Makko 14 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Makko 14:1-72

Omukazi Asiiga Yesu Amafuta ag’Omuwendo

114:1 a Yk 11:55; 13:1 b Mat 12:14Embaga ey’Okuyitako14:1 Embaga ey’Okuyitako: Mbaga ya Bayudaaya ejjukirirwako olunaku Malayika wa Mukama lwe yatta abaana ba Misiri ababereberye mu Misiri, kyokka n’alekawo Abayisirayiri. Abaana b’endiga oba ab’embuzi battibwanga ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi gwa Nisani (Maaki-Apuli) mu kukwata embaga eyo. Omukolo ogwo gwatandikibwanga mu ssaawa ez’akawungeezi ng’enjuba egoloobye ne guggwa ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro, kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, yali ebuzaayo ennaku bbiri etuuke. Bakabona abakulu n’abannyonnyozi b’amateeka ne basala olukwe engeri gye banaakwata Yesu bamutte. 2Ne bagamba nti, “Si mu kiseera ky’embaga y’Okuyitako, kubanga abantu bayinza okuleetawo akeegugungo.”

314:3 a Mat 21:17 b Luk 7:37-39Mu kiseera ekyo Yesu ng’ali Besaniya mu nnyumba y’omusajja eyali amanyiddwa nga Simooni Omugenge, ng’atudde, omukazi n’ayingira ng’alina eccupa, eyalimu amafuta ag’akaloosa ag’omuwendo omungi. N’ayasa eccupa n’asiiga amafuta ku mutwe gwa Yesu. 4Abamu ku abo abaaliwo ne basunguwalira nnyo ekikolwa ekyo, nga beebuuza nti, “Amafuta ago gafudde ki? 5Wakiri singa gatundiddwa dinaali ezisukka mu bikumi ebisatu, ne ziweebwa abaavu!” Ne bamwemulugunyiza.

6Naye Yesu n’abagamba nti, “Omukazi mumuleke. Lwaki mumuteganya? Ankoledde ekikolwa kirungi. 714:7 Ma 15:11Abaavu muli nabo bulijjo, era muyinza okubakolera obulungi buli we mwagalidde, naye Nze sijja kubeera nammwe bulijjo. 814:8 Yk 19:40Akoze ky’asobola, omubiri gwange agusiigiddewo amafuta ag’akaloosa nga bukyali, ng’aguteekateeka okuziikibwa. 914:9 Mat 24:14; Mak 16:15Ddala ddala mbagamba nti buli kifo kyonna Enjiri gy’eneebuulirwanga mu nsi yonna, ekikolwa ky’omukazi ono kinajjukirwanga era kinaayongerwangako okumujjukiranga.”

Yuda Alya mu Yesu Olukwe

1014:10 a Mak 3:16-19 b Mat 10:4Awo Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu ekkumi n’ababiri, n’agenda eri bakabona abakulu alabe bw’anaalyamu Yesu olukwe amubawe. 11Bakabona abakulu bwe baakiwulira ne basanyuka nnyo, ne bamusuubiza okumuwa ensimbi. Bw’atyo Yuda n’atandika okunoonyereza engeri entuufu w’anaaweerayo Yesu.

Ekyekiro kya Mukama Waffe

1214:12 Kuv 12:1-11; Ma 16:1-4; 1Ko 5:7Awo ku lunaku olusooka olw’embaga y’Abayudaaya kwe baliira emigaati egitali mizimbulukuse, nga bawaayo omwana gw’endiga ogw’Okuyitako nga ssaddaaka, abayigirizwa be ne bamubuuza nti, “Oyagala tukutegekere wa gy’onooliira Embaga ey’Okuyitako.”

13N’atuma babiri ku bayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mugende mu kibuga munaasanga omusajja eyeetisse ensuwa y’amazzi, mumugoberere. 14Muyingire mu nnyumba mw’anaayingira, mubuuze nnyinimu nti, ‘Ekisenge nze n’abayigirizwa bange mwe tunaalira Embaga ey’Okuyitako kiri ludda wa?’ 1514:15 Bik 1:13Ajja kubalaga ekisenge ekinene ekya waggulu, ekiwedde okulongoosa n’okutegeka. Muteekereteekere omwo ekijjulo kyaffe.”

16Awo abayigirizwa ababiri ne bagenda mu kibuga, ne basanga byonna nga Yesu bwe yabibagamba, ne bateekateeka Okuyitako.

17Obudde bwe bwawungeera n’atuuka n’abayigirizwa be ekkumi n’ababiri. 18Bwe baali batudde nga balya, Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe alya nange anandyamu olukwe.”

