Okubala 20 – LCB & NIRV

Luganda Contemporary Bible

Okubala 20:1-29

Amazzi Okuva mu Lwazi

120:1 a Kbl 13:21 b Kbl 33:36 c Kuv 15:20Mu mwezi ogw’olubereberye, ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri, ne batuuka mu ddungu lya Zini, ne batuula mu Kadesi. Miryamu n’afiira eyo, era gye yaziikibwa.

220:2 a Kuv 17:1 b Kbl 16:19Awo ekibiina kyonna ne kitaba na mazzi. Abantu bonna ne beekuŋŋanyiza ku Musa ne Alooni. 320:3 a Kuv 17:2 b Kbl 14:2; 16:31-35Ne bayombesa Musa nga bagamba nti, “Singa nno naffe twafa, baganda baffe bwe baafiira mu maaso ga Mukama Katonda! 420:4 Kuv 14:11; 17:3; Kbl 14:3; 16:13Lwaki waleeta ekibiina kya Mukama Katonda kino mu ddungu tulyoke tufiire wano n’ebisibo byaffe? 520:5 Kbl 16:14Lwaki watuggya mu nsi y’e Misiri okutuleeta mu kifo kino ekibi bwe kiti? Tekiriimu mmere ya mpeke wadde ttiini, so si kifo kya mizabbibu, so si kya mikomamawanga. Tewali na mazzi ge tuyinza kunywako!”

620:6 a Kbl 14:5 b Kbl 16:19Awo Musa ne Alooni ne bava mu maaso g’ekibiina ky’abantu ne balaga ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne bavuunama wansi. Ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kibalabikira. 7Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 820:8 a Kuv 4:17, 20 b Kuv 17:6; Is 43:20“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”

920:9 Kbl 17:10Musa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira. 1020:10 Zab 106:32, 33Musa ne Alooni ne bakuŋŋanyiza ekibiina ky’abantu bonna awali olwazi, Musa n’agamba abantu nti, “Mumpulirize, mmwe abajeemu; kitugwanidde ffe okubaggyira amazzi mu lwazi luno?” 1120:11 Kuv 17:6; Ma 8:15; Zab 78:16; Is 48:2; 1Ko 10:4Awo Musa n’ayimusa omukono gwe n’akuba olwazi n’omuggo gwe emirundi ebiri. Amazzi mangi ne gafukumuka okuva mu lwazi, abantu bonna mu kibiina ne banywa, n’ebisibo byabwe nabyo ne binywa.

1220:12 a Kbl 27:14 b nny 24; Ma 1:37; 3:27Naye Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, “Olwokubanga temunneesize, ne mutampa kitiibwa, ne mutalaga kibiina kino eky’abaana ba Isirayiri nga bwe ndi omutukuvu, noolwekyo temugenda kutuusa kibiina ky’abantu bano mu nsi gye mbasuubizza okubawa.”

1320:13 a Kuv 17:7 b Ma 33:8; Zab 95:8; 106:32Ago ge mazzi ag’e Meriba, abaana ba Isirayiri gye baayombera ne Mukama, era ne Mukama Katonda gye yeeragira mu bo nga mutukuvu.

Edomu Obutawa Isirayiri Lukusa Kuyitawo

1420:14 a Bal 11:16-17 b Ma 2:4 c Yos 2:11; 9:9Musa yatumira Kabaka wa Edomu ababaka ng’asinziira e Kadesi ng’amugamba nti,

“Muganda wo Isirayiri agamba bw’ati nti: Ebizibu byonna ebyatutuukako obimanyi. 1520:15 a Lub 46:6 b Lub 15:13; Kuv 12:40 c Kuv 1:11; Ma 26:6Omanyi nga bajjajjaffe bwe baaserengeta mu Misiri, ne tumalayo emyaka mingi. Abamisiri ne bayisa bubi bakadde baffe, era naffe; 1620:16 a Kuv 2:23; 3:7 b Kuv 14:19naye bwe twakaabirira Mukama Katonda, yawulira okukaaba kwaffe, n’atutumira malayika n’atuggya mu nsi y’e Misiri. Kaakano tuli wano mu Kadesi, ekibuga ekiri ku nsalo n’ensi yo.

1720:17 Kbl 21:22“Nkwegayirira otukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka Olunene, era tetugenda kuluvaamu kukyamako ku ludda olwa kkono oba olwa ddyo okutuusa nga tumaze okuva mu nsi yo.”

18Naye Edomu n’addamu nti,

“Tojja kuyita wano, bw’onookikola tujja kwesowolayo tukulumbe n’ekitala.”

1920:19 a Kuv 12:38 b Ma 2:6, 28Abaana ba Isirayiri ne baddamu nti,

“Tujja kwambukira mu luguudo olunene mwokka, era ebisibo byaffe naffe bwe tunaanywa ku mazzi gammwe tujja kugasasulira. Twagala kuyitawo buyisi nga tutambuza bigere, tetwetaagayo kirala.”

20Naye Edomu n’addamu nti,

“Temuyitawo.”

Edomu ne yeesowolayo n’eggye ddene nnyo era nga lya maanyi. 2120:21 Ma 2:8; Bal 11:18Bw’atyo Edomu n’agaana Isirayiri okuyitira mu matwale ge, Isirayiri n’amuviira.

