Isaaya 46 – LCB & TNCV

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 46:1-13

Bakatonda b’e Babulooni

146:1 a Is 21:9; Yer 50:2; 51:44 b Is 45:20Beri avunnama,

Nebo akutamye!

Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ez’omu nsiko, era ne ku nte.

Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.

246:2 Bal 18:17-18; 2Sa 5:21Bikutamye byonna bivuunamye.

Tebiyinza kuyamba ku mbeera,

byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.

346:3 nny 12“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo

n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.

Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,

be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.

446:4 a Zab 71:18 b Is 43:13Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.

Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.

Nze nabakola era nze nnaabawekanga.

Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

546:5 Is 40:18, 25“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya

era gwe mulingerageranyaako tufaanane?

646:6 a Is 40:19 b Is 44:17Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe

ne bapima ne ffeeza ku minzaani.

Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu n’agiweesaamu katonda waabwe,

ne bagwa wansi ne basinza.

746:7 a nny 1 b Is 44:17; 45:20Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo w’anaayimiriranga.

N’ayimirira awo,

n’atava mu kifo kye.

Oli ne bw’amukaabirira tayinza kumuddamu,

tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.

846:8 Is 44:21“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe.

Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.

946:9 a Ma 32:7 b Is 45:5, 21Mujjukire ebigambo ebyasooka eby’edda ennyo.

Kubanga nze Katonda, teri mulala.

Nze Katonda, teri ali nga nze;

1046:10 a Is 45:21 b Nge 19:21; Bik 5:39alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo.

Okuva ku mirembe egy’edda ennyo,

nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo

era ndituukiriza byonna bye nategeka.’

11Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala.

Omusajja46:11 Kino kyogera ku Kuulo ava ebuvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala.

Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza.

Nga bwe nategeka bwe nnaakola.

1246:12 a nny 3 b Zab 119:150; Is 48:1; Yer 2:5Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu,

abakyama ennyo ne bava mu kkubo ly’obutuukirivu.

1346:13 Is 44:23Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,

tebuli wala.

N’obulokozi bwange tebuulwewo.

Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,

ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

Thai New Contemporary Bible

อิสยาห์ 46:1-13

เทพเจ้าของบาบิโลน

1พระเบลหมอบลง พระเนโบก็ค้อมลง

เทวรูปของเขาบรรทุกมาบนหลังสัตว์46:1 หรือเทวรูปของเขาเป็นเพียงสัตว์ป่าและปศุสัตว์

เทวรูปที่ถูกแบกมานั้นหนักอึ้ง

เป็นภาระแก่ผู้อ่อนระโหย

2พระเหล่านั้นค้อมลงและหมอบลงด้วยกัน

ช่วยแบ่งเบาภาระอะไรไม่ได้เลย

เพราะมันเองก็ตกเป็นเชลยด้วยเหมือนกัน

3“วงศ์วานยาโคบเอ๋ย จงฟังเรา

วงศ์วานอิสราเอลทั้งปวงที่ยังเหลือรอดชีวิตอยู่

ผู้ซึ่งเราได้อุ้มชูไว้ตั้งแต่ปฏิสนธิ

และฟูมฟักมาตั้งแต่เจ้าเกิด

4จนกระทั่งเจ้าเข้าสู่วัยชราผมหงอก

เราคือผู้นั้น ผู้ซึ่งจะค้ำจุนเจ้า

เราได้สร้างเจ้าและจะฟูมฟักเจ้า

เราจะอุ้มชูและช่วยเจ้าให้รอด

5“เจ้าจะเปรียบเราและถือว่าเราเท่าเทียมกับผู้ใด?

เจ้าจะหาผู้ใดมาเทียบเราได้?

6มีคนเททองคำออกมาจากถุง

และชั่งเงินบนตาชั่ง

เขาจ้างช่างทองให้ทำเทพเจ้าขึ้นมา

แล้วเขาก็หมอบกราบนมัสการเทวรูปนั้น

7เขายกมันขึ้นบนบ่าแบกไป

เขาตั้งมันไว้ประจำที่ รูปนั้นก็อยู่ที่นั่น

เพราะมันขยับเขยื้อนไม่ได้

แม้มีคนสวดอ้อนวอน มันก็ไม่ตอบ

มันไม่สามารถช่วยให้เขาพ้นทุกข์ได้

8“จงจำข้อนี้ไว้ จำฝังใจไม่ลืมเลือน

จงจำใส่ใจ เจ้ากบฏทั้งหลาย

9จงจดจำสิ่งต่างๆ แต่เดิมเมื่อนานมาแล้ว

เราเป็นพระเจ้า ไม่มีพระอื่นใด

เราเป็นพระเจ้า ไม่มีผู้ใดเสมอเหมือน

10เราแจ้งอวสานตั้งแต่ตอนต้น

แจ้งสิ่งที่จะเกิดขึ้นตั้งแต่ครั้งโบราณ

เราลั่นวาจาไว้ว่าความมุ่งหมายของเราจะคงอยู่

เราจะทำทุกสิ่งตามที่เห็นชอบ

11เราจะเรียกนกล่าเหยื่อมาจากตะวันออก

ชายคนหนึ่งผู้ทำให้ลุล่วงตามความมุ่งหมายของเราจะมาจากแดนไกลลิบ

เราพูดอะไรไว้ เราจะทำให้เกิดขึ้น

เราวางแผนอะไรไว้ เราจะทำตามแผนนั้น

12จงฟังเรา เจ้าคนดื้อด้าน

ผู้ห่างไกลความชอบธรรม

13เรานำความชอบธรรมของเราเข้ามาใกล้แล้ว

มันอยู่ไม่ไกลเลย

ความรอดของเราจะมาถึงโดยไม่ล่าช้า

เราจะให้ความรอดของเราแก่ศิโยน

และความรุ่งเรืองของเราแก่อิสราเอล