Okubala 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Okubala 1:1-54

Okubala Abantu

11:1 a Kuv 40:2 b Kuv 19:1 c Kuv 40:17Awo Mukama Katonda n’ayogera ne Musa mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri ogw’omwaka ogwokubiri kasookedde abaana ba Isirayiri bava mu nsi y’e Misiri1:1 Kino kyabaawo oluvannyuma lw’omwezi gumu nga Abayisirayiri batuuse mu ddungu lya Sinaayi (Kuv 9:1), ate nga wayiseewo omwezi gumu bukya Eweema ya Mukama ezimbibwa (Kuv 40:17), ate n’oluvannyuma lw’ennaku kkumi na ttaano nga kyebajje bakwate Embaga ey’Okuyitako mu Sinaayi. N’amugamba nti: 21:2 Kuv 30:11-16; Kbl 26:2“Bala ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ng’obategeka mu bika byabwe, ne mu mpya zaabwe, ng’owandiika erinnya lya buli musajja kinnoomu ku lukalala. 31:3 Kuv 30:14Ggwe ne Alooni mujja kutegeka abasajja bonna ab’omu Isirayiri abawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, abatuuse okuyingira mu magye, mubabalire mu bibinja byabwe. 41:4 a nny 16 b Kuv 18:21; Ma 1:15Munaayambibwako omusajja omu omu okuva mu buli kika, nga ye mukulu w’oluggya lwa bajjajjaabe.

51:5 Lub 29:32; Ma 33:6; Kub 7:5“Gano ge mannya g’abasajja abajja okubayambako:

“Aliva mu kika kya Lewubeeni ye Erizuuli mutabani wa Sedewuli;

6mu kya Simyoni ye Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi;

71:7 a Lub 29:35; Zab 78:68 b Lus 4:20; 1By 2:10; Luk 3:32mu kya Yuda ye Nakusoni mutabani wa Amminadaabu;

81:8 Lub 30:18mu kya Isakaali ye Nesaneri mutabani wa Zuwaali;

91:9 nny 30mu kya Zebbulooni ye Eriyaabu mutabani wa Keroni.

101:10 nny 32Okuva mu baana ba Yusufu:

mu kya Efulayimu ye Erisaama mutabani wa Ammikudi;

mu kya Manase ye Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.

11Aliva mu kika kya Benyamini ye Abidaani mutabani wa Gidyoni;

121:12 nny 38mu kya Ddaani ye Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi;

131:13 nny 40mu kya Aseri ye Pagiyeeri mutabani wa Okulaani;

141:14 Kbl 2:14mu kya Gaadi ye Eriyasaafu mutabani wa Deweri;

151:15 nny 42mu kya Nafutaali ye Akira mutabani wa Enani.”

161:16 a Kuv 18:25 b nny 4; Kuv 18:21; Kbl 7:2Abo be basajja abaalondebwa okuva mu kibiina, nga be bakulembeze ab’ebika bya bajjajjaabwe. Abo nga be bakulu b’ebika bya Isirayiri.

Ebika n’obunene bwabyo

17Awo Musa ne Alooni ne batwala abasajja abo abaatuddwa amannya gaabwe, 181:18 a nny 1 b Ezr 2:59; Beb 7:3ne bakuŋŋaanya ekibiina ky’abantu bonna ku lunaku olw’olubereberye olw’omu mwezi ogwokubiri. Awo abantu bonna ne beewandiisa mu bujjajja bwabwe ne mu bika byabwe awamu ne mu mpya zaabwe. Abasajja abo abaali bawezezza emyaka amakumi abiri egy’obukulu n’okusingawo, amannya gaabwe ne gawandiikibwa kinnoomu ku lukalala, 19nga Mukama bwe yalagira Musa. Bw’atyo Musa n’ababalira mu Ddungu lya Sinaayi:

201:20 Kbl 26:5-11; Kub 7:5Ab’omu bazzukulu ba Lewubeeni, mutabani wa Isirayiri omubereberye:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 21Abaabalibwa okuva mu kika kya Lewubeeni baali emitwalo ena mu kakaaga mu bitaano (46,500).

