Okuva 32 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 32:1-35

Ennyana eya Zaabu

132:1 a Kuv 24:18; Ma 9:9-12 b Bik 7:40*Abantu bwe baalaba nga Musa aluddeyo nnyo ku lusozi, ne bakuŋŋaanira awali Alooni, ne bamugamba nti, “Jjangu, otukolere bakatonda abanaatukulembera; kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.”

232:2 Kuv 35:22Alooni n’abaddamu nti, “Mwambule empeta eza zaabu, bakyala bammwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe ze bambadde ku matu gaabwe, muzindeetere.” 3Awo abantu bonna ne beenaanulako empeta zaabwe eza zaabu ez’oku matu, ne bazireetera Alooni. 432:4 Ma 9:16; Nek 9:18; Zab 106:19; Bik 7:41Alooni n’azisaanuusa; zaabu eyavaamu n’agibumbamu ennyana, ng’agirongoosa n’ekyuma. Ne balyoka boogera nti, “Bano be bakatonda bo ggwe Isirayiri abaakuggya mu nsi y’e Misiri!”

532:5 Lv 23:2, 37; 2Bk 10:20Alooni bwe yalaba ebyo, n’azimba ekyoto mu maaso g’ennyana, n’alyoka alangirira nti, “Enkya tujja kukolera Mukama embaga.” 632:6 a Kbl 25:2; Bik 7:41 b nny 17-19; 1Ko 10:7*Awo enkeera, abantu ne bazuukuka mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa, ne baleeta n’ebiweebwayo olw’emirembe; ne batuula ne balya era ne banywa, ne basituka ne bakola effujjo.

732:7 a nny 4, 11 b Lub 6:11-12; Ma 9:12Mukama n’agamba Musa nti, “Serengeta, kubanga abantu bo be waggya mu nsi ey’e Misiri boonoonye; 832:8 a Kuv 20:4 b Kuv 22:20 c 1Bk 12:28bavudde mangu mu kkubo lye nabalagira; beekoledde ennyana ensaanuuse ne bagisinza, ne bagireetera ebiweebwayo, ne boogera nti, ‘Bano be bakatonda bo, ggwe Isirayiri, abaakuggya mu nsi y’e Misiri!’ ”

932:9 Kuv 33:3, 5; 34:9; Is 48:4; Bik 7:51Mukama n’agamba Musa nti, “Abantu bano mbalabye, era ndabye nga bakakanyavu. 1032:10 Kbl 14:12; Ma 9:14Kale, kaakano ndeka obusungu bwange bubabuubuukireko, mbazikirize; kyokka ggwe ndikufuula eggwanga ekkulu.”

Musa Yeegayirira Katonda

1132:11 a Ma 9:18 b Ma 9:26Naye Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n’agamba nti, “Lwaki obusungu bwo bubuubuukira abantu bo be waggya mu nsi y’e Misiri n’obuyinza, awamu n’omukono gwo ogw’amaanyi? 1232:12 Kbl 14:13-16; Ma 9:28Lwaki okwogeza Abamisiri nti, ‘Yabatwala ng’agenderedde kubakola kabi, abattire mu nsozi, abazikirize, bave ku nsi?’ Nyiigulukuka, obusungu obubuubuuka bukuveeko, oleme kuleeta bulabe ku bantu bo. 1332:13 a Kuv 2:24 b Lub 22:16; Beb 6:13 c Lub 15:5; 26:4 d Lub 12:7Jjukira abaweereza bo Ibulayimu, ne Isaaka, ne Isirayiri, be walayirira ggwe kennyini, n’obagamba nti, ‘Ndyaza bazzukulu bammwe ng’emmunyeenye ez’oku ggulu, era n’ensi eno gye mbasuubizza ndigiwa bazzukulu bammwe, era eribeera omugabo gwammwe ennaku zonna.’ ” 1432:14 2Sa 24:16; Zab 106:45Mukama akabi ke yali ategese okukola abantu be n’atakaleeta.

Musa Azikiriza Ennyana

1532:15 a Kuv 31:18 b Ma 9:15Awo Musa n’aserengeta okuva ku lusozi ng’akutte mu mikono gye ebipande ebibiri eby’Endagaano, nga biwandiikiddwako ku njuyi zombi. 1632:16 Kuv 31:18Ebipande byakolebwa Katonda, n’ebiwandiike ebyaliko byali bya Katonda, nga ye yabisala ku bipande ebyo.

