Isaaya 16 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 16:1-14

116:1 a 2Bk 3:4 b 2Bk 14:7 c Is 10:32“Muweereze abaana b’endiga

eri oyo afuga ensi,

okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu,

okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.

216:2 a Nge 27:8 b Kbl 21:13-14; Yer 48:20Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu

n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri,

bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu

awasomokerwa Alunooni.16:2 Alunooni mugga mukulu mu Mowaabu; guli nsalo ey’obukiikakkono

316:3 1Bk 18:4“Tuwe ku magezi,

tubuulire, tukole tutya?

Mutusiikirize mubeere ng’ekittuluze

wakati mu ttuntu,

Abajja bagobebwa mubakweke,

abajja badaaga temubalyamu lukwe.

416:4 Is 9:4Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe.

Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.”

Omujoozi bw’aweddewo,

n’okubetentebwa ne kuggwaawo;

omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.

516:5 a Dan 7:14; Mi 4:7 b Luk 1:32 c Is 9:7Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala,

era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi

alamula mu bwesigwa

era anoonya obwenkanya

era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.

616:6 a Am 2:1; Zef 2:8 b Ob 3; Zef 2:10Tuwulidde amalala ga Mowaabu,

nga bw’ajjudde okwemanya,

n’amalala ge n’okuvuma;

naye okwemanya kwe tekugasa.

716:7 a Yer 48:20 b 1By 16:3 c 2Bk 3:25Noolwekyo leka Mowaabu akaabe,

leka buli muntu akaabire ku Mowaabu.

Mukungubage,

musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.

8Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze,

n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo.

Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala

emiti gyabwe egyasinganga obulungi,

egyabunanga ne gituuka e Yazeri

nga giggukira mu ddungu

n’emitunsi nga gibuna

nga gituukira ddala mu nnyanja.

916:9 a Is 15:3 b Yer 40:12Noolwekyo kyenva nkaaba amaziga nga Yazeri bw’akaaba

olw’omuzabbibu ogw’e Sibuma.

Nakufukirira nkutobye n’amaziga gange,

ggwe Kesuboni ne Ereyale:

kubanga essanyu ery’ebibala byo

n’ebyokukungula byo lizikiziddwa.

1016:10 a Is 24:7-8 b Bal 9:27 c Yob 24:11Ennimiro engimu ziweddemu essanyu n’okweyagala;

ne mu nnimiro z’emizabbibu temuliba ayimba wadde aleekaana;

mu masogolero temulibaamu musogozi asogoleramu nvinnyo;

okuleekaana kw’omusogozi ng’asogola kukomye.

1116:11 a Is 15:5 b Is 63:15; Kos 11:8; Baf 2:1Omutima gwange kyeguva gukaabira Mowaabu mu ddoboozi ng’ery’ennanga,

emmeeme yange munda n’ekaabira Kirukeresi.

1216:12 a Is 15:2 b 1Bk 18:29Awo Mowaabu bw’alyeyanjula, mu bifo ebigulumivu,

alyekooya yekka;

bw’aligenda okusamira,

tekirimuyamba.

13Ekyo kye kigambo Mukama kye yayogera ku Mowaabu mu biro eby’edda. 1416:14 a Is 25:10; Yer 48:42 b Is 21:17Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 16:1-14

1摩押人从西拉穿过旷野,来到锡安城的山,

把羊羔献给那里的掌权者。

2亚嫩河渡口,

摩押16:2 摩押人”希伯来文是“摩押的女子”。如同被赶离巢穴的飞鸟。

3他们对犹大人说:“给我们出个主意,伸张正义吧!

请让你们的影子在正午如黑夜,

遮盖逃难的人,

不要出卖逃亡者。

4让我们这些逃难的摩押人留在你们那里,

好躲避毁灭者。”

欺压和毁灭之事终必停止,

入侵者终必从地上消失。

5那时,必有一个宝座在爱中坚立,

大卫家的人必坐在上面以信实治国,

秉公审判,速行公义。

6我们听说摩押人心骄气傲、狂妄自大,

然而他们所夸耀的都是虚假的。

7他们必为摩押哀哭,

人人都必哀哭,

为不再有吉珥·哈列设的美味葡萄饼而哀叹、悲伤。

8因为希实本的农田荒废,

西比玛的葡萄树枯萎。

各国的君王都来践踏这些上好的葡萄树。

它们的枝子曾经伸展到雅谢和旷野,

嫩枝一直蔓延到海。

9因此,我像雅谢人一样为西比玛的葡萄树哀哭。

希实本以利亚利啊,

我用眼泪来浇灌你们,

因为再无人为你们的果品和庄稼而欢呼了。

10肥美的田园里听不到快乐的声音,

葡萄园里也无人歌唱欢呼,

榨酒池里无人榨酒。

我已经使欢呼声止息。

11我的内心为摩押

吉珥·哈列设哀鸣,

好像凄凉的琴声。

12摩押人上丘坛祭拜,

却落得筋疲力尽;

在庙宇里祷告,

却毫无用处。

13以上是耶和华所说有关摩押的预言。 14现在,耶和华说:“正如一个雇工的工作年限是三年,摩押的荣耀也必在三年之内消失,那里的人民必遭藐视,残存的人必寥寥无几、软弱无力。”