Isaaya 26 – LCB & KLB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 26:1-21

Oluyimba olw’Okutendereza

126:1 a Is 14:32 b Is 60:18Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda.

Tulina ekibuga eky’amaanyi;

Katonda assaawo obulokozi

okuba bbugwe waakyo n’ekigo kyakyo.

226:2 Is 54:14; 58:8; 62:2Ggulawo wankaaki,

eggwanga ettukuvu liyingire,

eggwanga erikuuma okukkiriza.

3Mukama alikuuma mirembe

oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

426:4 Is 12:2; 50:10Weesigenga Mukama ennaku zonna,

kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.

526:5 Is 25:12Mukama lwe lwazi olutaggwaawo,

akkakkanya ekibuga eky’amalala,

akissa wansi ku ttaka,

n’akisuula mu nfuufu.

626:6 Is 3:15Kirinnyirirwa

ebigere by’abanyigirizibwa,

n’ebisinde by’abaavu.

726:7 Is 42:16Ekkubo ly’abatuukirivu ttereevu;

Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lw’omutuukirivu.

826:8 a Is 56:1 b Is 12:4Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira

nga tutambulira mu mateeka go,

era erinnya lyo n’okumanyibwa kwo

kwe kwegomba kw’emitima gyaffe.

926:9 a Zab 63:1; 78:34; Is 55:6 b Mat 6:33Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro,

omwoyo gwange gukunoonyeza ddala.

Bw’osalira ensi omusango,

abantu b’ensi bayiga obutuukirivu.

1026:10 a Is 32:6 b Is 22:12-13; Kos 11:7; Yk 5:37-38; Bar 2:4Omukozi w’ebibi ne bw’akolerwa ebyekisa,

tayiga butuukirivu.

Ne bw’abeera mu nsi ey’abatuukiridde,

yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.

1126:11 a Is 44:9, 18 b Beb 10:27Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,

naye tebagulaba.

Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,

omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.

12Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe,

n’ebyo byonna bye tukoze, ggw’obitukoledde.

1326:13 a Is 2:8; 10:5, 11 b Is 63:7Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.

1426:14 a Ma 4:28 b Is 10:3Baafa, tebakyali balamu;

egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka.

Wababonereza n’obazikiriza,

wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.

1526:15 Is 33:17Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda

ogaziyizza eggwanga.

Weefunidde ekitiibwa,

era ogaziyizza ensalo zonna ez’ensi.

1626:16 Kos 5:15Mukama Katonda, bajja gy’oli mu nnaku yaabwe,

bwe wabakangavvula,

tebaasobola na kukusaba mu kaama.

1726:17 Yk 16:21Ng’omukyala ow’olubuto anaatera okuzaala,

bw’alumwa n’akaaba mu bulumi,

bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.

1826:18 a Is 33:11; 59:4 b Zab 17:14Twali lubuto, twalumwa,

naye twazaala mpewo

Tetwaleeta bulokozi ku nsi,

tetwazaala bantu ba nsi.

1926:19 a Is 25:8; Bef 5:14 b Ez 37:1-14; Dan 12:2Naye abafiira mu ggwe balirama,

emibiri gyabwe girizuukira.

Mugolokoke,

muleekaane olw’essanyu.

Ssuulwe wo ali ng’omusulo ogw’oku makya,

ensi erizaala abafudde.

2026:20 a Kuv 12:23 b Zab 91:1, 4 c Zab 30:5; Is 54:7-8Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe

muggalewo enzigi zammwe.

Mwekweke okumala akabanga katono,

okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.

2126:21 a Yud 14 b Mi 1:3 c Is 13:9, 11; 30:12-14 d Yob 16:18; Luk 11:50-51Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gy’abeera

okubonereza abantu b’ensi olw’ebibi byabwe.

Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako,

era teriddayo nate kukweka abattibwa.

Korean Living Bible

이사야 26:1-21

구원의 노래

1그 날에 사람들이 유다 땅에서 이런 노래를 부를 것이다:

우리의 성은 튼튼하다.

하나님이 직접

우리의 성벽을 지키신다.

2너희는 성문을 열고

26:2 또는 ‘신을 지키는 의로운 나라’여호와를 사랑하는 자는

누구든지 들어오게 하라.

3여호와는 자기를 의지하고

마음이 한결같은 자에게

완전한 평안을 주신다.

4너희는 여호와를 항상 신뢰하라.

주 여호와는 영원한 반석이시다.

5그가 교만한 자들을 낮추시고

그들이 사는 강한 성을 파괴하시며

그 성벽을 완전히

헐어 버리셨으므로

6가난하고 학대받던 자들이

그 위를 밟고 걸어다니는구나.

7여호와여,

주께서 의로운 자들의 길을 곧게 하시므로

그들의 길이 평탄합니다.

8우리는

주의 뜻에 따르기를 좋아하며

우리의 소원은

주의 이름을 영광스럽게 하는 것입니다.

9밤에 내 영혼이 주를 찾고

내 마음이 주를 간절히 사모하는 것은

주께서 세상을

심판하실 것이기 때문입니다.

그 때가 되면 사람들은

의가 무엇인지 알게 될 것입니다.

10주는 악인들에게 은혜를 베푸셔도

그들은 옳은 일을 배우지 않으며

의로운 사람들의 땅에서까지

악을 행하고 주의 위엄을

대수롭지 않게 여깁니다.

11여호와여,

주께서 그들을 벌하시려고

주의 손을 높이 들어도

그들은 그것을 보지 않습니다.

주께서 주의 백성을

얼마나 사랑하시는지

그들에게 보여 주소서.

그러면 그들이 부끄러워할 것입니다.

그리고 주의 원수들을 위해

예비하신 불로

그들을 소멸하소서.

12여호와여,

주께서는 우리를 위해서

모든 일을 성취하심으로

우리에게 평안을 주실 것입니다.

13여호와 우리 하나님이시여,

우리가 다른 왕들의

지배를 받아왔지만

우리가 섬기는 여호와는

주밖에 없습니다.

14그들은 죽었으므로

다시 살지 못할 것이며

죽은 그들의 영혼이

돌아오지 못할 것입니다.

주께서 그들을 벌하여

없애 버리셨으므로

더 이상 그들을

기억하는 자가 없습니다.

15여호와여,

주는 우리의 영토를 넓혀

이 나라를 크게 하심으로

영광을 얻으셨습니다.

16여호와여, 주께서

주의 백성을 벌하셨으므로

그들이 고통 가운데서

주께 기도하였습니다.

17임신부가 해산할 때가 되어

뒹굴며 고통스러워 부르짖는 것처럼

우리가 주 앞에서

괴로워하며 부르짖습니다.

1826:18 원문의 뜻이 분명치 않다.우리가 해산하듯이 괴로워하였으나

아무것도 낳은 것이 없으며

얻은 소득이 하나도 없습니다.

19죽었던 하나님의 백성들이

다시 살아날 것이며

그 시체가 다 일어날 것이다.

무덤에서 잠자는 자들아,

다 깨어나 기쁨으로 노래하라.

영롱한 이슬이

땅을 신선하게 하듯

여호와께서 오래 전에 죽은 자들을

다시 살리실 것이다.

심판과 회복

20내 백성들아, 너희 집으로 들어가서 문을 닫고 여호와의 분노가 끝날 때까지 잠시 숨어 있거라.

21보라! 여호와께서 세상 사람들의 죄에 대하여 그들을 벌하시려고 그 계신 곳에서 나오신다. 땅이 그 위에 뿌려진 피를 드러내고 더 이상 살해당한 자를 숨기지 않을 것이다.