17Yoswa bwe yawulira oluyoogaano lw’abantu nga baleekaana, n’agamba Musa nti, “Mu lusiisira eriyo okuyoogaana ng’okw’olutalo.”

18Naye n’amuddamu nti,

“Siwulira maloboozi galeekaana olw’obuwanguzi,

oba amaloboozi g’okwaziirana olw’okuwangulwa,

naye maloboozi ga kuyimba ge mpulira.”

1932:19 a Ma 9:16 b Ma 9:17Naye Musa bwe yasemberera olusiisira, n’alengera ennyana, n’alaba n’amazina; obusungu bwe ne bubuubuuka, n’asuula eri ebipande ebyali mu mikono gye, ne bimenyekera awo wansi w’olusozi. 2032:20 Ma 9:21N’addira ennyana gye baali bakoze n’agyokya mu muliro n’agisekulasekula, n’agimerungulira ddala ng’olufuufu; olufuufu n’alumansa ku mazzi n’agawa abaana ba Isirayiri ne baganywa.

21Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Abantu bano baakukoze ki, n’obaleetera okwonoona ennyo bwe batyo?”

2232:22 Ma 9:24Alooni n’amuddamu nti, “Tonnyiigira nnyo, mukama wange, naawe abantu bano obamanyi, ng’emitima gyabwe bwe gyamanyiira okwonoona. 2332:23 nny 1Baŋŋambye nti, ‘Tukolere bakatonda abanaatukulembera kubanga Musa ono eyatuggya mu nsi y’e Misiri, tetumanyi kimutuuseeko.’ 2432:24 nny 4Nange kwe kubagamba nti, ‘Buli alina ebya zaabu abyeyambuleko,’ ne babimpa ne mbiteeka mu muliro, ne bivaamu ennyana eno.”

Abantu Abattibwa Abaleevi

25Awo Musa bwe yalaba ng’abantu basasamadde, nga Alooni yali abalese ne basasamala, era ng’abalabe baabwe babasekerera, 26n’ayimirira mu mulyango gw’olusiisira, n’agamba nti, “Ani ali ku ludda lwa Mukama? Ajje wano we ndi.” Awo batabani ba Leevi bonna ne bakuŋŋaanira w’ali. 2732:27 Kbl 25:3, 5; Ma 33:9N’abagamba nti, “Bw’ati Mukama Katonda wa Isirayiri bw’ayogera nti, ‘Buli musajja yeesibe ekitala kye mu kiwato kye, muyiteeyite mu nsiisira okuva ku ludda olumu okutuuka ku ludda olulala, nga buli musajja atta muganda we ne mukwano gwe, ne muliraanwa we.’ ” 28Abaleevi ne bakola nga Musa bwe yabalagira; era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne battibwa. 29Awo Musa n’agamba nti, “Mwawuddwa leero eri Mukama, bwe musse buli omu mutabani we, era ne muganda we; Mukama abawadde omukisa ku lunaku lwa leero.”

3032:30 a 1Sa 12:20 b Lv 1:4; Kbl 25:13Enkeera Musa n’agamba abantu nti, “Mwonoonye nnyo. Naye nze ka ŋŋende eri Mukama ndabe obanga nnaatangiririra ekibi kyammwe.” 3132:31 a Ma 9:18 b Kuv 20:23Bw’atyo Musa n’addayo eri Mukama, n’agamba nti, “Kitalo! Abantu bano nga boonoonye nnyo; bwe beekoledde bakatonda aba zaabu! 3232:32 a Bar 9:3 b Zab 69:28; Dan 12:1; Baf 4:3; Kub 3:5; 21:27Bw’oba osiima basonyiwe ekibi kyabwe; naye bwe kitaba kityo, nkwegayirira onsangule mu kitabo kyo ky’owandiise.”

3332:33 Ma 29:20; Zab 9:5Naye Mukama n’agamba Musa nti, “Oyo yekka ankozeeko ekibi gwe ndisangula mu kitabo kyange. 3432:34 a Kuv 3:17 b Kuv 23:20 c Ma 32:35; Zab 99:8; Bar 2:5-6Kaakano genda otwale abantu mu kifo ekyo kye nakutegeeza; era, laba, malayika wange ajja kukukulembera. Naye ekiseera nga kituuse okubabonereza ndibabonerereza ddala olw’ekibi kyabwe.”

