Okubala 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 2:1-34

Abakulembeze n’Ensiisira z’Ebika Byabwe

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 22:2 Kbl 1:52; Zab 74:4; Is 31:9“Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga okwebungulula Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bagyesuddeko akabanga naye nga bagyolekedde. Buli musajja anaawanikanga ebendera ye n’ebendera z’empya za bajjajjaabwe.”

32:3 Kbl 10:14; Lus 4:20; 1By 2:10Ebibinja by’olusiisira lwa Yuda binaasiisiranga ku ludda olw’enjuba gy’eva ne basimba awo ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu. 4Mu kibinja kye nga mulimu abaabalibwa emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

52:5 Kbl 1:8Ab’ekika kya Isakaali be banaasiisiranga okuliraana Yuda. Omukulembeze w’abantu ba Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali. 6Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

72:7 Kbl 1:9Ekika kya Zebbulooni kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni. 8Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

92:9 Kbl 10:14Abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Yuda abaabalibwa ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali baali emitwalo kkumi na munaana mu kakaaga mu ebikumi bina (186,400). Be banaakulemberanga.

102:10 Kbl 1:5Ku ludda olw’obukiikaddyo ebibinja eby’amaggye g’omu kika kya Lewubeeni gye banaasiisiranga, nga basimbye eyo n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli. 11Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu kakaaga mu ebikumi bitaano (46,500).

122:12 Kbl 1:6Ab’ekika kya Simyoni be banaabaddiriranga. Omukulembeze w’abantu ba Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi. 13Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

142:14 Kbl 1:14Ab’ekika kya Gaadi be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri. 15Abaabalibwa mu kibinja kye baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

162:16 Kbl 10:18Abasajja bonna okugatta awamu abaali mu lusiisira lwa Lewubeeni abaabalibwa, ng’ebibinja by’amaggye gaabwe bwe byali, baali emitwalo kkumi n’ettaano mu lukumi mu ebikumi bina mu amakumi ataano (151,450). Be banaabanga abookubiri okusitula ng’olugendo lutuuse.

172:17 Kbl 1:53; 10:21Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu eneesitulwanga ng’olugendo lutuuse nga yeebunguluddwa olusiisira lw’Abaleevi, ng’eri mu makkati g’ensiisira endala zonna. Banaasitulanga okutambula nga baddiriragana ng’enteekateeka y’ensiisira zaabwe bw’eri, buli musajja ng’agenda n’ebendera ye.

182:18 a Lub 48:20; Yer 31:18-20 b Kbl 1:10Ku ludda olw’ebugwanjuba y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Efulayimu nga bakutte n’ebendera zaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi. 19Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

202:20 Kbl 1:10Ekika kya Manase kye kinaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli. 21Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

222:22 Kbl 1:11; Zab 68:27Ekika kya Benyamini ne kiddako. Omukulembeze w’abantu ba Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni. 23Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

242:24 a Kbl 10:22 b Zab 80:2Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Efulayimu abaabalibwa ng’ebibinja byabwe bwe byali baali emitwalo kkumi mu kanaana mu kikumi (108,100). Bano be banaabanga abookusatu okusitula ng’olugendo lutuuse.

252:25 Kbl 1:12Ku ludda olw’obukiikakkono y’eneebeeranga olusiisira lw’ebibinja bya Ddaani n’ebendera yaabwe. Omukulembeze w’abantu ba Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi. 26Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

272:27 Kbl 1:13Ab’ekika kya Aseri be banaasiisiranga okubaddirira. Omukulembeze w’abantu ba Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani. 28Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

292:29 Kbl 1:15Ab’ekika kya Nafutaali be banaddangako. Omukulembeze w’abantu ba Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani. 30Ab’omu kibinja kye abaabalibwa baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

312:31 Kbl 10:25Okugatta awamu abasajja bonna abaali mu lusiisira lwa Ddaani baali emitwalo kkumi n’ettaano mu kasanvu mu lukaaga (157,600). Abo be banaasembangayo okusitula ng’olugendo lutuuse, ng’ebendera zaabwe bwe ziri.

322:32 Kuv 38:26; Kbl 1:46Abo be baana ba Isirayiri abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali. Okugatta abaali mu nsiisira bonna ng’ebibinja byabwe bwe byali, baawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550). 332:33 Kbl 1:47; 26:57-62Naye abaana ba Isirayiri bwe baali babalibwa, Abaleevi bo tebaabalibwa, kubanga bw’atyo Mukama bwe yalagira Musa.

34Abaana ba Isirayiri bwe batyo ne bakola ebyo byonna Mukama Katonda bye yalagira Musa. Bwe batyo bwe baasiisiranga ensiisira zaabwe ng’ebendera zaabwe bwe zaali, era bwe batyo bwe baasitulanga okutambula buli bantu mu bika byabwe ne mu mpya za bajjajjaabwe.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 2:1-34

营地的安排

1耶和华对摩西亚伦说: 2以色列人要各归本旗,按本族的旗号,在会幕四围稍远的地方安营。” 3东边,即日出的方向,是犹大营区及其旗号。犹大人的首领是亚米拿达的儿子拿顺4率领七万四千六百人。 5犹大支派旁边安营的是以萨迦支派,首领是苏押的儿子拿坦业6率领五万四千四百人。 7然后是西布伦支派,首领是希伦的儿子以利押8率领五万七千四百人。 9犹大营区的人共十八万六千四百人,他们是开路先锋。

10南边是吕便营区及其旗号。吕便人的首领是示丢珥的儿子以利苏11率领四万六千五百人。 12吕便支派旁边安营的是西缅支派,首领是苏利沙代的儿子示路蔑13率领五万九千三百人。 14然后是迦得支派,首领是丢珥的儿子以利雅萨15率领四万五千六百五十人。 16吕便营区共十五万一千四百五十人,他们是第二队。 17随后是会幕和利未人的营区,在其他各营中间。他们各就各位,各归本旗,照安营时的次序出发。

18西边是以法莲营区及其旗号。以法莲人的首领是亚米忽的儿子以利沙玛19率领四万零五百人。 20以法莲支派旁边是玛拿西支派,首领是比大苏的儿子迦玛列21率领三万二千二百人。 22然后是便雅悯支派,首领是基多尼的儿子亚比但23率领三万五千四百人。 24以法莲营区共十万八千一百人,他们是第三队。

25北边是营区及其旗号。人的首领是亚米沙代的儿子亚希以谢26率领六万二千七百人。 27支派旁边安营的是亚设支派,首领是俄兰的儿子帕结28率领四万一千五百人。 29然后是拿弗他利支派,首领是以南的儿子亚希拉30率领五万三千四百人。 31营区共有十五万七千六百人,他们是后队。

32以上照宗族和队伍统计的以色列人共六十万三千五百五十名。 33照耶和华对摩西的吩咐,利未人没被统计在其中。

34于是,以色列人照耶和华对摩西的吩咐,各按自己的旗号安营,各按自己的宗族启行。