19Ennaku n’ebakwata nnyo, ne batandika okumubuuza kinnoomu nti, “Ddala ye nze?”

2014:20 Yk 13:18-27N’abagamba nti, “Omu ku mmwe ekkumi n’ababiri, akoza nange mu kibya. 2114:21 Mat 8:20Omwana w’Omuntu agenda ng’Ebyawandiikibwa bwe biri. Naye zimusanze alya mu Mwana w’Omuntu olukwe. Kyandibadde kirungi singa omuntu oyo teyazaalibwa.”

2214:22 Mat 14:19Awo bwe baali balya, Yesu n’addira omugaati, ne yeebaza, n’agumenyaamenyamu, n’agabira abayigirizwa be, n’abagamba nti, “Mutoole mulye, guno gwe mubiri gwange.”

2314:23 1Ko 10:16Ate n’addira ekikompe ne yeebaza n’akibawa; bonna ne banywa.

2414:24 Mat 26:28N’abagamba nti, “Guno musaayi gwange ogw’endagaano, oguyiika ku lw’abangi. 2514:25 Mat 3:2Ddala ddala mbagamba nti sigenda kuddayo kunywa ku kibala kya muzabbibu okutuusa ku lunaku luli lwe ndikinywa nga kisingawo obulungi mu bwakabaka bwa Katonda.”

2614:26 Mat 21:1Awo ne bayimbayo oluyimba, ne bafuluma ne bagenda ku lusozi olwa Zeyituuni.

Yesu Ategeeza Peetero nga bw’Anaamwegaana

2714:27 Zek 13:7Yesu n’abagamba nti, “Buli omu ku mmwe ajja kunjabulira, kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Ndikuba omusumba,

endiga ne zisaasaana.’

2814:28 Mak 16:7Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.”

29Peetero n’amugamba nti, “Abalala bonna ne bwe banaakwabulira, nze siikwabulire!”

3014:30 nny 66-72; Luk 22:34; Yk 13:38Yesu n’amugamba nti, “Ddala ddala nkugamba nti ekiro kya leero, enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onooneegaana emirundi esatu.”

3114:31 Luk 22:33; Yk 13:37Peetero n’akiggumiza nnyo ng’agamba nti, “Oba kufiira wamu naawe n’afa, naye sijja kukwegaana n’akamu kokka.” N’abalala bonna ne beerayirira bwe batyo.

Yesu mu Gesusemane

32Awo Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n’agamba abayigirizwa be nti, “Mugira mutuula wano, ŋŋende nsabe.” 3314:33 Mat 4:21N’atwala Peetero, ne Yakobo ne Yokaana; n’atandika okweraliikirira n’okuteganyizibwa mu mutima. 3414:34 Yk 12:27N’abagamba nti, “Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi nnyo zaagala na kunzita, kale mubeere wano mukuume.”

3514:35 nny 41; Mat 26:18Ne yeeyongerako mu maaso katono, n’agwa wansi n’asaba obanga kisoboka, essaawa eyo, ereme kutuuka. 3614:36 a Bar 8:15; Bag 4:6 b Mat 20:22 c Mat 26:39N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

37N’akomawo gye bali, n’abasanga nga beebase. N’agamba Peetero nti, “Simooni! Weebase? Tosobodde kutunulako nange wadde essaawa emu? 3814:38 a Mat 6:13 b Bar 7:22, 23Mutunule musabe, muleme kukemebwa. Omwoyo gwagala, naye omubiri munafu.”

39Ate n’abaleka awo n’addayo, n’asaba ebigambo bye bimu na biri bye yasaba olubereberye. 40N’akomawo we bali, n’abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambira. Ne batamanya kya kumuddamu.

4114:41 nny 35; Mat 26:18Bwe yadda gye bali omulundi ogwokusatu n’abagamba nti, “Kale mwebakire ddala. Kinaamala, laba ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu aweebweyo mu mikono gy’abalina ebibi. 42Musituke! Tugende, laba andyamu olukwe anaatera okutuuka.”

4314:43 Mat 10:4Yesu yali akyayogera, amangwago Yuda (omu ku batume be ekkumi n’ababiri) n’ajja ng’ali n’ekibiina kinene, ekyava ewa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, nga balina ebitala era nga bakutte emiggo.

