Isaaya 36 – LCB & CARST

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 36:1-22

Sennakeribu Atiisatiisa Yerusaalemi

136:1 2By 32:1Awo olwatuuka, mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka w’e Bwasuli n’ayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe n’abiwamba. 236:2 Is 7:3Awo kabaka w’e Bwasuli n’asindika Labusake omuduumizi we ow’oku ntikko okuva e Lakisi n’eggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono n’asimba amakanda ku mabbali g’omukutu gw’amazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro y’Omwozi w’Engoye. 336:3 a Is 22:20-21 b 2Bk 18:18Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.

4Labusake n’abagamba nti,

“Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga? 536:5 2Bk 18:7Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi n’amagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere? 636:6 a Is 30:2, 5 b Ez 29:6-7Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo z’omuntu ng’alwesigamyeko: bw’atyo Falaawo, ye kabaka w’e Misiri bw’ayisa bonna abamwesiga.’ 736:7 a 2Bk 18:4 b Ma 12:2-5Naye bw’onoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe,’ si ye yali nannyini byoto n’ebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo n’agamba Yuda ne Yerusaalemi nti, ‘Mu maaso g’ekyoto kino we munaasinzizanga’?

8“ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka w’e Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bw’obanga ddala olina abanaazeebagala. 936:9 a Is 31:3 b Is 30:2-5Mu mbeera eyo gy’olimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali n’embalaasi za Misiri? 1036:10 1Bk 13:18Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno n’okugizikiriza nga Mukama si y’andagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”

1136:11 Ezr 4:7Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera n’abaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya36:11 Oluyudaaya lwe lulimi olwekikungu olwakozesebwanga mu biro ebyo. Oluyudaaya lwafuukira ddala olulimi Abayudaaya lwe bakozesa okuva mu 5 bc. ng’abantu abali ku bbugwe bawulira.”

12Naye Labusake n’ayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo n’eri ggwe mwekka, so si n’eri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe n’okunywa omusulo gwabwe?”

1336:13 2By 32:18Awo Labusake n’ayimirira n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka mu lulimi olw’Abayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka w’e Bwasuli. 14Kabaka agambye bw’ati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya. 1536:15 Is 37:10Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ng’abagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’

1636:16 a 1Bk 4:25; Zek 3:10 b Nge 5:15“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bw’ati bw’ayogera kabaka w’e Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lw’alirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi ag’omu kidiba kye, 17okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi ey’eŋŋaano ne wayini, ensi ey’emigaati n’ennimiro ez’emizabbibu.’ 

18“Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ng’ayogera nti, ‘Mukama alibalokola.’ Waliwo katonda yenna ow’amawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli? 19Bali ludda wa bakatonda ab’e Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda ab’e Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange? 2036:20 1Bk 20:23Baani ku bakatonda bonna ab’ensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”

2136:21 Nge 9:7-8; 26:4Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”

22Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi w’ebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Исаия 36:1-22

Синаххериб угрожает Иерусалиму

(4 Цар. 18:13-37; 2 Лет. 32:1-19)

1На четырнадцатом году правления царя Езекии (в 701 г. до н. э.) Синаххериб36:1 Синаххериб был сыном и преемником Саргона II. Он правил с 705 по 681 гг. до н. э., царь Ассирии, напал на все укреплённые города Иудеи и захватил их. 2Затем царь Ассирии послал из Лахиша к царю Езекии в Иерусалим главного виночерпия36:2 Главный виночерпий был одним из самых важных лиц при дворе, которому царь доверял свою жизнь. с огромным войском. Когда он остановился у водопровода Верхнего пруда на дороге к Сукновальному полю, 3к нему вышли распорядитель дворца Элиаким, сын Хилкии, писарь Шевна и летописец Иоах, сын Ософа.

4Главный виночерпий сказал им:

– Скажите Езекии: Так говорит великий царь, царь Ассирии: «Откуда у тебя эта уверенность? 5Ты думаешь, что пустые слова – то же самое, что военное искусство и сила? На кого же ты надеешься, что восстал против меня? 6Вот ты надеешься на Египет, эту надломленную трость, которая пронзит ладонь всякому, кто на неё обопрётся. Фараон, царь Египта, поступает так со всеми, кто на него надеется. 7А если ты скажешь мне: „Мы надеемся на Вечного, нашего Бога“, то не Его ли святилища на возвышенностях и жертвенники убрал Езекия, сказав Иудее и Иерусалиму: „Поклоняйтесь только перед этим жертвенником“?36:7 Виночерпий ложно предполагал, что Езекия оскорбил Вечного, разрушив святилища и тем самым лишив Его всех жертвенников, кроме одного, который находился в Иерусалиме (см. 4 Цар. 18:4; 2 Лет. 31:1).

8Итак, заключи сделку с моим господином, царём Ассирии: я дам тебе две тысячи коней, только найдёшь ли ты для них всадников? 9Как ты сможешь отразить хотя бы наименьшего военачальника у моего господина, даже надеясь на египетские колесницы и всадников? 10Да и разве не по воле Вечного я двинулся на эту страну, чтобы уничтожить её? Вечный Сам сказал мне пойти на эту страну и уничтожить её».

11Тогда Элиаким, Шевна и Иоах сказали главному виночерпию:

– Пожалуйста, говори с твоими рабами по-арамейски, ведь мы понимаем этот язык. Не говори с нами по-еврейски при народе, что стоит на стене.

12Но главный виночерпий ответил:

– Разве мой господин послал меня сказать это только вашему господину и вам, а не людям, находящимся на стене, которые, как и вы сами, будут есть свой кал и пить свою мочу?

13Главный виночерпий встал и громко закричал по-еврейски:

– Слушайте слово великого царя, царя Ассирии! 14Так говорит царь: «Не давайте Езекии обманывать вас. Он не может избавить вас. 15Не давайте Езекии убедить вас положиться на Вечного, когда он говорит: „Вечный непременно спасёт нас; этот город не будет отдан в руки царя Ассирии“. 16Не слушайте Езекию».

Так говорит царь Ассирии: «Заключите со мной мир и выходите ко мне. Тогда все вы будете есть плоды со своей лозы и инжира и пить воду из своего колодца, 17пока я не приду и не возьму вас в страну, такую же, как ваша, в страну зерна и вина, страну хлеба и виноградников. 18Не давайте Езекии сбить себя с толку, когда он говорит вам: „Вечный спасёт нас“. Разве какой-либо бог другого народа избавил свою страну от руки царя Ассирии? 19Где боги Хамата и Арпада? Где боги Сепарваима? Разве кто-нибудь избавил от моей руки Сомарию? 20Кто из богов всех этих земель смог избавить от меня свою страну? Как же Вечный сможет избавить от моей руки Иерусалим?»

21Но народ молчал и ничего не говорил в ответ, потому что царь приказал не отвечать ему. 22И распорядитель дворца Элиаким, сын Хилкии, писарь Шевна и летописец Иоах, сын Ософа, пришли к Езекии в разорванных одеждах36:22 Такой внешний вид был знаком глубокой скорби. и передали ему то, что сказал главный виночерпий.