Koseya 6 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Koseya 6:1-11

Obujeemu bwa Isirayiri

16:1 a Kos 5:14 b Ma 32:39; Yer 30:17; Kos 14:4“Mujje, tudde eri Mukama.

Atutaaguddetaagudde,

naye alituwonya;

atuleeseeko ebiwundu,

naye ebiwundu alibinyiga.

26:2 Zab 30:5Oluvannyuma olw’ennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku

olwokusatu alituzza buggya,

ne tubeera balamu mu maaso ge.

36:3 a Yo 2:23 b Zab 72:6Tumanye Mukama;

tunyiikire okumumanya.

Ng’enjuba bw’evaayo enkya,

bw’atyo bw’alirabika;

alijja gye tuli ng’enkuba ey’omu kiseera ky’omuzira,

era ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

46:4 a Kos 11:8 b Kos 7:1; 13:3Nkukolere ki, Efulayimu?

Nkukolere ki, Yuda?

Okwagala kwo kuli ng’olufu olw’enkya,

era ng’omusulo ogw’enkya ogukala amangu.

56:5 a Yer 1:9-10; 23:29 b Beb 4:12Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu,

ne mbatta n’ebigambo eby’omu kamwa kange,

era ne mbasalira emisango ng’okumyansa okw’eggulu.

66:6 a Is 1:11; Mat 9:13*; 12:7* b Kos 2:20Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,

era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

76:7 a Kos 8:1 b Kos 5:7Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano,

tebaali beesigwa.

8Gireyaadi kibuga ky’abakozi ba bibi,

era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.

96:9 Yer 7:9-10; Ez 22:9; Kos 7:1Ng’abatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo,

n’ebibiina bya bakabona

bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu,

ne bazza emisango egy’obuswavu.

106:10 a Yer 5:30 b Kos 5:3Ndabye eby’ekivve

mu nnyumba ya Isirayiri;

era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya,

ne Isirayiri gy’ayonoonekedde.

116:11 Yer 51:33; Yo 3:13“Naawe Yuda,

amakungula gatuuse.

“Bwe ndikomyawo emikisa gy’abantu bange,

Korean Living Bible

호세아 6:1-11

백성들의 진실하지 않은 회개

1그들이 이렇게 말할 것이다. “오라! 우리가 여호와께 돌아가자. 여호와께서 우리를 찢으셨으나 우리를 다시 낫게 하실 것이며 우리에게 상처를 입히셨으나 우리를 싸매 주실 것이다.

2여호와께서 이틀 후에 우리를 살리시며 3일째에 우리를 일으키실 것이므로 우리가 그 앞에서 살게 될 것이다.

3그러므로 여호와를 알자. 힘써 여호와를 알자. 그의 나타나심은 동이 트는 것처럼 확실하다. 비와 같이, 땅을 적시는 봄비같이 그가 우리에게 나오실 것이다.”

4그러나 여호와께서 말씀하신다. “이스라엘아, 내가 너를 어떻게 할까? 유다야, 내가 너를 어떻게 할까? 너희 사랑이 아침 안개와 같고 일찍 사라지는 이슬과 같구나.

5그래서 내가 내 예언자들을 통해 너희를 치고 내 입의 말로 너희를 죽였다. 내 심판은 번쩍이는 번개와 같다.

6나는 자비를 원하고 제사를 원치 않으며 불로 태워 바치는 번제보다 나를 아는 것을 원한다.

7“그러나 너희는 아담처럼 내 계약을 어기고 나를 배반하였다.

8길르앗은 피의 발자국으로 얼룩진 악인들의 성이다.

9제사장들이 강도떼처럼 숨어서 사람을 기다리며 세겜으로 가는 길에서 살인하고 온갖 죄를 범하고 있다.

10나는 이스라엘에서 끔찍한 일을 보았다. 에브라임이 우상을 섬겨 창녀짓을 하였으므로 이스라엘이 더럽혀지고 말았다.

11유다야, 6:11 또는 ‘내가 내 백성의 사로잡힘을 돌이킬 때에’내가 내 백성을 회복시키려고 징계할 때 너도 벌할 것이다.”