Ekyamateeka Olwokubiri 29 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 29:1-29

Okuzza Obuggya Endagaano

129:1 Ma 5:2-3Bino bye bigambo by’endagaano Mukama Katonda gye yalagira Musa okukola n’abaana ba Isirayiri nga bali mu nsi ya Mowaabu, ng’egattibwa ku ndagaano gye yali akoze nabo ku Kolebu.

229:2 Kuv 19:4Awo Musa n’ayita Abayisirayiri bonna n’abagamba nti, Mwalaba n’amaaso gammwe ebyo byonna Mukama Katonda bye yakolera mu nsi y’e Misiri ku Falaawo ne ku bakungu be, ne ku nsi ye yonna. 329:3 Ma 4:34; 7:19Walaba n’amaaso go ebigezo ebinene, n’obubonero obw’ebyamagero, n’ebyewuunyisa ebikulu. 429:4 Is 6:10; Bik 28:26-27; Bar 11:8*; Bef 4:18Naye n’okutuusa ku lunaku lwa leero Mukama tabawanga mutima ogutegeera, oba amaaso agalaba, oba amatu agawulira. 529:5 Ma 8:4Bwe nabakulembera okumala emyaka amakumi ana mu ddungu engoye zammwe tezaakaddiwako, n’engatto y’omu kigere kyo teyakaddiwa. 629:6 Ma 8:3Temwalya ku mugaati wadde okunywa ku nvinnyo, oba ku kyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza. Ekyo nakikola mulyoke mumanye nga nze Mukama Katonda wammwe.

729:7 a Ma 2:32; 3:1 b Kbl 21:21-24, 33-35Bwe mwatuuka mu kifo kino, Sikoni kabaka w’e Kesuboni, ne Ogi kabaka w’e Basani, ne basituka okutulwanyisa, naye ne tubawangula. 829:8 Kbl 32:33; Ma 3:12-13Twatwala ensi yaabwe, ne tugigabira Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, okuba obutaka bwabwe obw’ensikirano.

929:9 a Ma 4:6; Yos 1:7 b 1Bk 2:3Noolwekyo mukwatenga ebigambo by’endagaano eno n’obwegendereza, mulyoke muwangulenga mu buli kimu kye munaakolanga. 10Mukuŋŋaanye wano leero mwenna mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, nga muli n’abakulembeze b’ebika byammwe, n’abakulu bammwe abakulembeze, n’abafuzi bammwe, n’abasajja bonna aba Isirayiri, 1129:11 Yos 9:21, 23, 27n’abaana bammwe abato, ne bakazi bammwe, ne munnaggwanga asula awamu naawe mu lusiisira lwo, okukutyabira enku, n’okukukimira amazzi. 12Oli wano okukola endagaano ne Mukama Katonda wo, ng’ekirayiro gy’ali, Mukama Katonda wo gy’akola naawe leero; 1329:13 a Ma 28:9 b Lub 17:7; Kuv 6:7alyoke akukakase ng’akunyweza leero okubeeranga eggwanga lye, naye nga ye Katonda wo, nga bwe yakusuubiza, era nga bwe yalayirira bakadde bo: Ibulayimu ne Isaaka. 1429:14 Yer 31:31Endagaano eno gye nkola, ng’eriko n’ekirayiro kyayo, 1529:15 Bik 2:39sigikola nammwe abayimiridde wano naffe leero mwekka, wabula ngikola wamu n’oyo atali wano naffe leero.

16Mujjukira bulungi nga bwe twali mu nsi y’e Misiri, ne bwe twajjanga tuyita wakati mu mawanga okutuukira ddala wano. 1729:17 Ma 28:36Mwalabanga ebintu eby’ekikaafiiri, nga mwe mwalinga ebifaananyi ebibajje mu miti n’ebiwoole mu mayinja ne mu ffeeza ne mu zaabu. 1829:18 Ma 11:16; Beb 12:15Mukakasize ddala leero nga mu maka gammwe oba mu bika byammwe temulinaamu musajja oba mukazi n’omu akyamizza omutima gwe okuva ku Mukama Katonda waffe agende asinze bakatonda bali abalala abamawanga ago. Mukakasize ddala nga mu mmwe temuliimu kikolo okuyinza okukula obutwa obw’engeri eyo obukaawa ng’omususa.

19Omuntu ow’engeri ng’eyo ng’awulidde ebigambo eby’ekikolimo kino n’amala yeeyibaala, ne yeetukuza ku bubwe yekka, n’alowooza munda ye nti, “Nzija kubeera bulungi newaakubadde nga mmaliridde okukwata ekkubo eryange ery’obujeemu,” ekyo kinaaletanga akacwano ku ttaka erinnyogovu obulungi ne ku kkalu. 2029:20 a Ez 23:25 b Zab 74:1; 79:5 c Kuv 32:33; Ma 9:14Mukama taamusonyiwenga, kubanga obusungu bwa Mukama n’ekiruyi kye binaabuubuukiranga ku muntu oyo. Ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino binaamukkangako, era Mukama alisangula erinnya lye n’aliggya wansi w’eggulu. 21Mukama anaamwawulanga n’amuggya mu bika byonna ebya Isirayiri n’amubonereza nnyo, nga bwe kiri mu bikolimo byonna eby’endagaano ebiwandiikiddwa mu Kitabo ky’Amateeka kino.

