Okuva 4 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 4:1-31

Mukama Awa Musa Obuyinza Okukola Ebyamagero

14:1 Kuv 3:18; 6:30Musa n’addamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”

24:2 nny 17, 20Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?”

N’addamu nti, “Muggo.”

3Mukama Katonda n’amugamba nti, “Gusuule wansi.”

Musa n’agusuula wansi; ne gufuuka omusota, n’agudduka! 4Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. 54:5 Kuv 19:9Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”

64:6 Kbl 12:10; 2Bk 5:1, 27Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.

74:7 Kbl 12:13-15; Ma 32:39; 2Bk 5:14; Mat 8:3Ate n’amugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa n’azzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ng’omubiri gwe ogwa bulijjo.

8Mukama n’agamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri. 94:9 Kuv 7:17-21Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga n’ogayiwa ku lukalu; amazzi ago g’olisena mu mugga, galifuuka omusaayi ng’ogayiye ku lukalu.”

104:10 Kuv 6:12; Yer 1:6Awo Musa n’agamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda n’edda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.” 114:11 Zab 94:9; Mat 11:5Mukama n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama? 124:12 Is 50:4; Yer 1:9; Mat 10:19-20; Mak 13:11; Luk 12:12; 21:14-15Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ng’oyogera, era nnaakuyigirizanga by’onooyogeranga.”

13Naye Musa n’agamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” 144:14 nny 27Mukama n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe. 154:15 Kbl 23:5, 12, 16Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga ky’onoomugambanga, nange n’abayambanga mwembi, ne mbayigiriza eky’okukola. 164:16 Kuv 7:1-2Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga. 174:17 a nny 2 b Kuv 7:9-21Era oligenda n’omuggo guno, ng’ogukutte mu mukono gwo; gw’onookozesanga ebyamagero.”

18Awo Musa n’addayo eri Yesero, kitaawe wa mukazi we n’amugamba nti, “Nkusaba onzikirize ŋŋende ndabe obanga baganda bange e Misiri bakyali balamu.” Yesero n’addamu Musa nti, “Genda mirembe.”

Musa Addayoko e Misiri

194:19 a Kuv 2:15 b Kuv 2:23Awo Mukama n’ayogera ne Musa e Midiyaani nti, “Genda, oddeyo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta, baafa.” 204:20 Kuv 17:9; Kbl 20:8-9, 11Musa n’addira mukyala we n’abaana be, n’abassa ku ndogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi y’e Misiri, ng’akutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.

214:21 a Kuv 3:19, 20 b Kuv 7:3, 13; 9:12, 35; 14:4, 8; Ma 2:30; Is 63:17; Yk 12:40; Bar 9:18Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda. 224:22 Is 63:16; 64:8; Yer 31:9; Kos 11:1; Bar 9:4Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye; 234:23 a Kuv 5:1; 7:16 b Kuv 11:5; 12:12, 29era nkulagira oleke omwana wange agende ampeereze; naye singa ogaana okumuleka okugenda, laba, nditta mutabani wo omubereberye.’ ”

244:24 Kbl 22:22Awo bwe baali bagenda nga batuuse ku nnyumba y’abagenyi, Mukama n’amulabikira, n’ayagala okumutta. 254:25 Lub 17:14; Yos 5:2, 3Naye Zipola n’addira ejjinja eryogi, n’akomola omwana we, ekikuta n’akisuula ku bigere bya Musa, n’amugamba nti, “Oli baze wa musaayi!” 26Awo Mukama n’amuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ng’osaabye omusaayi!”

274:27 a Kuv 3:1 b nny 14Awo Mukama n’agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu, osisinkane Musa. N’agenda, n’amusanga ku lusozi lwa Katonda, ne bagwaŋŋana mu bifuba.” 284:28 nny 8-9, 16Musa n’abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yali amutumye okwogera, n’obubonero bwonna obw’ebyamagero bwe yamulagira okukola.

