Oluyimba 1 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Oluyimba 1:1-17

11:1 1Bk 4:32Oluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.

Omwagalwa

21:2 Lu 4:10Leka annywegere n’emimwa gye

kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,

31:3 a Lu 4:10 b Mub 7:1 c Zab 45:14n’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;

erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,

era abawala kyebava bakwagala.

41:4 Zab 45:15Baako ne gy’ontwala, yanguwa!

Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.

Abemikwano

Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;

era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.

Omwagalwa

Nga batuufu okukwegomba!

51:5 a Lu 2:14; 4:3 b Lu 2:7; 5:8; 5:16Ndi muddugavu, ndi mulungi,

Mmwe abawala ba Yerusaalemi

muli ng’eweema ez’e Kedali,1:5 Abantu b’e Kedali baali Bawalabu abaabeeranga mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba wa Edomu. Baabeeranga mu weema ze baakolanga mu maliba g’embuzi enzirugavu.

era ng’entimbe za Sulemaani.

61:6 Zab 69:8; Lu 8:12Temuntunuulira kubanga ndi muddugavu,

olw’okuba omusana gunjokezza.

Batabani ba mmange baansunguwalira;

ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.

Ennimiro yange ngigayaaliridde.

71:7 Lu 3:1-4; Is 13:20Ntegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,

ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.

Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso

nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?

Abemikwano

81:8 Lu 5:9; 6:1Bw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,

goberera ekkubo endiga lye zikutte,

ogende oliisize embuzi zo ento,

okumpi n’eweema z’abasumba.

Owoomukwano

91:9 2By 1:17Omwagalwa wange,

nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.

101:10 a Lu 5:13 b Is 61:10Amatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,

n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.

11Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,

nga birina amapeesa aga ffeeza.

Omwagalwa

121:12 Lu 4:11-14Kabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,

akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.

13Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli1:13 Mooli kaloosa kalungi nnyo akakolebwa okuva mu balusamu nga kasangibwa mu Esiyopya, ne mu Buyindi, ne mu nsi za Buwalabu. Mooli yakozesebwanga ng’obuwoowo mu biseera ebyo gye ndi,

ng’awummulidde mu kifuba kyange.

141:14 a Lu 4:13 b 1Sa 23:29Muganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera1:14 Kofera kimuli ky’akaloosa kalungi, era kikolebwamu obuwoowo.

ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.1:14 Engedi nsulo y’amazzi esangibwa ku luuyi olw’obugwanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo, era we luli wamerawo ebimera ebyakaloosa bingi.

Owoomukwano

151:15 a Lu 4:7 b Lu 2:14; 4:1; 5:2, 12; 6:9Laba, oli mubalagavu, omwagalwa wange

oli mubalagavu olabika bulungi.

Amaaso go mayiba.

Omwagalwa

16Olabika bulungi muganzi wange,

era onsanyusa.

Ekitanda kyaffe kya muddo muto.

Owoomukwano

171:17 1Bk 6:9Emikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,

n’enzooba zaffe nkanaga.

Korean Living Bible

아가 1:1-17

1이것은 솔로몬이 지은 노래 중의 노래이다.

첫번째 노래

2(여자) 나에게 입맞춰 주세요. 당신의 사랑은 포도주보다 더 달콤합니다.

3당신의 기름이 향기롭고 당신의 이름이 쏟은 향수와 같으므로 처녀들이 당신을 사랑합니다.

4나를 데려가 주세요. 자, 함께 달려갑시다. 왕이 나를 자기 궁전으로 데려가셨으니 우리는 정말 행복할 것입니다. 당신의 사랑이 포도주보다 나으므로 모든 여자들이 당신을 사랑하는 것도 당연합니다.

5예루살렘의 여자들아, 나는 비록 검지만 아름답단다. 내가 1:5 원문에는 ‘계달의 장막 같을지라도’검은 천막처럼 그을렸어도 솔로몬 궁전의 휘장처럼 아름답단다.

6내 피부가 검다고 나를 흘겨보지 말아라. 햇볕에 그을렸을 뿐이란다. 내 오빠들이 화를 내어 나를 포도원에서 일하게 하였으므로 내가 몸을 돌볼 시간이 없었다.

7내가 사랑하는 님이시여, 오늘은 당신이 양떼를 어디서 먹이며 정오에는 어디에서 쉬는지 말해 주세요. 어째서 내가 이리저리 방황하며 당신 친구들의 양떼 가운데서 당신을 찾아야 합니까?

8(남자) 세상에서 가장 아름다운 여인이여, 그대가 나 있는 곳을 모른다면 내 양떼의 발자취를 따라 목자들의 천막 곁에서 그대의 염소 새끼를 먹이시오.

9나의 사랑이여, 그대는 암망아지처럼 사랑스럽구려.

10머리를 늘어뜨린 그대의 뺨과 목걸이로 장식한 그대의 목이 참으로 아름답소이다.

11우리가 그대를 위해 금으로 귀고리를 만들어 은을 박아 주겠소.

12(여자) 왕이 식탁에 앉았을 때 내 향수 냄새가 진동하였네.

13내 사랑하는 님은 내 품속의 몰약 주머니 같고

141:14 또는 ‘엔게디 포도원의 고벨화 송이로구나’엔 – 게디 정원의 꽃송이 같구나.

15(남자) 나의 사랑이여, 그대는 정말 아름답구려. 그대의 눈은 비둘기 같소이다.

16(여자) 나의 사랑하는 님이시여, 당신은 정말 멋있고 잘생겼습니다. 우리 침대는 푸른 풀밭이요

17우리 집의 들보는 백향목이며 서까래는 잣나무입니다.