2229:22 Yer 19:8Abaana bammwe abaliddawo ne bannamawanga abaliva mu nsi ezeewala baliraba ekibonerezo ekiriba kigudde ku nsi n’obulwadde Mukama bw’aliba aleese ku ttaka ly’ensi. 2329:23 a Is 34:9 b Yer 17:6 c Lub 19:24, 25; Zef 2:9Ettaka liriba lyonoonese nga lya munnyo n’amayinja agookya, nga tekuyinza kusimbibwako kintu wadde okubaako n’ekimerako, nga n’omuddo tegusobola kumerako. Ensi erifaanana ng’okuzikirizibwa kwa Sodomu, ne Ggomola, ne Aduma, ne Zeboyimu, Mukama bye yazikiriza mu busungu bwe obungi. 2429:24 1Bk 9:8; Yer 22:8-9Amawanga galyebuuza nga geewunya nti, “Lwaki Mukama akoze ekintu kino, n’akikola n’obusungu obungi butyo?”

25Na kino kye kiriba eky’okuddamu nti, “Kubanga abantu bano basudde eri endagaano ya Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, endagaano gye yakola nabo bwe yabaggya mu nsi y’e Misiri. 26Baagenda ne basinza bakatonda abalala, ne babaweereza, bakatonda be baali batamanyi, era Katonda waabwe be yali tabawadde. 2729:27 Dan 9:11, 13, 14Bwe butyo obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku nsi eyo, n’agireetako ebikolimo byonna ebiwandiikiddwa mu Kitabo kino. 2829:28 1Bk 14:15; 2By 7:20; Zab 52:5; Nge 2:22Mukama n’abasiguukulula mu nsi yaabwe ng’aliko ekiruyi, era ng’ajjudde obusungu bungi, n’abakasuka mu nsi endala, nga bwe kiri leero.”

29Ebintu eby’ekyama bya Mukama Katonda waffe, naye ebyo ebyabikkulibwa bye byaffe n’abaana baffe emirembe gyonna, tulyoke tugonderenga ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 29:1-29

在摩押立约

1耶和华除了与以色列人在何烈山立约外,还在摩押吩咐摩西以色列人立以下的约。

2摩西召来所有以色列人,对他们说:“你们曾亲眼见过耶和华在埃及怎样对付法老及其臣仆和国民, 3怎样降下巨大的灾难,行伟大的神迹奇事。 4但耶和华至今还没有赐给你们能明白的心、能看见的眼、能听清的耳。 5四十年来,我领你们走过旷野,你们身上的衣服没有穿破,脚上的鞋子没有穿坏; 6你们没有吃饼,也没有喝淡酒和烈酒。这是为了让你们知道耶和华是你们的上帝。 7我们来到这里的时候,希实本西宏巴珊都来攻击我们,我们击败了他们, 8并将占领的土地分给吕便支派、迦得支派和玛拿西半个支派作产业。 9所以,你们要谨遵这约上的话,以便你们可以凡事顺利。

10“今天,你们全都站在你们的上帝耶和华面前,包括你们的族长、长老、官员、所有以色列男子、 11你们的孩子、妻子和寄居在你们中间为你们砍柴挑水的外族人, 12为要接受你们的上帝耶和华与你们立的誓约。 13这样,祂今天将宣告你们是祂的子民、祂是你们的上帝,正如祂对你们的应许和对你们祖先亚伯拉罕以撒雅各的誓言。 14耶和华的这誓约不仅是与你们立的, 15也是与今天一同站在我们的上帝耶和华面前的人,以及今天不在这里的人29:15 今天不在这里的人”或译“我们将来的子孙”。立的。

16“你们知道我们如何在埃及生活,也知道我们如何穿越列国来到这里。 17你们也见过他们用木、石、金、银造的可憎神像。 18你们中间,不论男人或女人,家族或支派,切不可有人背弃我们的上帝耶和华,去祭拜列国的神明,免得你们中间有残根长出苦毒的果实, 19免得有人听了这誓言后,心存侥幸地说,‘即使我一意孤行,连累他人,也必平安无事。’ 20耶和华绝不会赦免这样的人,祂必向这样的人发烈怒,使记在这书上的一切咒诅临到他身上,从世上抹去他的名字。 21耶和华必把他从以色列各支派中隔离出来,使他按律法书上约中的一切咒诅受惩罚。

22“你们的子孙后代和从远方来的外族人,必看见耶和华降在这地方的灾祸和疾病。 23遍地将是硫磺和盐,无法耕种,寸草不生,如同耶和华盛怒之下毁灭的所多玛蛾摩拉押玛洗扁24万国必问,‘耶和华为什么要这样对待这地方?祂为什么大发烈怒?’ 25必有人回答说,‘因为这地方的人背弃了他们祖先的上帝耶和华领他们出埃及时与他们所立的约, 26去供奉、祭拜他们所不认识、并非耶和华所分派的神明。 27因此,耶和华向这片土地发怒,把这书上的一切咒诅都降在这里。 28耶和华盛怒之下把他们从这地方连根拔起,扔到别的地方,正如今日的情形。’

29“奥秘的事属于我们的上帝耶和华,只有显明的事永远属于我们和我们的子孙,以便我们可以遵守这律法上的一切话。”