Okubala 23 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Okubala 23:1-30

Okulagula kwa Balamu Okusooka

123:1 Kbl 22:40Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.” 223:2 nny 14, 30Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

323:3 nny 15Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.

423:4 nny 16Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”

523:5 a Ma 18:18; Yer 1:9 b Kbl 22:20Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”

623:6 nny 17N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu. 723:7 a Kbl 22:5 b nny 18; Kbl 24:3, 21 c Kbl 22:6; Ma 23:4Balamu n’alagula nti,

“Balaki ye yanzigya mu Alamu,

kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba.

N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo;

jjangu oboole Isirayiri.’

823:8 Kbl 22:12Nnyinza okukolimira

abo Mukama Katonda batakolimidde?

Nnyinza okuboola

abo Mukama Katonda baatabodde?

923:9 Kuv 33:16; Ma 32:8; 33:28Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi

mbalengera nga nsinziira ku nsozi.

Ndaba abantu abeeyawuddeko

abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.

1023:10 a Lub 13:16 b Zab 116:15; Is 57:1 c Zab 37:37Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo,

oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri?

Leka nfe okufa okw’omutuukirivu,

n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”

1123:11 Kbl 24:10; Nek 13:2Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”

1223:12 Kbl 22:20, 38N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”

Okulagula kwa Balamu Okwokubiri

13Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.” 1423:14 nny 2N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

15Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”

1623:16 Kbl 22:38Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”

17N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”

18Bw’atyo n’alagula nti,

“Golokoka, Balaki, owulirize;

mpulira, mutabani wa Zipoli.

1923:19 a Is 55:9; Kos 11:9 b 1Sa 15:29; Mal 3:6; Tit 1:2; Yak 1:17Katonda si muntu, nti ayinza okulimba,

oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye.

Ayogera n’atakola?

Asuubiza n’atatuukiriza?

2023:20 a Lub 22:17; Kbl 22:12 b Is 43:13Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa;

agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.

2123:21 a Zab 32:2, 5; Bar 4:7-8 b Is 40:2; Yer 50:20 c Kuv 29:45, 46; Zab 145:18 d Ma 33:5; Zab 89:15-18“Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo,

tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri.

Mukama Katonda waabwe ali nabo;

eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.

2223:22 a Kbl 24:8 b Ma 33:17; Yob 39:9Katonda ye yabaggya mu Misiri,

balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.

2323:23 Kbl 24:1; Yos 13:22Tewali bulogo ku Yakobo,

tewali bulaguzi ku Isirayiri.

Kiryogerwako ku Yakobo

ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’

2423:24 a Nak 2:11 b Lub 49:9Abantu basituka ng’empologoma enkazi,

beezuukusa ng’empologoma ensajja

etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo

n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”

25Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”

26Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”

Okulagula kwa Balamu Okwokusatu

2723:27 nny 13Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.” 2823:28 Zab 106:28Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.

29Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.” 30Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Числа 23:1-30

1Валаам сказал Валаку:

– Построй мне здесь семь жертвенников и приготовь семь быков и семь баранов.

2Валак сделал, как сказал Валаам, и они вдвоём принесли на каждом жертвеннике по быку и барану. 3Валаам сказал Валаку:

– Стой здесь, у своих всесожжений, а я отойду в сторону. Может быть, Вечный придёт, чтобы встретиться со мной. Всё, что Он мне откроет, я расскажу тебе.

И он ушёл на голую вершину.

4Всевышний явился к нему, и Валаам сказал:

– Я приготовил семь жертвенников и на каждом принёс быка и барана.

5Вечный научил Валаама, что сказать, и велел:

– Вернись к Валаку и передай ему это.

6Он вернулся к нему и нашёл его стоящим возле своих всесожжений со всеми вождями Моава. 7И Валаам произнёс пророчество:

– Из Сирии привёл меня Валак,

царь Моава – от гор восточных:

«Приди, прокляни мне Якуба;

приди, обреки Исроил на погибель».

8Как мне проклясть тех,

кого Всевышний не проклял?

Как на гибель обречь тех,

кого Всевышний не обрёк?

9Я смотрю на них со скальных вершин,

я взираю на них с холмов.

Вижу народ, который живёт отдельно

и не считает себя одним из народов.

10Кто сможет сосчитать потомков Якуба

или хотя бы четвёртую часть Исроила?

Их столько, сколько пылинок на земле.

Пусть я умру смертью праведных,

и пусть будет кончина моя, как у них!

11Валак сказал Валааму:

– Что ты со мной сделал? Я привёл тебя проклясть моих врагов, а ты их благословляешь!

12Он ответил:

– Разве я не должен говорить то, что мне велит Вечный?

Второе пророчество Валаама

13Тогда Валак сказал ему:

– Пойдём со мной в то место, откуда ты сможешь их увидеть. Там ты увидишь только некоторых, не всех. Тогда прокляни их для меня оттуда.

14Он отвёл его на поле Цофим, на вершине Фасги, построил там семь жертвенников и принёс на каждом быка и барана. 15Валаам сказал Валаку:

– Стой здесь, у своих всесожжений, пока я там встречусь с Вечным.

16Вечный явился к Валааму, научил его, что сказать, и велел:

– Вернись к Валаку и передай ему это.

17Он пошёл к нему и нашёл его стоящим возле своих всесожжений с вождями Моава. Валак спросил его:

– Что сказал Вечный?

18Тогда Валаам произнёс пророчество:

– Валак, соберись и слушай;

внимай мне, сын Циппора.

19Всевышний – не человек, чтобы лгать,

и не смертный, чтобы передумывать.

Неужели скажет Он и не сделает,

пообещает и не исполнит?

20Я получил повеление благословлять;

благословляет Он – я не могу отменить.

21Не видно несчастья в Якубе,

не заметно беды в Исроиле.

С ними Вечный, их Бог,

Которого они провозгласили своим Царём.

22Из Египта их вывел Всевышний;

сила их – сила дикого быка.

23Нет колдовства на Якуба,

нет ворожбы на Исроила23:23 Или: «Нет колдовства в Якубе, нет ворожбы в Исроиле»..

Станут теперь говорить о Якубе

и об Исроиле: «Вот что Всевышний сотворил!»

24Как львица, встаёт народ,

как лев, он поднимается!

Не успокоится он, пока не пожрёт добычу

и кровью жертв не напьётся.

25Тогда Валак сказал Валааму:

– Не проклинай их и не благословляй!

26Валаам ответил:

– Разве я не говорил тебе, что должен делать всё, что скажет Вечный?

Третье пророчество Валаама

27Тогда Валак сказал Валааму:

– Пойдём, я отведу тебя в другое место. Может быть, Всевышнему будет угодно, чтобы ты проклял их оттуда.

28Валак отвёл Валаама на вершину Пеора, обращённую к пустыне23:28 Букв.: «Иешимону».. 29Валаам сказал Валаку:

– Построй мне здесь семь жертвенников и приготовь семь быков и семь баранов.

30Валак сделал, как сказал Валаам, и принёс на каждом жертвеннике быка и барана.