3532:35 nny 4Awo Mukama n’aleetera abantu kawumpuli, kubanga beekolera ennyana, Alooni gye yababumbira.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 32:1-35

金牛犊

1百姓见摩西迟迟没有下山,就聚集到亚伦那里,对他说:“领我们离开埃及的那个摩西不知怎样了,你给我们造神像来带领我们吧。” 2亚伦对他们说:“你们去摘下妻子、儿女的金耳环,拿来给我。” 3百姓就都摘下金耳环交给亚伦4亚伦用这些金耳环铸造了一头牛犊。他们说:“以色列人啊,这就是把你们带出埃及的神明。” 5亚伦见状,便在牛犊前面筑了一座坛,然后宣告说:“明天是耶和华定的节期。” 6第二天清晨,百姓都上前来献燔祭和平安祭,献完祭后就坐下吃喝,起来狂欢。

7耶和华对摩西说:“你快下山吧,你的百姓,就是你从埃及领出来的那些人已经败坏了。 8他们这么快就偏离了我吩咐他们走的道路,为自己造了一头牛犊来叩拜献祭,说,‘以色列人啊,这就是把你们带出埃及的神明。’” 9耶和华又说:“我看到了,这些百姓真是顽固不化。 10你不要阻止我,我要向他们发烈怒,毁灭他们。我要使你的后代成为大国。”

11摩西恳求他的上帝耶和华说:“耶和华啊,你为什么要向你的子民发烈怒呢?这些子民是你亲自用神迹和大能从埃及领出来的。 12难道你要让埃及人议论说你领他们出来是出于恶意,是为了在山野之间杀掉他们,从地上灭绝他们吗?求你息怒,施怜悯,不要降祸给你的子民。 13求你顾念你的仆人亚伯拉罕以撒以色列,你曾凭自己向他们起誓说,‘我必使你们的后代像天上的星星那么多。我应许给你们后代的这整片土地,我必赐给他们作永远的产业。’” 14耶和华听了摩西的话,就心生怜悯,不把所说的灾祸降在百姓身上。

15摩西转身下山,手里拿着两块石版,石版的正反两面都有字。 16石版是上帝做的,字是上帝刻的。 17约书亚听见山下百姓嘈杂的喊叫声,便对摩西说:“营地里有打仗的声音。” 18摩西对他说:“这不是打胜仗的声音,也不是打败仗的声音,而是狂欢的声音。” 19摩西走近营地的时候,看见牛犊,又看见百姓在跳舞,心中大怒,便把手上的两块石版摔碎在山脚下, 20又把他们铸造的牛犊熔化掉,磨成粉末撒在水面上,叫以色列百姓喝。 21摩西亚伦说:“这些百姓对你做了什么?你竟使他们陷入大罪中!” 22亚伦回答说:“求我主不要动怒,你知道这些人专门作恶。 23他们对我说,‘为我们造神明来带领我们吧,因为领我们离开埃及的那个摩西不知怎样了。’ 24于是,我吩咐他们摘下金耳环给我,我把这些金耳环丢进火里,这头牛犊就出来了。”

25摩西见百姓放肆,亚伦纵容他们,使他们成为敌人的笑柄, 26便站在营门口对会众说:“凡跟从耶和华的,都站到我这边来。”所有的利未人都聚集到摩西身边。 27摩西对他们说:“以色列的上帝耶和华这样说,‘你们各人带着刀,从这个门到那个门,走遍整个营,不论遇见的是兄弟、伙伴还是邻居,只管杀他们。’” 28利未人便照摩西的话去做。那一天,约有三千人被杀。 29摩西利未人说:“今天你们已经把自己奉献给耶和华了,因为你们大义灭亲,祂必赐福给你们。”

30第二天,摩西对百姓说:“你们犯了大罪,我现在要到耶和华那里,也许可以为你们求得赦免。” 31摩西回到耶和华那里,说:“唉,百姓犯了大罪,用金子为自己造了神像。 32恳求你赦免他们的罪,不然请你从你的册子上抹掉我的名字吧。” 33耶和华对摩西说:“谁得罪我,我就从我的册子上抹掉谁的名字。 34你现在回去带领这些百姓,往我指示你的地方去,我的天使必在你前面引路。只是到我惩罚的日子,我必因他们的罪惩罚他们。”

35耶和华击杀百姓,是因为他们曾与亚伦一起造牛犊。