Ebyabaleevi 3 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 3:1-17

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Emirembe

13:1 a Lv 7:11-34 b Lv 1:3; 22:21“ ‘Omuntu bw’anaaleetanga ekiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, ekiweebwayo ekyo nga kya nte nnume oba nkazi gy’aggye mu kiraalo kye, ente eyo tebeerengako kamogo. 23:2 a Kuv 29:10, 15 b Lv 1:5Omuntu aleese ekiweebwayo ekyo anaakwatanga omutwe gwakyo n’akittira ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu; batabani ba Alooni, bakabona, ne balyoka bamansira omusaayi ku kyoto okukyebungulula. 33:3 Kuv 29:13Omu ku bakabona anaggyanga ebintu bino mu kiweebwayo olw’emirembe ekireeteddwa nga kyokeddwa mu muliro, nga kye kiweebwayo eri Mukama; anaawangayo amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 4n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 53:5 a Lv 7:29-34 b Kuv 29:13, 38-42Kale batabani ba Alooni banaabyokeranga kungulu ku kiweebwayo ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.

63:6 nny 1“ ‘Omuntu anaggyanga mu kisibo kye ekisolo ekisajja oba ekikazi nga tekiriiko kamogo, n’akiwaayo eri Mukama. 73:7 Lv 17:8-9Bw’anaaleetanga endiga ento nga kye kiweebwayo kye eri Mukama, 83:8 nny 2; Lv 1:5anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 9Mu kiweebwayo olw’emirembe ky’anaaleetanga okuwaayo ng’ekiweebwayo eri Mukama nga kyokebwa mu muliro, anaggyangamu bino n’abiwaayo eri Mukama: anaawangayo amasavu n’omukira gwonna n’amasavu gaagwo, nga gusaliddwako okumpi n’omugongo, n’amasavu agabikka ku byenda, n’amasavu gonna agali okumpi n’ebyenda, 10n’ensigo zombi awamu n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba, nga biggyibwako wamu n’ensigo. 113:11 a nny 5 b nny 16; Lv 21:6, 17Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo eri Mukama nga kyokeddwa mu muliro.

12“ ‘Ekiweebwayo kye bwe kinaabanga embuzi, anaagiwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama; 133:13 Kuv 24:6anaagikwatanga omutwe gwayo, n’agittira mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kale batabani ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto n’okukyebunguluza. 14Awo anaawangayo ekiweebwayo eri Mukama ekyokeddwa mu muliro ng’akiggya okwo: amasavu agabikka ebyenda, n’amasavu gonna agaliraanye ebyenda, 15n’ensigo zombi n’amasavu agaziriko okuliraana ekiwato, n’ekibikka ku kibumba nga biggyibwako wamu n’ensigo. 163:16 1Sa 2:16Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okubeera ekyokulya ekiweebwayo nga kyokebwa mu muliro okuvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama. Amasavu gonna ganaabanga ga Mukama.

173:17 a Lv 6:18; 17:7 b Lub 9:4; Lv 7:25-26; 17:10-16; Ma 12:16; Bik 15:20“ ‘Ekintu kino kinaabeeranga etteeka ery’ebiro byonna okuyita mu mirembe eginaagendanga giddiriragana mu bifo byonna gye munaabeeranga. Temulyanga masavu wadde omusaayi.’ ”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 3:1-17

献平安祭的条例

1“如果有人用牛献作平安祭,必须在耶和华面前献上毫无残疾的公牛或母牛。 2献祭者要把手放在牛头上,在会幕门口宰牛。祭司——亚伦的子孙要把牛血洒在祭坛四周。 3献祭者要从平安祭中献上火祭给耶和华。他要取出遮盖内脏的脂肪和内脏上的脂肪、 4两个肾脏和肾脏上靠近腰部的脂肪以及肝叶。 5祭司要把这一切放在祭坛燃烧的木柴上和燔祭一起焚烧,作为蒙耶和华悦纳的馨香火祭。

6“如果用羊作祭物向耶和华献平安祭,必须献毫无残疾的公羊或母羊。 7如果献的是绵羊羔,献祭者要把羊羔带到耶和华面前, 8将手放在羊头上,在会幕前宰杀。亚伦的子孙要把羊羔的血洒在祭坛四周。 9献祭者要从平安祭中取出脂肪作为火祭献给耶和华。他要从靠近脊椎骨处取下整条肥尾巴、遮盖内脏的脂肪、 10两个肾脏和肾脏上靠近腰部的脂肪以及肝叶。 11祭司要把这一切放在祭坛上焚烧,作为献给耶和华的火祭。

12“如果献的是山羊,献祭者要把山羊带到耶和华面前, 13将手放在羊头上,在会幕门口宰杀。祭司要把羊血洒在祭坛四周。 14-15献祭者要取出遮盖内脏的脂肪和内脏上的脂肪、两个肾脏和肾脏上面靠近腰部的脂肪以及肝叶,作为火祭献给耶和华。 16祭司要把这一切放在祭坛上焚烧,作为蒙耶和华悦纳的馨香火祭。所有的脂肪都属于耶和华。 17你们无论住在哪里,都不可吃脂肪和血,这是你们世代永远要遵守的条例。”