Okuva 5 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 5:1-23

Falaawo Aziyiza Abayisirayiri Okuva mu Misiri

15:1 Kuv 3:18Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”

25:2 a 2Bk 18:35; Yob 21:15 b Kuv 3:19Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”

35:3 Kuv 3:18Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe;5:3 Abamisiri baatwalanga ensolo ng’ente okuba ensolo ezawongebwa, era ekyo kye kyagendererwa mu kugenda olugendo okuva awaali Abamisiri, okuwaayo ssaddaaka (laba 8:22) aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.”

45:4 Kuv 1:11Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.” 55:5 Kuv 1:7, 9Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”

6Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu5:6 Abagabi b’emirimu baali Bamisiri, ate nga bannampala b’abantu Bayisirayiri. nti, 7“Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.5:7 Amatoffaali gakazibwanga mu musana, essubi nga likozesebwa okwongera okugagumya. Mu biseera ebyamakungula, ebitundu ebya waggulu empeke kwe zibeera bye byatemebwanga, ebikolo ebya wansi ne birekebwa mu nnimiro. Ebikolo ebyo ebya wansi, ebyasigalanga mu nnimiro, Falaawo bye yabagamba bateme okubumba amatoffaali. 8Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”

Abakozesa Bongera ku Mirimu gy’Abayisirayiri

10Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. 11Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ” 12Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi. 13Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.” 145:14 Is 10:24Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”

15Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti? 16Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 175:17 nny 8Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”

19Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” 20Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde. 215:21 a Lub 34:30 b Kuv 14:11Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”

Katonda Asuubiza Okununula Abayisirayiri

225:22 Kbl 11:11Awo Musa n’akomawo awali Mukama, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma? 235:23 Yer 4:10Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 5:1-23

摩西和亚伦见法老

1之后,摩西亚伦去见法老,对他说:“以色列的上帝耶和华说,‘放我的子民走,让他们到旷野去为我守节期。’” 2法老说:“耶和华是谁?我凭什么要听从祂,放走以色列人?我不认识祂,也不会让以色列人离开!” 3摩西亚伦说:“希伯来人的上帝向我们显现了。求你容我们走三天的路程,到旷野去向我们的上帝耶和华献祭,请你让我们去吧,免得祂用刀剑、瘟疫来攻击我们。” 4埃及王说:“摩西亚伦,你们竟敢煽动百姓旷工!快回去工作!” 5法老又说:“这地方的以色列人如此众多,你竟叫他们停止工作!” 6当天,法老就对埃及监工和以色列人的工头下令: 7“从今天开始,不许再供应草给他们制砖,叫他们自己去捡, 8但上交的砖的数量要和往常一样,一块也不可少。因为他们懒惰,所以才嚷着要去给他们的上帝献祭。 9你们要加重他们的工作,他们就无暇再听那些蛊惑人心的话了!”

10于是,那些监工和工头就出来向百姓宣布:“法老下令不再供应草给你们制砖。 11你们要自己设法去找,但上交的砖一块也不能少。” 12百姓只好在埃及全国收集碎禾秸当草用。 13监工催逼他们说:“你们要完成每天规定的数目,像从前有草时一样。” 14他们又鞭打以色列人的工头,说:“你们这两天为什么没有像从前一样完成规定的砖数?”

15以色列人的工头来见法老,向他哀求说:“你为什么要这样对待仆人们? 16监工不给仆人们草,却命令我们做砖,还打我们,其实是你百姓的错。” 17法老说:“你们是懒惰的人,懒惰的人!所以才嚷着要去给耶和华献祭。 18回去继续工作!我不再供应草给你们,但砖要如数交齐。” 19以色列人的工头听见每天做的砖数不可减少,就知道情况不妙。 20他们从法老那里出来的时候,遇见摩西亚伦站在外面等候, 21便埋怨二人说:“愿耶和华鉴察、惩罚你们!你们使我们在法老和他的臣仆面前有了臭名,使他们有借口来杀我们。”

22摩西回到耶和华那里说:“主啊!你为什么这样苦待你的子民呢?为什么要派我去呢? 23自从我去法老那里奉你的名发言后,他更加虐待你的子民,你并没有拯救他们。”