Engero 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 12:1-28

112:1 Nge 9:7-9; 15:5, 10, 12, 32Buli asanyukira okukangavvulwa ayagala amagezi;

naye oyo akyawa okunenyezebwa musirusiru.

2Omuntu omulungi aganja mu maaso ga Mukama,

naye Mukama asalira omusango omuntu ow’enkwe.

312:3 Nge 10:25Omuntu tanywezebwa lwa kukola bitali bya butuukirivu,

naye omulandira gw’omutuukirivu tegulisigulwa.

412:4 Nge 14:30Omukyala ow’empisa ennungi ssanyu era ngule ya mwami we,

naye omukazi eyeeyisa obubi ali nga kookolo mu magumba ga bba.

5Enteekateeka z’omutuukirivu ziba za mazima,

naye amagezi g’abakozi b’ebibi ge bawa gaba ga bulimba.

612:6 Nge 14:3Ebiteeso by’abakozi b’ebibi kuyiwa musaayi,

naye ebigambo by’abatuukirivu bye bibawonya.

712:7 a Zab 37:36 b Nge 10:25Abakozi b’ebibi bagwa ne basaanirawo ddala,

naye ennyumba y’omutuukirivu teesagaasaganenga emirembe gyonna.

8Ebigambo by’omugezi bimuleetera okusiimibwa,

naye eby’omusirusiru bimunyoomesa.

9Omuntu eyeetoowaza ne yeekolera,

asinga oyo eyeegulumiza n’abulwa ky’alya.

10Omutuukirivu afaayo ku bisolo bye,

naye omukozi w’ebibi abiraga bukambwe bwereere.

1112:11 Nge 28:19Oyo eyeerimira aliba n’emmere nnyingi,

naye oyo anoonya ebitaliimu talina magezi.

12Abakozi b’ebibi baagala okubba omunyago gwa babbi bannaabwe,

naye omulandira gw’abatuukirivu gunywera.

1312:13 a Nge 18:7 b Nge 21:23; 2Pe 2:9Ebigambo by’omukozi w’ebibi bimusuula mu mitawaana,

naye omutuukirivu awona akabi.

1412:14 a Nge 13:2; 15:23; 18:20 b Is 3:10-11Omuntu ajjuzibwa ebirungi okuva mu bibala bye bigambo by’akamwa ke,

n’emirimu gy’emikono gye gimusasula bulungi.

1512:15 Nge 14:12; 16:2, 25; Luk 18:11Ekkubo ly’omusirusiru ddungi mu kulaba kwe ye,

naye omugezi assaayo omwoyo ku magezi agamuweebwa.

1612:16 Nge 29:11Omusirusiru alaga mangu obusungu bwe,

naye omutegeevu tassa mwoyo ku kivume.

1712:17 Nge 14:5, 25Omujulizi ow’amazima awa obujulizi obutuufu,

naye omujulizi ow’obulimba ayogera bya bulimba.

1812:18 a Zab 57:4 b Nge 15:4Ebigambo ebyanguyirize bisala ng’ekitala ekyogi,

naye olulimi lw’omuntu omugezi luwonya.

19Emimwa egyogera amazima gibeerera emirembe gyonna,

naye olulimi olulimba lwa kiseera buseera.

20Obulimba buli mu mitima gyabo abategeka okukola ebibi,

naye essanyu liri n’abo abakolerera emirembe.

2112:21 Zab 91:10Tewali kabi konna kagwa ku batuukirivu,

naye abakozi b’ebibi tebaggwaako mitawaana.

2212:22 a Nge 6:17; Kub 22:15 b Nge 11:20Mukama akyawa emimwa egirimba,

naye asanyukira ab’amazima.

2312:23 Nge 10:14; 13:16Omuntu omutegeevu talaga nnyo by’amanyi,

naye abasirusiru balaga obutamanya bwabwe.

2412:24 Nge 10:4Omukono gw’omunyiikivu gulimufuula omufuzi,

naye obugayaavu bufuula omuntu omuddu.

2512:25 Nge 15:13; Is 50:4Omutima ogweraliikirira guleetera omuntu okwennyika,

naye ekigambo eky’ekisa kimusanyusa.

26Omutuukirivu yeegendereza mu mikwano gye,

naye ekkubo ly’ababi libabuza.

27Omuntu omugayaavu tayokya muyiggo gwe,

naye omunyiikivu kyayizze, kiba kya muwendo gyali.

2812:28 Ma 30:15Mu kkubo ery’obutuukirivu mulimu obulamu,

era mu kkubo eryo temuli kufa.