Okuva 13 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Okuva 13:1-22

Okutukuza Ebibereberye

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 213:2 nny 12, 13, 15; Kuv 22:29; Kbl 3:13; Ma 15:19; Luk 2:23*“Ebibereberye byonna binjawulireko. Abaana abaggulanda mu Isirayiri yonna banaabanga bange; n’ebisolo ebiggulanda nabyo binaabanga byange.”

Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

313:3 a Kuv 3:20; 6:1 b Kuv 12:19Awo Musa n’agamba abantu nti, “Mujjukiranga olunaku luno, olunaku lwe mwaviirako mu Misiri, ensi gye mwafugibwanga ng’abaddu, kubanga Mukama yabaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi. Temuliirangako mugaati gulimu kizimbulukusa. 413:4 Kuv 12:2Ku lunaku lwa leero olw’omwezi guno Abibu, lwe musitudde okuva mu Misiri. 513:5 a Kuv 3:8 b Kuv 12:25-26Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno. 613:6 Kuv 12:15-20Mumalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egitaliimu kizimbulukusa, ne ku lunaku olw’omusanvu kwe munaakoleranga embaga ya Mukama. 7Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu; tewabangawo alabika n’omugaati omuzimbulukuse, wadde ekizimbulukusa okusangibwa nammwe mu nsi yammwe. 813:8 nny 14; Kuv 10:2; Zab 78:5-6Ku lunaku olwo mulitegeeza abaana bammwe nti, ‘Tukola tuti nga tujjukira ebyo Mukama bye yatukolera nga tuva mu Misiri.’ 913:9 nny 16; Ma 6:8; 11:18Omukolo guno gunaababeereranga ng’akabonero ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe, okubajjukizanga etteeka lya Mukama eritaavenga ku mimwa gyammwe. Kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 1013:10 Kuv 12:24-25Noolwekyo onookolanga ekiragiro kino bye kigamba, mu kiseera kyakyo buli mwaka, buli mwaka.

Ebibereberye

11Mukama ng’amaze okubatuusa mu nsi y’Abakanani, nga bwe yabalayirira mmwe ne bajjajja bammwe, era agenda kugibawa, 1213:12 Lv 27:26; Luk 2:23*Mukama mumwawulirangako ebiggulanda byonna. Zisseddume zonna embereberye ez’amagana gammwe zinaabanga za Mukama. 1313:13 a Kuv 34:20 b Kbl 18:15Buli kalogoyi13:13 Endogoyi zaali nsolo ezitali nnongoofu (Kbl 18:15) nga teziyinza kuweebwayo nga ssaddaaka. Kyokka omuntu yayinzanga okuziwanyisaamu omwana gw’endiga, era ekyo kiraga omuwendo gw’endogoyi mu byenfuna akabereberye mukawaanyisangamu omwana gw’endiga ne mukanunulayo, naye bwe mutaakanunulenga mukamenyanga ensingo ne kafa. Ne buli mutabani wammwe omubereberye mumununulanga.

1413:14 a Kuv 10:2; 12:26-27; Ma 6:20 b nny 3, 9“Awo olulituuka batabani bammwe, bwe bababuuzanga nti, ‘Kino kye mukola kitegeeza ki?’ Mubaddangamu nti, ‘Kubanga Mukama yatuggya mu Misiri, ensi ey’obuddu, n’omukono gwe ogw’amaanyi. 1513:15 Kuv 12:29Naye Falaawo bwe yali ng’akakanyadde ng’atugaanye okuvaayo, Mukama n’atta ebibereberye byonna mu nsi y’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo. Noolwekyo kyetuva tuwaayo ssaddaaka eri Mukama ey’ebiggulanda byonna ebisajja; naye batabani baffe abaggulanda tubanunulayo.’ 1613:16 nny 9Omukolo ogwo gunaababeereranga ng’akabonero akookebbwa ku mikono gyammwe, oba mu byenyi wakati w’amaaso gammwe; kubanga Mukama yabaggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi.”

Empagi ey’Ekire n’Empagi ey’Omuliro

1713:17 Kuv 14:11; Kbl 14:1-4; Ma 17:16Awo abantu, bwe baasitula nga Falaawo amaze okubaleka, Katonda teyabayisa mu kkubo eriyita mu nsi y’Abafirisuuti, newaakubadde lye lyali ery’okumpi.13:17 Ekkubo Abayisirayiri lye baakwata okuva mu Misiri, lyaliko ebigo ebbali n’ebbali, Abamisiri mwe baalabirizanga abaaliyitangamu Kubanga Katonda yagamba nti, “Singa bagwa mu lutalo, bayinza okwejjusa ne bawetamu ne baddayo e Misiri.” 1813:18 a Zab 136:16 b Yos 1:14Bw’atyo Katonda n’abeekooloobya ng’abayisa mu kkubo ery’omu ddungu eriggukira ku Nnyanja Emyufu. Abaana ba Isirayiri baava mu nsi y’e Misiri nga bakutte ebyokulwanyisa byabwe nga beetegekedde okulwana.