44Yuda yali abagambye nti, “Gwe nnanywegera, ye wuuyo mumukwate, mumutwale nga mumunywezezza.” 4514:45 Mat 23:7Awo baali baakatuuka Yuda n’alaga eri Yesu, bwe yamutuukako n’agamba nti, “Omuyigiriza!” N’amugwa mu kifuba. 46Ne bavumbagira Yesu ne bamukwata, ne bamunyweza. 47Naye omu ku baali bayimiridde awo n’asowolayo ekitala n’asalako okutu kw’omuddu wa Kabona Asinga Obukulu.

48Yesu n’ababuuza nti, “Lwaki munzijjidde ng’omumenyi w’amateeka, n’ebitala n’emiggo okunkwata? 4914:49 a Mat 26:55 b Is 53:7-12; Mat 1:22Mbadde nammwe ennaku nnyingi mu yeekaalu nga njigiriza, naye temwankwata. Naye kino kikoleddwa ebyawandiikibwa bituukirire.” 5014:50 nny 27Bonna ne bamwabulira ne badduka.

51Naye waaliwo omulenzi omuvubuka eyali agoberera ng’avaako ennyuma, nga yeebikkiridde olugoye, lumu lwokka, ne baagezaako okumukwata, 52n’abeesumattulako, ne basigaza olugoye n’adduka bwereere.

Yesu mu Maaso g’Olukiiko

53Awo Yesu n’atwalibwa eri Kabona Asinga Obukulu, bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya n’abannyonnyozi b’amateeka. 5414:54 a Mat 26:3 b Yk 18:18Peetero n’agoberera nga yeesuddeko akabanga, n’ayita mu luggya lwa Kabona Asinga Obukulu, n’atuula ku kyoto n’abaweereza we baali bootera omuliro.

5514:55 Mat 5:22Bakabona abakulu, n’Abasaddukaayo bonna,14:55 Olukiiko olwo baaluyitanga Saniheduliini baali banoonya obujulizi kwe banaasinziira okutta Yesu, naye ne bubabula. 56Bangi baayogera eby’obulimba ku ye, naye obujulizi bwabwe nga bukoonagana bukoonaganyi.

57Abamu ku bo ne bamuwaayiriza nga bagamba nti, 5814:58 Mak 15:29; Yk 2:19“Twamuwulira ng’ayogera nti, ‘Ndizikiriza Yeekaalu eno eyazimbibwa n’emikono gy’abantu, naye oluvannyuma lw’ennaku ssatu ndizzaawo endala etazimbiddwa na mikono gy’abantu.’ ” 59Naye era n’olwo ebigambo byabwe tebyatereera bulungi.

60Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayimirira, n’abuuza Yesu nti, “Tolina ky’oddamu ku bino bye bakwogerako?” 6114:61 a Is 53:7; Mat 27:12, 14; Mak 15:5; Luk 23:9; Yk 19:9 b Mat 16:16; Yk 4:25, 26Yesu n’atamuddamu kintu. Ate Kabona Asinga Obukulu n’amubuuza nti, “Ggwe Kristo, Omwana w’oyo atenderezebwa?”

6214:62 Kub 1:7Yesu n’addamu nti, “Ye Nze, era mugenda kulaba Omwana w’Omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda Ayinzabyonna, ng’akomawo mu bire eby’eggulu.”

6314:63 Lv 10:6; 21:10; Kbl 14:6; Bik 14:14Awo Kabona Asinga Obukulu n’ayuza ebyambalo bye, n’agamba nti, “Ate twetaagira ki abajulizi? 6414:64 Lv 24:16Muwulidde obuvvoozi. Musala mutya omusango guno?”

Bonna ne bamusalira gwa kufa. 6514:65 Mat 16:21Abamu ne batandika okumuwandulira amalusu, ne bamusiba kantuntunu ku maaso, ne bamukuba empi mu maaso, nga bwe bamuduulira nga bagamba nti, “Lagula.” N’abaserikale nabo ne bamukuba ebikonde nga bamufulumya.

Peetero Yeegaana Yesu

6614:66 nny 54Peetero yali ali wabweru mu luggya, omu ku bawala abaweereza ba Kabona Asinga Obukulu n’ajja. 6714:67 a nny 54 b Mak 1:24Bwe yalaba Peetero n’amwetegereza ng’ayota omuliro, n’amugamba nti, “Ggwe, wali ne Yesu, Omunnazaaleesi.”

6814:68 nny 30, 72Peetero ne yeegaana ng’agamba nti, “Simanyi wadde okutegeera by’oyogerako!” N’afuluma n’alaga ebweru mu kisasi, enkoko n’ekookolima.

