Isaaya 39 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 39:1-8

Ababaka Okuva e Babulooni

139:1 2By 32:31Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka w’e Babulooni, n’aweereza Keezeekiya ebbaluwa n’ekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ng’awonye. 239:2 a 2By 32:31 b 2Bk 18:15Keezeekiya n’abasanyukira, n’abalaga ennyumba ye ey’ebintu bye eby’omuwendo omungi, effeeza ne zaabu, n’ebyakaloosa, n’amafuta ag’omuwendo omungi, n’ennyumba yonna ey’ebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga.

339:3 Ma 28:49Awo Isaaya nnabbi n’ajja eri kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gy’oli?”

Keezeekiya n’amuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi ey’ewala e Babulooni.”

4N’amubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?”

Keezeekiya n’addamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”

5Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti, “Wuliriza Mukama Katonda ow’Eggye ky’agamba: 639:6 2Bk 24:13; Yer 20:5Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo n’ebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo n’okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bw’ayogera Mukama. 739:7 2Bk 24:15; Dan 1:1-7N’abamu ku batabani bo, ggwe kennyini b’ozaala balitwalibwa mu lubiri lwa kabaka w’e Babulooni ne balaayibwa.”

839:8 2By 32:26Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti, “Ekigambo kya Mukama ky’oŋŋambye kirungi.” Kubanga yalowooza nti, “Kasita emirembe, n’obutebenkevu binaabangawo mu mulembe gwange.”

Korean Living Bible

이사야 39:1-8

바빌로니아의 사절단

1그때 발라단의 아들인 바빌로니아의 므로닥 – 발라단왕이 히스기야 가 병들었다가 회복되었다는 말을 듣고 편지와 선물을 보냈다.

2히스기야는 그 사절들을 환영하고 그들에게 자기 창고에 있는 은과 금과 향품과 값진 기름과 그리고 무기고에 있는 모든 것을 다 보여 주었으며 궁전과 나라 안에 있는 소중한 것 중에 보여 주지 않은 것이 하나도 없었다.

3그때 예언자 이사야가 히스기야왕에게 가서 물었다. “이 사람들이 왕에게 무슨 말을 하였으며 또 이들은 어디서 왔습니까?” “그들은 먼 나라 바빌로니아에서 왔습니다.”

4“그들이 궁전에서 무엇을 보았습니까?” “그들은 모든 것을 다 보았으며 궁전 창고에 있는 것 중에서 내가 그들에게 보여 주지 않은 것이 하나도 없습니다.”

5그때 이사야가 히스기야왕에게 말하였다. “왕은 여호와의 말씀을 들으십시오.

6여호와께서는 왕의 조상들이 오늘날까지 궁전 창고에 쌓아 둔 그 모든 것이 바빌로니아로 옮겨지고 하나도 남지 않을 것이며

7또 왕의 아들 중 몇 사람이 끌려가 바빌로니아 왕의 궁전에서 내시가 될 것이라고 말씀하셨습니다.”

8그러자 히스기야왕은 적어도 자기 시대에는 평화와 안전이 있을 것을 알고 “당신이 말한 여호와의 말씀은 다 좋습니다” 하고 대답하였다.