Okufa kwa Alooni

2220:22 Kbl 33:37Awo ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne basitula okuva e Kadesi, ne batuuka ku lusozi Koola. 2320:23 Kbl 33:37Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni, nga bali ku lusozi Koola okuliraana n’ensalo y’ensi ya Edomu, nti, 2420:24 a Lub 25:8 b nny 10“Alooni ajja kugenda abantu be bonna gye baalaga, kubanga tagenda kuyingira mu nsi gye nzija okuwa abaana ba Isirayiri. Kubanga mwembi mwajeemera ekiragiro kyange ku mazzi ag’e Meriba. 2520:25 Kbl 33:38Leeta Alooni ne mutabani we Eriyazaali, obaleete ku lusozi Koola; 2620:26 nny 24Alooni omwambulemu ebyambalo bye, obyambaze Eriyazaali mutabani we, kubanga Alooni ajja kufa agende abantu be bonna gye baalaga.”

27Musa n’akola nga Mukama bwe yamulagira; ne balinnya olusozi Koola ng’abantu bonna mu kibiina balaba. 2820:28 a Kuv 29:29 b Kbl 33:38; Ma 10:6; 32:50Musa n’ayambulamu Alooni ebyambalo, n’abyambaza Eriyazaali mutabani wa Alooni. Alooni n’afiira awo ku ntikko y’olusozi. Musa ne Eriyazaali ne baserengeta ne bakka wansi w’olusozi. 2920:29 Ma 34:8Abantu bonna mu kibiina bwe bategeera nga Alooni afudde, ab’omu nnyumba ya Isirayiri bonna ne bakungubagira Alooni okumala ennaku amakumi asatu.

New International Reader’s Version

Numbers 20:1-29

The Lord Gives Israel Water Out of the Rock

1In the first month the whole community of Israel arrived at the Desert of Zin. They stayed at Kadesh. Miriam died and was buried there.

2The people didn’t have any water. So they gathered together to oppose Moses and Aaron. 3They argued with Moses. They said, “We wish we had died when our people fell dead in front of the Lord. 4Why did you bring the Lord’s people into this desert? We and our livestock will die here. 5Why did you bring us up out of Egypt? Why did you bring us to this terrible place? It doesn’t have any grain or figs. It doesn’t have any grapes or pomegranates. There isn’t even any water for us to drink!”

6Moses and Aaron left the people. They went to the entrance to the tent of meeting. There they fell with their faces to the ground. Then the glory of the Lord appeared to them. 7The Lord said to Moses, 8“Get your walking stick. You and your brother Aaron gather the people together. Then speak to that rock while everyone is watching. It will pour out its water. You will bring water out of the rock for the community. Then they and their livestock can drink it.”

9So Moses took the walking stick from the tent. He did just as the Lord had commanded him. 10He and Aaron gathered the people together in front of the rock. Moses said to them, “Listen, you who refuse to obey! Do we have to bring water out of this rock for you?” 11Then Moses raised his arm. He hit the rock twice with his walking stick. Water poured out. And the people and their livestock drank it.

12But the Lord spoke to Moses and Aaron. He said, “You did not trust in me enough to honor me. You did not honor me as the holy God in front of the Israelites. So you will not bring this community into the land I am giving them.”

13Those were the waters of Meribah. That’s where the Israelites argued with the Lord. And that’s where he was proven to be holy among them.

Edom Doesn’t Let Israel Pass Through Its Territory

14Moses sent messengers from Kadesh to the king of Edom. The messengers said,

“The nation of Israel is your brother. They say, ‘You know about all the hard times we’ve had. 15Long ago our people went down into Egypt. We lived there for many years. The Egyptians treated us and our people badly. 16But we cried out to the Lord. He heard our cry. He sent an angel and brought us out of Egypt.

“ ‘Now here we are at the town of Kadesh. It’s on the edge of your territory. 17Please let us pass through your country. We won’t go through any field or vineyard. We won’t drink water from any well. We’ll travel along the King’s Highway. We won’t turn to the right or the left. We’ll just go straight through your territory.’ ”

18But the people of Edom answered,

“We won’t let you pass through here. If you try to, we’ll march out against you. We’ll attack you with our swords.”

19The Israelites replied,

“We’ll go along the main road. We and our livestock won’t drink any of your water. If we do, we’ll pay for it. We only want to walk through your country. That’s all we ask.”

20Again the people of Edom answered,

“We won’t let you pass through here.”

Then the people of Edom marched out against them. They came with a large and powerful army. 21Edom refused to let Israel go through their territory. So Israel turned away from them.

Aaron Dies

22The whole community of Israel started out from Kadesh. They arrived at Mount Hor. 23It was near the border of Edom. There the Lord spoke to Moses and Aaron. He said, 24“Aaron will join the members of his family who have already died. He will not enter the land I am giving to the Israelites. Both of you refused to obey my command. You did it at the waters of Meribah. 25So get Aaron and his son Eleazar. Take them up Mount Hor. 26Take Aaron’s official robes off of him. Put them on his son Eleazar. Aaron will die on Mount Hor. He will join the members of his family who have already died.”

27Moses did just as the Lord had commanded. The three men went up Mount Hor while the whole community was watching. 28Moses took Aaron’s official robes off of him. He put them on Aaron’s son Eleazar. And Aaron died there on top of the mountain. Then Moses and Eleazar came down from the mountain. 29The whole community found out that Aaron had died. So all the Israelites mourned for him for 30 days.