69Omuwala oli n’alengera Peetero, n’ategeeza banne abaali bayimiridde awo nti, “Ono ali omu ku bo.” 7014:70 a nny 30, 68, 72 b Bik 2:7Peetero n’ayongera okwegaana.14:70 Abagaliraaya baategeerebwanga ku njogera yaabwe. Newaakubadde nga baali Bayudaaya, enjogera yaabwe yali ya njawulo ku njogera y’Abayudaaya abalala

Bwe waayitawo akabanga, abantu abalala abaali bayimiridde awo ne bagamba Peetero nti, “Ddala ddala oli omu ku bo, kubanga oli Mugaliraaya!”

7114:71 nny 30, 72Peetero n’atandika, okukolima n’okulayira nga bw’agamba nti, “Omusajja ono gwe mwogerako, simumanyi.”

7214:72 nny 30, 68Amangwago enkoko n’ekookolima omulundi ogwokubiri, Peetero n’ajjukira ebigambo Yesu bye yali amugambye nti, “Enkoko eneeba tennakookolima mirundi ebiri, onoonneegaana emirundi esatu.” Awo Peetero n’atulika n’akaaba amaziga.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

馬可福音 14:1-72

謀害耶穌

1再過兩天就是逾越節和除酵節,祭司長和律法教師正暗暗地找機會拘捕、殺害耶穌。

2他們說:「我們不能在節期那天下手,以免在百姓中引起騷亂。」

耶穌受膏

3耶穌在伯大尼村患過痲瘋病的西門家裡吃飯,有個女人帶了一瓶極貴重的純哪噠香膏進來,把玉瓶打破,將香膏倒在耶穌頭上。 4有些人生氣地彼此議論說:「為什麼這樣浪費? 5這瓶香膏可以賣三百多個銀幣14·5 三百多個銀幣」相當於當時人們一年的工錢。來賙濟窮人。」他們就責備那女人。

6耶穌說:「隨她吧!何必為難她呢?她在我身上做的是一件美事。 7因為你們身邊總會有窮人,你們隨時都可以幫助他們,可是你們身邊不會總有我。 8她做了自己能做的。她是為我的安葬做準備,提前用香膏抹了我的身體。 9我實在告訴你們,無論福音傳到世界哪個角落,人們都會傳揚這女人的事蹟,紀念她。」

猶大出賣耶穌

10十二門徒當中的加略猶大去見祭司長,要把耶穌出賣給他們。 11他們聽了喜出望外,答應給他酬金。於是猶大伺機出賣耶穌。

最後的晚餐

12除酵節的第一天,就是宰殺逾越節羔羊的那天,門徒問耶穌:「我們該到什麼地方為你準備逾越節的晚餐呢?」

13耶穌就派了兩個門徒,並囑咐他們:「你們進城會看到一個人帶著一瓶水迎面而來,你們就跟著他。 14他進哪一家,你們也跟著進去,對那家的主人說,『我們的老師問你,祂的客房在哪裡,祂要和門徒在裡面吃逾越節的晚餐。』 15主人會帶你們到樓上一間布置整齊的大房間,你們就在那裡準備吧。」

16兩個門徒出去,進了城,所遇見的果然和耶穌所說的一樣。他們預備了逾越節的晚餐。

17傍晚時分,耶穌帶著十二門徒來了。 18用餐的時候,耶穌說:「我實在告訴你們,你們中間有一個人要出賣我,他現在正和我同桌吃飯。」

19他們聽了都感到不安,一個一個地問耶穌:「不是我吧?」 20耶穌說:「是你們十二個人中的一個,他現在正和我一起在盤子裡蘸餅吃。 21人子一定會受害,正如聖經的記載,但出賣人子的人有禍了,他還不如不生在這世上!」

22他們吃的時候,耶穌拿起餅來,祝謝後,便掰開,分給門徒,說:「拿去吃吧!這是我的身體。」 23接著又拿起杯來,祝謝後,遞給他們,他們都喝了。 24耶穌說:「這是我為萬人所流的立約之血。 25我實在告訴你們,從今天起,一直到我在上帝的國喝新酒的那天之前,我不會再喝這葡萄酒。」

