Okuva 22 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okuva 22:1-31

Amateeka ku Bintu by’Abantu

122:1 2Sa 12:6; Nge 6:31; Luk 19:8“Omuntu bw’anabbanga ente ya munne, oba endiga, n’agitta oba n’agitunda; anazzangawo ente ttaano olw’emu gy’abbye, n’endiga nnya olw’endiga emu.

222:2 a Mat 6:19-20; 24:43 b Kbl 35:27“Omubbi bw’anaakwatibwanga ng’amenya ennyumba, n’akubibwa emiggo n’afa; amukubye taabengako musango olw’okuyiwa omusaayi gw’omubbi oyo; 322:3 Kuv 21:2; Mat 18:25naye singa ebyo bigwawo ng’enjuba emaze okuvaayo, anaabangako omusango olw’okuyiwa omusaayi ogwo. Omubbi anaateekwanga okuliwa; naye bw’abanga talina kantu, anaatundibwanga alyoke asasulire bye yabba.

422:4 Lub 43:12“Omubbi singa akwatibwa lubona nga n’ensolo gy’abbye agirina nnamu, oba nte, oba ndogoyi oba ndiga, anazzangawo bbiri bbiri.

5“Omuntu bw’anaabanga alunda ebisolo bye mu ddundiro lye oba mu nnimiro ye ey’emizabbibu, ensolo ze n’azireka ne zigenda ziriira mu nnimiro y’omuntu omulala; anaasasulanga ku bibala ebisinga obulungi n’ezabbibu ebiva omumwe.

6“Omuliro bwe gunaalandanga ne guyita mu bisaka22:6 bisaka Mu biro ebyo, ebisaka byakozesebwanga ng’ebikomera. ne gukwata ennimiro y’omuntu, ne gwokya ebinywa by’eŋŋaano, oba eŋŋaano ekyakula, oba ne guzikiriza ennimiro ye yonna; eyakumye omuliro ogwo anaasasuliranga byonna ebyonoonese.

722:7 nny 4“Omuntu bw’anaateresanga munne ensimbi oba ebintu bye ebirala, ne bamala babibbira mu nnyumba ye; omubbi bw’anaakwatibwanga anaaliwanga emirundi ebiri. 822:8 Kuv 21:6; Ma 17:8-9; 19:17Naye omubbi bw’ataakwatibwenga, nannyini nnyumba ateekwa agende eri abalamuzi, basalewo obanga ebintu bya munne ye yabitutte. 922:9 nny 28; Ma 25:1Mu buli misango gyonna egy’okubeera n’ebintu mu ngeri emenya amateeka, ng’okubeera n’ente, oba endogoyi, oba endiga, oba ekyambalo, oba ekintu ekirala kyonna ekinaabanga kibuze, omuntu n’amala akyogerako nti, ‘Kino kyange,’ omuntu akirina n’oyo akiyita ekikye banaatwalanga ensonga zaabwe eri abalamuzi. Oyo abalamuzi gwe banaasaliranga nti gumusinze, anaddizangawo munne emirundi ebiri.

10“Omuntu bw’anaateresanga munne endogoyi, oba ente, oba endiga, oba ensolo endala yonna; n’emala efa, oba n’erumizibwa, oba n’etwalibwa nga tekitegeerekese agitutte, 1122:11 Beb 6:16ensonga zaabwe zinaagonjoolwanga nga eyatereka alayidde mu maaso ga Mukama nti ensolo eyo si ye yagibba. Nannyini nsolo ateekwanga okukkiriza ekirayiro ekyo, era taasasulwenga kintu kyonna. 12Naye bw’eneemubbibwangako, anaagiriwanga. 1322:13 Lub 31:39Bw’eneebanga erumbiddwa ensolo enkambwe n’etaagulwataagulwa, anaaleetanga ebitundutundu byayo ebisigaddewo ng’obujulizi; taaliwenga nsolo etaaguddwataaguddwa.

14“Omuntu bw’aneeyazikanga ensolo ku muliraanwa we, n’erumizibwa, oba n’emufaako nga nnyini yo taliiwo, anaateekwanga okugisasulira. 15Naye nannyini yo bw’anaabangawo, taaliyirwenga. Ensolo ng’ebadde epangisibbwa bupangisibwa, omuwendo ogugipangisizza gunaamalanga mu kugisasulira.

Amateeka ku Mbeera y’Abantu

1622:16 Ma 22:28“Omusajja bw’anaasendasendanga omuwala omuto akyali embeerera, ne yeebaka naye, atwalengayo ebintu ebyobuko, amuwase. 17Naye singa kitaawe w’omuwala agaanira ddala okumumuwa, era asasulangayo omuwendo gw’ensimbi ogwenkanankana n’eby’obuko ebiweebwayo ku mbeerera.

1822:18 Lv 20:27; Ma 18:11; 1Sa 28:3“Omukazi omulogo omuttanga bussi.

1922:19 Lv 18:23; Ma 27:21“Omuntu akola eby’ensonyi n’ensolo ateekwanga kuttibwa.

2022:20 Ma 17:2-5“Omuntu atwalanga ssaddaaka eri katonda omulala, atali nze Mukama, azikirizibwenga.

2122:21 a Lv 19:33 b Ma 10:19“Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.