221:22 Kbl 26:12-14; Kub 7:7Ab’omu bazzukulu ba Simyoni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 23Abaabalibwa okuva mu kika kya Simyoni baali emitwalo etaano mu kenda mu ebikumi bisatu (59,300).

241:24 Lub 30:11; Kbl 26:15-18; Kub 7:5Ab’omu bazzukulu ba Gaadi:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe, n’eby’empya zaabwe bwe byali. 25Abaabalibwa okuva mu kika kya Gaadi baali emitwalo ena mu enkumi ttaano mu lukaaga mu amakumi ataano (45,650).

261:26 Lub 29:35; Kbl 26:19-22; Mat 1:2; Kub 7:5Ab’omu bazzukulu ba Yuda:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 27Abaabalibwa okuva mu kika kya Yuda baali emitwalo musanvu mu enkumi nnya mu lukaaga (74,600).

281:28 Kbl 26:23-25; Kub 7:7Ab’omu bazzukulu ba Isakaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe, kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 29Abaabalibwa okuva mu kika kya Isakaali baali emitwalo etaano mu enkumi nnya mu ebikumi bina (54,400).

301:30 Kbl 26:26-27; Kub 7:8Ab’omu bazzukulu ba Zebbulooni:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 31Abaabalibwa okuva mu kika kya Zebbulooni baali emitwalo etaano mu kasanvu mu ebikumi bina (57,400).

321:32 Kbl 26:35-37Okuva mu batabani ba Yusufu:

Ab’omu bazzukulu ba Efulayimu

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 33Abaabalibwa okuva mu kika kya Efulayimu baali emitwalo ena mu ebikumi bitaano (40,500).

341:34 Kbl 26:28-34; Kub 7:6Ab’omu bazzukulu ba Manase:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 35Abaabalibwa okuva mu kika kya Manase baali emitwalo esatu mu enkumi bbiri mu ebikumi bibiri (32,200).

361:36 Kbl 26:38-41; 2By 17:17; Kub 7:8Ab’omu bazzukulu ba Benyamini:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 37Abaabalibwa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo esatu mu enkumi ttaano mu ebikumi bina (35,400).

381:38 Lub 30:6; Kbl 26:42-43Ab’omu bazzukulu ba Ddaani:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 39Abaabalibwa okuva mu kika kya Ddaani baali emitwalo mukaaga mu enkumi bbiri mu lusanvu (62,700).

401:40 Kbl 26:44-47; Kub 7:6Ab’omu bazzukulu ba Aseri:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 41Abaabalibwa okuva mu kika kya Aseri baali emitwalo ena mu lukumi mu ebikumi bitaano (41,500).

421:42 Kbl 26:48-50; Kub 7:6Ab’omu bazzukulu ba Nafutaali:

Abasajja bonna ab’emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye, baawandiikibwa amannya gaabwe kinnoomu, ng’ebiwandiiko by’ebika byabwe n’eby’empya zaabwe bwe byali. 43Abaabalibwa okuva mu kika kya Nafutaali baali emitwalo etaano mu enkumi ssatu mu ebikumi bina (53,400).

441:44 Kbl 26:64Abo be basajja Musa ne Alooni be baabala, nga bayambibwako abakulembeze ab’omu Isirayiri ekkumi n’ababiri, nga buli omu akiikiridde ekika kye. 45Abasajja bonna abaana ba Isirayiri abaali bawezezza emyaka egy’obukulu amakumi abiri n’okusingawo, nga batuuse n’okuyingira mu magye ga Isirayiri bwe batyo ne babalirwa mu bika byabwe. 461:46 Kuv 12:37; 38:26; Kbl 2:32; 26:51Obungi bwabwe bonna abaabalibwa okugatta awamu baali bawera emitwalo nkaaga mu enkumi ssatu mu ebikumi bitaano mu amakumi ataano (603,550).