294:29 Kuv 3:16Musa ne Alooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulu abakulembeze b’abaana ba Isirayiri; 30Alooni n’abategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era n’abakolera n’obubonero, 314:31 a nny 8; Kuv 3:18 b Kuv 2:25ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Mukama yakyalira abaana ba Isirayiri, n’alaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 4:1-31

上帝赐摩西能力

1摩西回答说:“他们不会相信我或听我的话,他们会说,‘耶和华根本没有向你显现。’” 2耶和华对摩西说:“你手里拿的是什么?”摩西说:“是一根手杖。” 3耶和华说:“把它丢在地上!”于是,摩西把杖丢在地上,杖变成了一条蛇。摩西连忙跑开。 4耶和华说:“你伸手抓住它的尾巴!”摩西就伸手抓蛇的尾巴,蛇在他手中变回了杖。 5耶和华说:“这样,他们就会相信他们祖先的上帝耶和华,就是亚伯拉罕以撒雅各的上帝,曾经向你显现。”

6耶和华又说:“把手放进怀里。”摩西把手放进怀里,手抽出来的时候,竟患了麻风病,像雪一样白。 7耶和华说:“再把手放进怀里。”摩西又把手放进怀里,这次再抽出来的时候,手已经复原,跟其他地方的皮肉一样。 8耶和华说:“纵然他们不听你的话,不信第一个神迹,也必定相信第二个神迹。 9如果他们两个神迹都不相信,还是不听你的话,你就从尼罗河里取些水来倒在旱地上,那水就会在旱地上变成血。”

10摩西对耶和华说:“主啊!我向来不善言辞,即使你对仆人说话以后,我还是不善言辞,因为我是个拙口笨舌的人。” 11耶和华对他说:“是谁造人的口舌?是谁使人变成哑巴或聋子?是谁使人目明或眼瞎?不都是我耶和华吗? 12去吧!我必赐给你口才,指示你说什么话。” 13但是摩西说:“主啊,请派其他人去吧。” 14耶和华向摩西发怒说:“利未亚伦不是你哥哥吗?他是个能言善辨的人,正要来迎接你。他见到你一定很欢喜。 15你要把该说的话传给他,我会赐你们口才,教你们如何行事。 16他要替你向百姓说话,做你的发言人,你对他来说就像上帝一样。 17你要把手杖带在身边,以便行神迹。”

18摩西回到家里,对他的岳父叶忒罗说:“求你让我回埃及去探望我的亲人,看看他们是否在世。”叶忒罗说:“你平安地去吧。” 19耶和华在米甸摩西说:“你只管放心回埃及去,想害你性命的人都已经死了。” 20于是,摩西拿着上帝的杖,带着妻子和儿子骑驴返回埃及21耶和华对摩西说:“你到了埃及,见到法老的时候,务要照我赐给你的能力在法老面前行神迹。但我要使他的心刚硬,他必不让百姓离开。 22那时,你就告诉法老,‘耶和华说,以色列是我的长子, 23我对你说过让我的长子出去事奉我,但你执意不肯。看啊,我要杀你的长子。’”

24摩西在途中夜宿的时候,耶和华遇见摩西,想要杀他。 25他的妻子西坡拉拿起锋利的火石,割下儿子的包皮,放在摩西脚前,说:“你真是我的血郎。” 26这样,耶和华才没杀他。当时,西坡拉说“血郎”是指割礼一事。

27耶和华对亚伦说:“你到旷野去迎接摩西。”他就在上帝的山上遇见摩西,并亲吻他。 28摩西把耶和华吩咐他的以及要他行的神迹都告诉了亚伦29摩西亚伦一起回去招聚以色列的众长老, 30亚伦把耶和华对摩西的吩咐详细地告诉他们。摩西又在百姓面前行了那些神迹, 31百姓相信了。以色列人听见耶和华眷顾他们、看到了他们的苦难,都俯伏敬拜祂。