Okuva 31 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okuva 31:1-18

Okulondebwa kw’Abakozi

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 231:2 Kuv 36:1, 2; 1By 2:20“Laba, nnonze Bezaaleeri mutabani wa Uli, muzzukulu wa Kuuli, ow’omu kika kya Yuda; 331:3 1Bk 7:14era mmujjuzza Omwoyo wa Katonda, n’okumanya, n’obusobozi n’amagezi mu kukola ebitali bimu ebyemikono 4okutetenkanya ebintu ebinaakolebwa mu zaabu ne ffeeza n’ekikomo, nga bwe binaafaanana, 5okwola amayinja n’okugategeka, n’okwola emiti, era n’okukola byonna ebyemikono ebya buli ngeri. 6Ate mmulondeddeko Okoliyaabu mutabani wa Akisamaki, ow’omu kika kya Ddaani, okumuyamba.

“Era abakugu abakola ebintu byonna ebya buli ngeri, mbawadde amagezi okukola bino byonna bye nkulagidde:

731:7 a Kuv 36:8-38 b Kuv 37:1-5 c Kuv 37:6“Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,

n’Essanduuko ey’Endagaano n’ekibikkako eky’entebe ey’okusaasira,

awamu n’ebikozesebwa byonna mu Weema ya Mukama,

831:8 a Kuv 37:10-16 b Kuv 37:17-24emmeeza n’ebigenderako,

ekikondo ekya zaabu omuka eky’ettaala n’ebigenderako,

n’ekyoto eky’obubaane,

9n’ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebigenderako,

n’ebbensani ne kw’etuula;

1031:10 Kuv 28:2; 39:1, 41n’ebyambalo ebyalukibwa obulungi,

ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni, kabona,

n’ebyambalo bya batabani be bye baweererezaamu mu bwakabona;

1131:11 Kuv 30:22-32n’amafuta ag’okufukibwa, n’ebyakaloosa akalungi ak’omu Kifo Ekitukuvu.

“Byonna babikole nga bwe nakulagira.”

Ssabbiiti

12Awo Mukama n’agamba Musa nti, 1331:13 a Kuv 20:8; Lv 19:3, 30 b Ez 20:12, 20 c Lv 11:44“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Munaateekwanga okukuuma Ssabbiiti zange, kubanga ako ke kabonero akanaabeeranga wakati wammwe nange mu mirembe gyammwe gyonna, mulyoke mumanye nga Nze Mukama, Nze mbatukuza.

1431:14 Kbl 15:32-36“ ‘Munaakuumanga Ssabbiiti, kubanga lunaku lutukuvu. Buli anaaluweebuulanga waakufa; ne buli anaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo waakuggibwa mu bantu be, attibwe. 1531:15 a Kuv 20:8-11 b Lub 2:3; Kuv 16:23Emirimu ginaakolwanga mu nnaku mukaaga, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula, lunaku lwa Mukama lutukuvu. Buli anaakolanga omulimu ku lunaku lwa Ssabbiiti wa kuttibwa. 16Noolwekyo abaana ba Isirayiri banaakumanga olunaku lwa Ssabbiiti, nga balujjukira mu mirembe gyabwe gyonna, ng’endagaano etaggwaawo. 1731:17 a nny 13 b Lub 2:2-3Kanaabeeranga kabonero wakati wange n’abaana ba Isirayiri emirembe gyonna, akalaga nti Mukama yakola eggulu n’ensi mu nnaku mukaaga, ne ku lunaku olw’omusanvu n’alekeraawo okukola, n’awummula.’ ”

1831:18 a Kuv 24:12 b Kuv 32:15-16; 34:1, 28; Ma 4:13; 5:22Awo Mukama bwe yamaliriza okwogera ne Musa ku lusozi Sinaayi, n’awa Musa ebipande bibiri eby’amayinja, eby’Endagaano Katonda gye yawandiika n’engalo ye, ye kennyini.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

出埃及记 31:1-18

会幕的工匠

1耶和华对摩西说: 2“看啊,在犹大支派中我已经亲自选出户珥的孙子、乌利的儿子比撒列3用我的灵充满他,使他有聪明智慧,精于各种技能和手艺, 4懂得用金、银和铜制造各式各样精巧的器具, 5又能雕刻和镶嵌宝石,精通木工和各种手艺。 6我委派支派亚希撒抹的儿子亚何利亚伯做他的助手。至于其他能工巧匠,我已赐给他们智慧,好照我对你的吩咐制造一切器具, 7即会幕、约柜和约柜上面的施恩座、会幕里面所有的器具、 8桌子和桌上的器具、纯金的灯台和灯台的一切器具、香坛、 9燔祭坛和坛上的一切器具、洗濯盆和盆座, 10还有精工制做的礼服,即亚伦祭司的圣衣及其众子供祭司之职时穿的礼服, 11以及膏油和圣所使用的芬芳的香。他们要照我对你的吩咐去做。”

安息日

12耶和华对摩西说: 13“你要吩咐以色列百姓务必守我的安息日,因为这是我与你们之间世世代代的记号,叫你们知道使你们圣洁的是我耶和华。 14你们要守安息日,以它为圣日。凡不守这诫命的,必被处死。凡在这天工作的,必从民中被铲除。 15一周要工作六天,第七天是庄严的安息日,是耶和华的圣日。凡在安息日做工的,必被处死。 16因此,以色列人世世代代都要守安息日,作为永久的约, 17这是我和以色列人之间永久的记号。耶和华用六天的时间创造天地万物,在第七天停工休息。” 18耶和华在西奈山对摩西说完这些话以后,就把自己用指头刻上诫命的两块石版交给摩西