1913:19 a Yos 24:32; Bik 7:16 b Lub 50:24-25Awo Musa n’avaayo n’amagumba ga Yusufu, kubanga Yusufu yali alayizza abaana ba Isirayiri. Yabagamba nti, “Ddala, ddala Mukama agenda kubadduukirira. Kale, amagumba gange mugendanga nago nga muva wano.”

2013:20 Kbl 33:6Bwe baava e Sukkosi ne bakuba eweema zaabwe mu Yesamu eddungu we litandikira. 2113:21 Kuv 14:19, 24; 33:9-10; Kbl 9:16; Ma 1:33; Nek 9:12, 19; Zab 78:14; 99:7; 105:39; Is 4:5; 1Ko 10:1Emisana Mukama yabakulemberanga ng’ali mu mpagi ey’ekire okubalaga ekkubo, n’ekiro ng’ali mu mpagi ey’omuliro okubamulisiza, balyoke batambulenga emisana n’ekiro. 22Empagi ey’ekire ey’emisana, n’empagi ey’omuliro ey’ekiro tezaggibwawo mu maaso g’abantu obudde bwonna.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

出埃及記 13:1-22

奉獻頭胎

1耶和華對摩西說: 2以色列人中的長子和頭生的牲畜都屬於我,因此要把他們分別出來,使他們聖潔,歸給我。」

3摩西對百姓說:「你們要記住離開埃及的這一天,因為耶和華用大能的手把你們從受奴役的地方解救出來。不可吃帶酵的食物。 4你們是在亞筆月13·4 亞筆月是猶太曆的第一個月,約在陽曆三月中旬到四月中旬,相當於中國的春分時節。的這一天從埃及出來的, 5將來耶和華帶領你們進入迦南以後,你們每逢此月都要為祂守節期。那裡現在住著迦南人、人、亞摩利人、希未人和耶布斯人。耶和華已經向你們祖先起誓,應許賜給你們那奶蜜之鄉。 6在節期的七天之內,你們只可以吃無酵餅,到了第七天,你們要為耶和華守節期。 7七天之內要吃無酵餅,你們境內不得有酵或是帶酵的東西。 8那時,要告訴你們的子孫,『這節期是紀念我們離開埃及時耶和華為我們所做的一切。』 9這節期就好像在你們手上或額上作的記號,叫你們記得耶和華的律法,祂曾經用大能的手把你們帶出埃及10因此,每一年你們都要按時守這節期。

11「將來耶和華成就祂起誓給你們祖先的應許,領你們進入迦南人的土地,把那裡賜給你們以後, 12你們要把所有長子和頭生的公畜歸給祂。 13所有頭生的公驢必須用羊羔贖回,不然就要打斷牠的脖子。要贖回你們所有的長子。 14將來你們的子孫問起這件事的意義,你們就回答,『耶和華曾經用大能的手把我們從受奴役之地——埃及領出來。 15當時法老硬著心不肯放我們走,所以耶和華就把埃及人的長子和頭生的牲畜全都殺了。因此,我們把所有頭生的公畜當作祭牲獻給耶和華,只把長子贖回來。』 16這事就像在你們手上作記號,額上作標記,以牢記耶和華曾用大能的手領我們離開埃及。」

雲柱和火柱

17法老讓以色列人離開埃及後,上帝沒有帶領他們穿越非利士地區,雖然那是條捷徑。因為上帝說:「如果他們遇上戰爭,就會改變主意,返回埃及。」 18所以,上帝領他們繞道而行,走曠野的路,前往紅海13·18 紅海」或譯「蘆葦湖」,確切地點約在今紅海北端蘇伊士運河附近。以色列人離開埃及時都帶著兵器。 19摩西約瑟的骸骨一起帶走,因為約瑟曾叫以色列人鄭重發誓,對他們說:「上帝必眷顧你們,把你們帶出埃及,那時你們要把我的骸骨也一起帶走。」 20以色列人從疏割啟程,來到曠野邊緣的以倘安營。 21耶和華走在他們前面,白天用雲柱為他們指示道路,晚上用火柱照亮他們,這樣他們可以日夜趕路。 22白天的雲柱和晚上的火柱從不離開他們。