2222:22 Ma 24:6, 10, 12, 17“Nnamwandu ne mulekwa temubajooganga. 2322:23 a Luk 18:7 b Ma 15:9; Zab 18:6Bwe munaabajooganga ne bankaabira, nnaabawulirizanga. 2422:24 Zab 69:24; 109:9Obusungu bwange ne bubuubuuka, mmwe ne mbatta n’ekitala. Bakyala bammwe ne bafuuka bannamwandu n’abaana bammwe bamulekwa.

2522:25 Lv 25:35-37; Ma 23:20; Zab 15:5“Bw’owolanga ensimbi omu ku bantu bange abali mu mmwe, ng’ali mu kwetaaga, teweeyisanga ng’abawozi b’ensimbi abalala; tomusasuzanga magoba. 2622:26 Ma 24:6Bw’otwalanga ekyambalo ky’omuntu ng’akakalu, kimuddize ng’enjuba egenda okugwa; 2722:27 Kuv 34:6kubanga ekyambalo kye ekyo kye ky’okwebikka kye kyokka ky’alina. Kale bw’otokimuddiza olwo asule mu ki? Bw’anankaabiriranga nzijanga kumuwuliriza, kubanga ndi wa kisa.

2822:28 a Lv 24:11, 16 b Mub 10:20; Bik 23:5*“Tovumanga Katonda, wadde okwogera obubi ku bafuzi bammwe.

2922:29 a Kuv 23:15, 16, 19 b Kuv 13:2“Tolwangawo kuwaayo ku bibala ebibereberye nga byengedde.

“Mutabani wo omubereberye onoomumpanga. 3022:30 a Kuv 13:12; Ma 15:19 b Lv 22:27Ente zo n’endiga zo nazo onookolanga bw’otyo. Onoozirekeranga bannyina baazo okumala ennaku musanvu; onoozimpanga ku lunaku olw’omunaana.

3122:31 a Lv 19:2 b Ez 4:14“Mujjanga kuba bantu bange batukuvu. Noolwekyo temuulyenga nnyama ya nsolo etaaguddwataaguddwa ebisolo eby’omu nsiko. Munaagirekeranga mbwa.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 22:1-31

賠償條例

1「倘若有人偷了別人的牛羊,然後宰了或賣了,他要用五頭牛抵償一頭牛,四隻羊抵償一隻羊。 2倘若有人打死正入屋偷竊的賊,這人不算犯殺人罪。 3倘若事情發生在白天,家主就犯了殺人罪。倘若盜賊被擒,他就要賠償家主,若他一無所有,就要把他賣為奴隸作賠償。 4倘若他偷的牲畜如牛、羊或驢在他手上還活著,他要償還失主雙倍。

5「倘若有人在田野或葡萄園裡牧放牲畜,任由牲畜吃別人田裡的農作物或葡萄,他必須拿自己田裡最好的農作物或葡萄作賠償。 6倘若有人在自己的田間焚燒荊棘,不小心燒掉了別人的莊稼、禾捆或整個田園,那生火的人就要賠償一切損失。

7「倘若有人把金錢或物件交給鄰居保管,鄰居家遭盜,盜賊被緝拿歸案後要賠償雙倍; 8倘若沒捉到盜賊,鄰居就要到審判官那裡證明自己沒有偷拿。 9倘若二人之間有什麼糾紛,無論是為了牛、驢、羊、衣服或失物,爭執的雙方要把案件呈報審判官,審判官判誰敗訴,誰就要賠償雙倍。 10倘若有人把驢、牛、羊或別的牲畜交給鄰居看管,牲畜死傷或被人搶走,並且無人看見, 11看守的人就要在耶和華面前起誓沒有動鄰居的東西,這樣失主就應當作罷,看守的人不用賠償。 12但若牲畜是被人偷去的,受託人就要賠償失主。 13倘若牲畜被野獸咬死,受託人要把殘骸帶來當證據,無需賠償被咬死的牲畜。 14倘若有人向鄰居借牲畜,牲畜受傷或死掉,而當時物主不在場,借的人就要賠償。 15倘若物主當時在場,借的人就不用賠償。倘若牲畜是租來的,租的人只需付租金不用賠償。

社會條例

16「倘若有人誘姦了尚未許配的處女,他就要交出聘禮,娶她為妻; 17倘若女方家長反對婚事,男方要付出相當於聘禮的金錢給女方家長。

18「凡行邪術的女人,必須被處死。

19「與動物性交的人,必須被處死。

20「祭拜耶和華以外的其他任何神明的人,必須被處死。

21「不可欺壓在你們中間寄居的人,因為你們在埃及也做過寄居的人。

22「不可虧待寡婦和孤兒, 23倘若你們欺凌他們,他們向我呼求,我必聽他們的呼求, 24向你們發怒,用刀殺掉你們,使你們的妻子變為寡婦,兒女成為孤兒。

25「倘若有貧苦的同胞向你借錢,你不可像放債的一樣從中取利。 26倘若他把衣服給你作抵押,你要在日落之前把衣服還給他。 27因為他只有這件蔽體的衣服,若是沒有,他晚上如何睡覺?他若呼求我,我必定幫助他,因為我是仁慈的。 28不可褻瀆上帝,也不可咒詛百姓的官長。 29你們要向我獻上五穀和新酒,不可遲疑耽延。要把你們的長子獻給我。 30也要獻上頭生的牛羊,牠們生下來後可以留在母親身邊七天,第八天要獻給我。 31你們要做我聖潔的子民,不要吃田野間被野獸咬死的牲畜,要把牠丟給狗吃。