; Ma 1:5; Lus 1:1, 6Ne Kusamu bwe yafa, Kadadi mutabani wa Bedadi, eyawangula Midiyaani, mu nsi ya Mowaabu n’afuga mu kifo kye; ng’afugira mu kibuga ky’e Avisi.

36Ate Kadadi bwe yafa, Samula ow’e Masuleka n’afuga mu kifo kye.

37Samula bwe yafa Sawuli ow’e Lekobosi, ku mugga Fulaati n’afuga mu kifo kye.

38Sawuli bwe yafa, Baalukanani mutabani wa Akubooli n’afuga mu kifo kye.

39Ate Balukanani mutabani wa Akubooli bwe yafa, Kadali n’afuga mu kifo kye, ng’ali mu kibuga kye Pawu; mukazi we yayitibwanga Meketaberu muwala wa Mezakabu ne Matirida.

40Bano be bakulu b’enda zaabo abaava mu Esawu, nga bwe baali mu bifo byabwe:

Timuna, ne Aluva, ne Yesesi,

41ne Okolibama, ne Era, ne Pinoni,

42ne Kenazi, ne Temani, ne Mibuza,

43ne Magidiyeri, ne Iramu.

Abo be bakulu b’enda ya Edomu, ye Esawu kitaawe wa Edomu, okusinziira mu bifo mwe baali mu nsi y’obutaka bwabwe.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 36:1-43

以掃的後代

1以下是以掃的後代,即以東的後代。

2以掃娶了迦南女子為妻,她們是以倫的女兒亞大希未祭便的孫女、亞拿的女兒阿何利巴瑪3他還娶了以實瑪利的女兒、尼拜約的妹妹巴實抹4亞大以掃生了以利法巴實抹生了流珥5阿何利巴瑪生了耶烏施雅蘭可拉。他們都是以掃的兒子,是在迦南出生的。

6以掃帶著他在迦南所得的妻子、兒女和家中所有的人員,以及所有的牲畜和財產離開雅各,遷往別處。 7以掃雅各兩家的財產和牲畜太多,那地方不夠他們住, 8於是以掃,即以東,搬到了西珥山居住。

9以掃西珥山區以東人的祖先,以下是他的子孫。

10以掃的妻子亞大生了以利法巴實抹生了流珥11以利法的兒子是提幔阿抹洗玻迦坦基納斯12以利法的妾亭納為他生了亞瑪力,他們都是以掃妻子亞大的子孫。 13流珥的兒子是拿哈謝拉沙瑪米撒,他們都是以掃妻子巴實抹的子孫。 14以掃的妻子阿何利巴瑪祭便的孫女、亞拿的女兒,她給以掃生了耶烏施雅蘭可拉

15以下是以掃子孫中的族長。

以掃的長子以利法的子孫中有提幔族長、阿抹族長、洗玻族長、基納斯族長、 16可拉族長、迦坦族長、亞瑪力族長,他們都是以利法以東的後代,即亞大的子孫。 17以掃的兒子流珥的子孫中有拿哈族長、謝拉族長、沙瑪族長、米撒族長,他們都是流珥以東的後代,即以掃的妻子巴實抹的子孫。 18以掃的妻子阿何利巴瑪的子孫中有耶烏施族長、雅蘭族長和可拉族長。這些都是以掃的妻子、亞拿的女兒阿何利巴瑪子孫中的族長。

19這些族長都是以掃的子孫,以掃又名以東

20以下是住在以東境內何利西珥的子孫:羅坍朔巴祭便亞拿21底順以察底珊。他們都是以東境內何利西珥的子孫中的族長。

22羅坍的兒子是何利希幔羅坍的妹妹是亭納23朔巴的兒子是亞勒文瑪拿轄以巴錄示玻阿南24祭便的兒子是亞雅亞拿,在曠野為父親放驢時發現溫泉的就是亞拿25亞拿的兒子名叫底順、女兒名叫阿何利巴瑪26底順的兒子是欣但伊是班益蘭基蘭27以察的兒子是辟罕撒番亞干28底珊的兒子是烏斯亞蘭

29以下是何利人的族長:羅坍族長、朔巴族長、祭便族長、亞拿族長、 30底順族長、以察族長、底珊族長。他們是西珥地區何利人各宗族的族長。

31以色列人還沒有君王統治之前,在以東做王的人如下: 32比珥的兒子比拉以東做王,定都亭哈巴33比拉死後,波斯拉謝拉的兒子約巴繼位。 34約巴死後,提幔地區的戶珊繼位。 35戶珊死後,比達之子哈達繼位,定都亞未得,他曾在摩押地區擊敗米甸人。 36哈達死後,瑪士利加桑拉繼位。 37桑拉死後,大河邊的利河伯掃羅繼位。 38掃羅死後,亞革波的兒子巴勒·哈南繼位。 39巴勒·哈南死後,哈達繼位,定都巴烏,他的妻子名叫米希她別,是米·薩合的孫女、瑪特列的女兒。

40以下是按宗族在各地區做族長的以掃的後代:亭納亞勒瓦耶帖41阿何利巴瑪以拉比嫩42基納斯提幔米比薩43瑪基疊以蘭。這些人在所住的以東各地做族長。以掃以東人的始祖。