26他們唱完詩歌,就出門去了橄欖山。

預言彼得不認主

27耶穌對他們說:「你們都要背棄我,因為聖經上說,

『我要擊打牧人,

羊群將四散。』

28但我復活後,要先你們一步去加利利。」

29彼得說:「即使所有人都背棄你,我也決不會背棄你!」

30耶穌說:「我實在告訴你,就在今天晚上雞叫兩次以前,你會三次不認我。」

31彼得鄭重地說:「就算要我跟你一起死,我也不會不認你。」其他門徒也都這樣說。

客西馬尼園的禱告

32他們到了客西馬尼園,耶穌對門徒說:「你們坐在這裡,我要去禱告。」

33於是耶穌帶著彼得雅各約翰向前走。祂覺得極其難過,非常傷痛, 34說:「我心裡非常憂傷,幾乎要死,你們留在這裡警醒。」 35耶穌往前走了不遠,俯伏在地禱告,如果可以,不要讓那時刻臨到祂。

36祂說:「阿爸,父啊,你無所不能,求你撤去此杯。然而,願你的旨意成就,而非我的意願。」

37祂回來,見他們都睡著了,就對彼得說:「西門,你在睡覺嗎?你不能警醒一時嗎? 38你們要警醒禱告,免得陷入誘惑。你們的心靈雖然願意,肉體卻很軟弱。」

39耶穌又去禱告,所祈求的跟上次一樣。 40祂回來時見他們又睡著了,因為他們睏得眼皮發沉,也不知道對祂說什麼。 41祂第三次禱告回來後,對他們說:「你們還在睡覺休息嗎?夠了,時候到了,看啊,人子要被出賣、交在罪人的手裡了。 42起來,我們走吧。看啊,出賣我的人已經來了!」

耶穌被捕

43耶穌還在說話的時候,十二門徒之一的猶大已帶了一群人拿著刀棍迎面而來。他們奉了祭司長、律法教師和長老之命來捉拿耶穌。 44出賣耶穌的猶大預先和他們定了暗號,說:「我親吻誰,誰就是耶穌,你們把祂抓起來,小心押走。」

45猶大隨即走到耶穌跟前說:「老師。」然後就親吻耶穌。 46其他人就下手捉拿耶穌。 47站在旁邊的一個門徒拔出刀朝大祭司的奴僕砍去,削掉了他一隻耳朵。

48耶穌問那群人:「你們像對付強盜一樣拿著刀棍來抓我嗎? 49我天天和你們在一起,在聖殿裡教導人,你們沒有來抓我。你們現在這樣做是要應驗聖經的話。」

50那時,門徒都撇下耶穌,各自逃命去了。 51只有一個身上披著一塊麻布的青年跟著耶穌。他們上去捉他, 52他丟了那塊麻布,赤身逃走了。

大祭司審問耶穌

53他們把耶穌押到大祭司那裡,眾祭司長、長老和律法教師都來了。 54那時彼得遠遠地跟著耶穌,一直來到大祭司的院子,與衛兵們坐在一起烤火。 55祭司長和全公會的人正在尋找證據控告耶穌,要定祂死罪,只是找不到。 56不少人作偽證控告祂,他們的證詞卻不一致。 57後來,有幾個人站起來作偽證說: 58「我們聽見祂說,『我要拆毀這座人手建造的聖殿,三天內不靠人力另造一座。』」 59即使這樣,他們的證詞也不一致。

60最後,大祭司在眾人面前站起來質問耶穌:「你不回答嗎?這些人作證控告你的是什麼呢?」

61耶穌還是沉默不語,什麼也不答。大祭司又問祂:「你是那當受稱頌者的兒子基督嗎?」 62耶穌說:「我是!將來你們要看見人子坐在全能上帝的右邊,駕著天上的雲降臨。」

63大祭司便撕裂衣服,說:「我們還需要什麼證人呢? 64你們聽見祂說褻瀆的話了,你們看怎麼辦?」他們都判祂死罪。

65有幾個人向祂吐唾沫,蒙上祂的眼睛,揮拳打祂,嘲笑祂說:「你說預言吧!」衛兵押祂下去時,也打祂。

彼得三次不認耶穌

66那時,彼得仍在院子裡,大祭司的一個婢女走過來, 67彼得在烤火,打量了他一番,說:「你也是那個拿撒勒人耶穌的同夥。」

68「我不知道也不明白你在說什麼!」彼得一邊否認,一邊躲到外院去。那時,雞叫了。

69一會兒,那婢女又看見彼得,就對旁邊的人說:「他是跟他們一夥的!」 70彼得又加以否認。

再過了一會兒,旁觀的人也指著彼得說:「你一定是跟他們一夥的,因為你也是加利利人!」

71彼得又賭咒又發誓,說:「我根本不認識你們說的這個人。」 72就在這時候,雞又叫了。彼得突然想起耶穌曾對他說:「在雞叫兩次以前,你會三次不認我」,忍不住痛哭起來。