Abaleevi bo Tebaabalibwa

471:47 a Kbl 2:33; 26:57 b Kbl 4:3, 49Abazzukulu ab’omu mpya ez’omu bika ebirala bwe baali babalibwa, bo ab’omu kika kya Leevi tebaabalibwa. 48Kubanga Mukama Katonda yali agambye Musa nti, 49“Ab’omu kika kya Leevi tababalanga wadde okubagatta awamu n’emiwendo gy’abaana ba Isirayiri abalala.” 501:50 Kuv 38:21; Bik 7:44Era n’amugamba nti, “Naye Abaleevi obawanga omulimu ogw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa n’ebintu byamu byonna awamu ne byonna ebigigenderako. Banaasitulanga Eweema n’ebyamu byonna, banaagirabiriranga era banaasiisiranga okugyetooloola. 511:51 Kbl 3:38; 4:1-33Eweema bw’eneebanga etwalibwa mu kifo ekirala, Abaleevi be banaagisimbulanga, era bwe kineetaagisanga okugissa mu kifo awalala, Abaleevi be banaagisimbangawo. Omuntu omulala yenna bw’anaagisembereranga anaafanga. 521:52 Kbl 2:2; Zab 20:5Abaana ba Isirayiri banaasiisiranga mu bibinja, nga buli musajja ali mu lusiisira lwe n’ebendera ye ku bubwe. 531:53 a Lv 10:6; Kbl 16:46; 18:5 b Kbl 18:2-4Naye Abaleevi bo banaasimbanga eweema zaabwe okwebungulula Eweema ey’Obujulirwa, abaana ba Isirayiri baleme kutuukibwako busungu bwa Mukama. Abaleevi be banaabanga n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira Eweema ey’Obujulirwa.”

54Abaana ba Isirayiri ne bakola ebyo byonna nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

民数记 1:1-54

以色列的第一次人口统计

1以色列人离开埃及后第二年的二月一日,耶和华在西奈旷野的会幕中对摩西说: 2“你要按以色列人的宗族和家系统计人口,登记所有男子的姓名。 3你和亚伦要一队一队地统计以色列人中二十岁以上、有作战能力的男子。 4每一支派要有一个人来协助你们。他们都是各宗族的族长, 5名单如下。

吕便支派示丢珥的儿子以利苏6西缅支派苏利沙代的儿子示路蔑7犹大支派亚米拿达的儿子拿顺8以萨迦支派苏押的儿子拿坦业9西布伦支派希伦的儿子以利押10约瑟的后裔——以法莲支派亚米忽的儿子以利沙玛玛拿西支派比大苏的儿子迦玛列11便雅悯支派基多尼的儿子亚比但12支派亚米沙代的儿子亚希以谢13亚设支派俄兰的儿子帕结14迦得支派丢珥的儿子以利雅萨15拿弗他利支派以南的儿子亚希拉。”

16他们都是从会众中选出来的,是各支派的首领,也是以色列的将领。

17摩西亚伦在这些族长的帮助下, 18在二月一日招聚全体会众,按照宗族和家系统计人口,登记所有二十岁以上的男子。 19摩西照耶和华的吩咐在西奈旷野统计人口。

20-21以色列的长子吕便支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有四万六千五百人。

22-23西缅支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有五万九千三百人。

24-25迦得支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有四万五千六百五十人。

26-27犹大支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有七万四千六百人。

28-29以萨迦支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有五万四千四百人。

30-31西布伦支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有五万七千四百人。

32-33约瑟的后裔中,以法莲支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有四万零五百人。

34-35玛拿西支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有三万二千二百人。

36-37便雅悯支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有三万五千四百人。

38-39支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有六万二千七百人。

40-41亚设支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有四万一千五百人。

42-43拿弗他利支派中,二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来,共有五万三千四百人。

44以上就是摩西亚伦和各代表自己家族的十二位以色列首领所统计的男子人数。 45这样,以色列人中二十岁以上、有作战能力的男子按宗族、家系和姓名一一被登记下来, 46共有六十万零三千五百五十人。 47其中不包括利未人, 48因为耶和华曾经对摩西说: 49“你不要统计利未支派的人数,不要把他们的人数算在以色列人中。 50你要派利未人负责搬运和照料放约柜的圣幕及其所有器具,他们要在圣幕四围扎营。 51在迁移的时候,利未人要负责拆卸和支搭圣幕;其他人若走近圣幕,必被处死。 52以色列人要按照他们的队伍各自扎营,各归本旗。 53利未人要在放约柜的圣幕四周扎营,防止以色列人触怒耶和华。利未人负责看守圣幕。” 54以色列人就按耶和华对摩西的吩咐行了。